Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    Esuula 9—Obulamu n’Okukola

    KATONDA ye nsibuko y’obulamu, n’omusana, n’essanyu, mu ggulu ne mu nsi. Emikisa gye gikulukuta okubuna ebitonde bye byonna, ng’omusana oguva ku njuba, oba ng’emigga gy’amazzi egikulukuta okuva mu nsulo ennungi. Era omuntu yenna bw’aba n’obulamu bwa Katonda mu mutima gwe, bukulukusa emikisa n’okwagala eri abantu abalala.OW 84.1

    Essanyu ly’Omulokozi waffe lyali mu kuyimusa omvvonoonyi n’okumununula. Olw’ensonga eno obulamu bwe teyabulowooza nga bwa muwendo gy’ali, naye yagumikiriza omusalaba ng’anyoma ensonyi. Bwe batyo bamalayika bulijjo banyikira nga bakola ku lw’essanyu ly’abalala. Era ekyo lye ssanyu lyabwe. Abalala kye bandirabye ng’omulimu ogwa wansi, okuweereza ku lw ', abo abanaku ennyo era aba wansi ddala mu mpisa zaabwe ne mu lulyo lwabwe; ogwo gwe mulimu gwa bamalayika abatukuvu! Omwoyo gwa Yesu ogw’okwegaanyisa, ogwo gwe guli mu b’omu ggulu bonna, era lye ssanyu lyabwe eringi. Era omwoyo guno, abagoberezi ba Kristo gwe bateekwa okuba nagwo, era gwe mulimu gwe bateekwa okukola.OW 84.2

    Okwagala kwa Kristo bwe kujjuza omutima gw’omuntu, kuba ng’akawoowo akalungi tekuyinza kukisibwa. Obulungi bwakwo butegeerwa bonna abatwetoolodde. Omwoyo gwa Yesu bwe guba mu mutima gw’omuntu, gufaanana ng’ensulo z’amazzi amalungi eziri mu ddungu, nga zikulukuta okuweezaweeza bonna abagenda okuzikirira, abeetaaga amazzi ag’obulamu.OW 85.1

    Omuntu bw’ayagala Yesu, okwagala kwe okwo kweragira mu kwagala okukola nga ye bwe yakola, olw’okuyimusa abantu abalala n’okubayamba. Kino kituusa omuntu ku kwagala n’okusaasira ebitonde bya Kitaffe ow’omu ggulu.OW 85.2

    Omulokozi waffe bwe yali ku nsi kuno, obulamu bwe tebwali bwa ddembe wadde obw’okwesanyusa, naye yategananga bulijjo, ng’afuba awatali kukowa, alyoke ayimuse era alokole olulyo lw’omuntu olwabula. Okuva mu kiraalo e Besirekemu okutuuka e Gologoosa, ekkubo lye lyali lya kweganyisa, teyayagala kukola mirimu myangu gya kwesanyusa, newankubadde okutambula e’ngendo entonotono ezitamukooyese. Yagamba nti “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ekinunulo ky’abangi.” Mat. 20:28. Kino kyokka kye kyali ekintu ekikulu mu bulamu bwe. Ebirala byonna byajjanga luvannyuma era nga tabissaako nnyo mwoyo. Okukola Katonda by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe ebyo bye byali eky’okulya era n’eky’okunywa kye. Mu mulimu gwe gwonna temwalimu kweyagala newakubadde okwekolako yekka.OW 85.3

    Bwe kityo abo bonna abassa ekimu ekisa kya Yesu, beeteefutefu okwegaanyisa buli kintu kyonna, olw’okuyamba abalala Yesu be yafiirira nabo bagabane ku kirabo eky’omu ggulu. Bakukola kyonna kye bayinza olw’okulongosa ensi gye balimu. Omwoyo ogw’engeri eno kwe kukula kwennyini okw’omuntu akyukidde Yesu.. Omuntu yenna olujja eri Kristo amangu ago nga mu ye musituka omutima ogwettanira okumanyisa abalala nga bw’azudde omukwano ogw’ekitalo mu Yesu; tayinza kukweka mu mutima gwe amazima ago agalokola era agatukuza g’aba amaze okufuna. Bwe twambazibwa obutuukirivu bwa Kristo, era nga tujjudde essanyu ery’omwoyo ye atuula mu ffe, tetuyinza kusirika. Bwe tuba nga tuleze ku Mukama ne tulaba nga mulungi, tetulema kuba na kyetutegeeza balala ku ye. Tetulema kuleeta balala gy’ali, nga Firipo bwe yakola ng’alabye Masiya. Tuli bakubategeeza obulungi bwa Yesu n’obw’ensi eyo eyekitalo egenda okujja bo gye batamanyi. Tetulema kwetaaga nnyo okutambulira mu kkubo lye yatambuliramu. Twetaaga nnyo abo abatwetolodde balabe “Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi.”OW 86.1

    Bwe tunyikira okuyamba abalala, naffe kituletera emikisa. Era kino Katonda kye yagenderera mu kutuwa naffe okukola akatundu ku mulimu guno omulungi gwe yatekateka okununula omuntu. Yawa abantu omukisa ogw’okufuuka abassa ekimu obuzaaliranwa bwe, kale nabo bateekwa okubunyisa emikisa gino mu bantu bannaabwe. Abo abeegatta ku mulimu guno ogw’okwagala, basembezebwa kumpi ddala n’Omutonzi waabwe.OW 86.2

    Omulimu guno ogw’enjiri, n’emirimu gy’onna egy’okuweereza okw’okwagala, Katonda yandiyinzizza okuguwa bamalayika ab’omu ggulu. Yandiyinzizza okukozesa engeri endala yonna, n’atuukiririzaamu okuteesa kwe olw’obulokozi bw’omuntu. Naye olw’okwagala kwe okutaggwawo yayagala okulonda ffe okukolera awamu naye, ne Kristo, era ne bamalayika, bwe tutyo naffe tulyoke tufune ku mikisa, n’essanyu, n’okukula kw’omwoyo, ebifunibwa olw ', okuweereza okw’obuteerowoozako.OW 87.1

    Tugattibwa wamu ne Kristo olw’okutabagana naye mu kulumwa kwe. Buli kikolwa eky’okweganyisa kulw’obulungi bw’abalala, kinyweza omwoyo omugabi mu mutima gw’oyo aba akikoze, nga kyeyongera okumugattira ddala n’omununuzi w’ensi zona, oyo “Eyali omugagga, naye n’afuuka omwavu ku lwammwe, obwavubwe bulyoke bubagaggawaze” Kale bwe tutuukiriza bwe tutyo Katonda kye yagenderera okutonda, olwo obulamu lwe bubeera omukisa gyetuli.OW 87.2

    Bw’okola omulimu ogwo Kristo gwe yatekeratekera buli muyigirizwa we yenna okukola, n’omala oleeta omuntu yenna gy’ali owulira nga weetaaga nnyo okweyongera okumanya ebya Katonda, era olirumwa enjala n’ennyonta olw’obutukirivu. Onyikira nnyo okusaba Katonda, era okukkiriza kwo kweyongera okufuna amaanyi, obulamu bwo ne bweyongera nnyo okunywa mu luzzi olw’obulokozi. Obuzibu era n’ebikemo by’osisinkana ebyo binakwongeranga bwongezi okukenneenya Ekigambo kya Katonda n’okunyikirira ennyo okusaba. Olyeyongera okukula mu kisa ne mu kumanya Kristo, era obulamu bwo obw’obukristayo bulyeyongera nnyo amaanyi.OW 87.3

    Omwoyo ogw’engeri eno ogw’okukolera abalala awatali kwerowoozaako, kunyweza nnyo Omukristayo, era kulongosa empisa ze okufaanana nga eza Kristo era kumuletera essanyu n’emirembe. Yeeyongera nnyo okuyaayanira ebya Katonda. Olwo obugayaavu n’okwerowoozako biba tebikyalina kafo mu mutima gwe. Abo abakozesa mu ngeri eno emikisa gya Katonda tebalema kukula n’okweyongera ennyo amaanyi okumukolera. Bawebwa nnyo okutegeera eby’omwoyo, okukkiriza kwabwe kuba kunywevu era okweyongera okukula, era beeyongera nnyo amaanyi mu kusaba. Omwoyo wa Katonda ng’akola ku bulamu bwabwe, abuleetera okutabagana ne Katonda, nga bye bivudde mu kukola kw’omukono gwa Katonda. Abo abeewayo bwe batyo okukola ku lw’obulungi bw’abalala, awatali kwerowoozako bokka, be basingira ddala okutuukiriza obulokozi bwabwe.OW 88.1

    Ekkubo erituusa omuntu ku kukula mu kisa, liri limu lyokka, kwe kwewerayo ddala obuteerekera, okukola omulimu Kristo gwe yatukwasa, kwe kwewaayo nga bwe tuyinza, okuyamba abo abetaaga obuyambi bwaffe. Amaanyi gava mu kukola; buli kintu kyonna ekiramu kyateekerwawo kukola. Abo abageezaako okuba n’obulamu obw’Obukristayo awatali kye bakola, nga bakkiriza emikisa gye bafuna olw’ekisa kya Kristo, naye bo nga tebaliiko ke bamukolera, abo bali ng’omuntu agezaako mu bulamu bwe okulyanga obuli awatali kukola. Omuntu oyo ayinza okubeerawo? Kale nga bwe kiri mu bulamu obwaffe obwa bulijjo, era bwe kityo bwe kiri ne mu bulamu obw’omwoyo, kino bulijjo kireeta kufaafaagana na kukendeera. Omuntu bw’abeera awo nga takozesa bitundu bya mubiri gwe, ekiseera bwe kigenda nga kyetoolola binafuwa ebimu ne bikakanyarirayo, n’ekivamu, nga tebikyayinza kukola newakubadde ng’oluvanyuma yandyagadde okubikozesa. Bwe kityo n’Omukristayo atakozesa maanyi ge Katonda g’amuwa, takoma ku kulemwa butakula mu Kristo kyokka, naye era afiirwa n’amaanyi ago g’abadde afunye.OW 88.2

    Ekkanisa ya Kristo ye mubaka wa Katonda gwe yateekawo olw’obulokozi bw’abantu. Omulimu gwayo kwe kutwala enjiri mu nsi zonna. Era buli muntu wa kukola ng’ettalanta ze bwe ziri Katonda z’amuwa. Bwe tumala okubikulirwa okwagala kwa Kristo, tuwulira mu mitima gyaffe ng’abantu bonna abatannaba ku mumanya batubanja. Katonda yatuwa omusana, si ku lwaffe fekka, naye era tugutwale n’eri abo abatannaba kugufuna.OW 89.1

    Singa buli mugoberezi wa Kristo agolokose n’akwata omulimu, mu kifo ky’omuntu omu singa waliwo nkumi na nkumi ababulira enjiri mu nsi ezitannaba kugiwulirako. Era abo abatasobola kugendera ddala bo bennyini okubuulira, era nabo ng’abagoberezi abatambulira mu bigere bya Kristo tebandiremye kwegatta ku mulimu gwe olw’okuguyamba n’ebintu byabwe era n’okusaba. Bwe kityo singa waliwo Abakristayo bangi nnyo ddala abeewaayo okukola n’obunyikivu.OW 89.2

    Okukolera Kristo, si kwe kugenda eri abakafiiri kwokka, naye bwe kirabika nga mu maka gaffe mulimu gwe tuyinza okumukolera, ka tumukolere n’ogwo, omulimu gwe tuyinza okugukolera mu maka gaffe, mu kkanisa, mu baliraanwa baffe, ne mu abo be tuba tukola nabo emirimu gyaffe egya bulijjo.OW 90.1

    Ekitundu ekisinga obunene eky’obulamu bw’omulokozi waffe ku nsi kuno yakimala mu kufuba ng’akola n’amaanyi mu kkolero ly’omubazzi ow’e Nazalesi. Bamalayika ba Katonda baakuumanga Mukama w’obulamu bwe yabanga atambulira wamu n’abakopi, n’abapakasi, n’abantu aba wansi ddala abatalina kitibwa era abatasibwako bantu mwoyo. Era ne mu mulimu guno ogonyomebwa, yatuukirizanga n’obwesigwa omulimu gwe, nga bwe yagutuukirizanga mu kuwonya abalwadde oba ng’atambulira ku mayengo g’ennyanja y’e Galiraya. Bwe kityo mu bulamu bwaffe, tuyinza okutambula ne Yesu, newakubadde nga tuli mu bifo ebya wansi oba mu mirimu eginyomebwa.OW 90.2

    Omutume yagamba nti Okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mwokwo wamu ne Katonda.” I Kol. 7:24. Omusuubuzi ayinza okukola omulimu gwe ogw’obusuubuzi mu ngeri egulumizisa Mukama we, olw’obwesigwa bwe. Bw’aba nga ye mugoberezi wa Kristo, mu buli kintu kyonna ky’akola talema kulagiramu ddiini ye, n’okulaga abantu omwoyo gwa Kristo. Makanika, olw’obunyikivu n’obwesigwa bwe ayinza okulaga obulungi bw’oyo eyakoleranga mu nsozi z’e Gaiiraya mu bulamu obw’okunyomebwa. Buli muntu yenna ayitibwa erinya ly’omugoberezi wa Kristo ayinza okukola mu ngeri eyinzisa bonna abamulaba okugulumiza Kristo Omutonzi era Omununuzi we.OW 90.3

    Bangi beewolereza olw’obutakozesa talanta zaabwe mu mulimu gwa Katonda, nga bagamba nti kubanga waliwo abalala abaweebwa ettalanta ezisinga ezaabwe. Abasinga obungi balowooza nti abo Katonda be yawa ebirabo ebisinga obunene be bokka abateekwa okwewaayo okumukolera. Nti Katonda alonda abantu b’asinga okwagala abo b’awa ettalanta, era be yetaaga n’okumukolera, era be bokufuna empeera. Naye tekiri bwe kityo mu lugero lwa Mukama waffe olw’ettalanta. Mukama w’ennyumba bwe yayita abaddu be yawa buli muntu ngobuyinza bwe bwe bwali Laba Mat. 25:15,30.OW 91.1

    Newakubadde omulimu ogusingira ddala okuba ogwa wansi ennyo, tuyinza okugukola n’omwoyo ogujjudde okwagala, “nga kubwa Mukama waffe.” Bak. 3:23. Okwagala kwa Katonda bwe kuba mu mutima gw’omuntu, tekulema kweragira mu bulamu bwe. Bwe tuba nga tujjudde obulungi bwa Ycsu, tebulema kusitula abo abatulaba era n’okubaleetera emikisa.OW 91.2

    Toli wa kulindirira nti onomala kufuna bbanga ddene ery’eddembe oba okumala okuweebwa amaanyi agatali ga bulijjo olyoke okolere Katonda. Tolowooza nti “Abantu banandowooza batya?” Obulamu bwo obwa bulijjo obanga bulaga amazima n’obulongofu bw’enzikiriza yo’ era ng’abantu bayinza okutegeera nti oyagala kubayamba, okukola kwo n’okufuba kwo tebigenda kuba bya bwerere.OW 91.3

    Oyo asingira ddala okulabika ng’anyomebwa ku bayigirizwa ba Yesu, ayinza okuleetera abantu emikisa egiva eri Katonda. Ye ayinza obutategeera ng’aliko ekirungi kyonna ky’akola, naye mu ngeri ye gy’atamanyi, ayinza okukoleeza omuliro ogunaagenda nga gweyongerayongera okvvaka, ayinza obutalaba na ku birungi ebivaamu, okutuusa lw’alibiragibwa Yesu ku lunaku ng’amuwa empeera. Tayinza kulowooza wadde okutegeera nti alina ekintu ekikulu ky’akola. Tagambibwa kulowooza ku birivaamu wadde okubyeralikiririra. Kimusaanira okugenda n’obuwombefu ng’akola omulimu gwonna gw’alaba nga Mukama gw’amuwadde, okukola kwonna kw’akola, n’amaanyi ge gonna g’awaayo, tebigenda kuba bya bwerere. Obulamu bwe ye bujja kugenda nga bweyongerayongera okukulila mu kifaananyi ky’obwa Yesu; olw’okukolera awamu ne Katonda mu bulamu buno, bwe batyo basaanyizibwa omulimu ogw’ekitibwa n’essanyu eritalina kisiikirize mu bulamu obugenda okujja.OW 92.1

    Katonda onsembeze Kumpi naawe;
    Ne bwendikwatibwa Obuyinike
    Ncyongerenga era Okusemberera
    Okusemberera Okumpi naawe.
    OW 92.2

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents