Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents

Essuubi Eritaggwaawo

 - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    17 — Emunnyeennye Ey’enkya

    Amazima agakyasinze okuba og’omuwendo era ag’ekitiibwa agaali gabikkuddwa okuva mu Bayibuli ge g’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwokubiri okumaliriza omulimu omukulu ogw’obununuzi. Essuubi ery’omuwendo lino era erikomyawo essanyu liweebwa abantu ba Katonda abatambuze nga “batambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe,” okuyita mu ssuubi ery’okulabika kwe, oyo “okuzuukira era n’obulamu,” okukomyawo “abasasaana.” Enjigiriza y’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, gwe mulamwa omukulu ogw’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Bajjajjaffe abaasooka okuva ku lunaku Iwe baatandulula ebigere byabwe bwe baali mu lusuku Adeni, abaana b’okukkiriza babadde balindirira okulabika kw’Omulokozi eyasuubizibwa, amenye amaanyi g’omuzikiriza era abakomyewo nate mu lusuku Iwabwe olwabula. Abatukuvu abo babadde balindirira okulabika kwa Masiya muEE 191.4

    kitiibwa, nga y’entikko ey’essuubi lyabwe. Enoki ow’omusanvu mu abo abasooka okubeera mu Adeni, oyo eyatambulanga ne Katonda okumala ebyasa by’emyaka bisatu, yafuna omukisa okulengera okulabika kw’Omununuzi. “Laba,” bw’agamba, “Mukama yajja n’abatukuvu be kakumi, okuleeta omusango ku bonna.” Yuda 14, 15. Jjajaffe Yobu bwe yali ng’abonaabona mu biro biri, yayogera mu buvumu obw’ekitalo nti: “Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, era ku nkomerero ng’aliyimirira ku nsi... naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda: gwe ndiraba nze mwene, n’amaaso gange galimutunuulira so si mulala.” Yobu 19: 25-27.EE 192.1

    Okukomawo kwa Kristo aleete obufuzi obw’obutuukirivu kukutte nnyo omugamba eri abawandiisi b’ebyawandiikibwa n’aboogezi abaluungi. Abatontomi ne bannabbi b’omu Bayibuli bakwogeddeko nnyo mu bigambo ebyakayakana n’omuliro gw’eggulu. Omuyimbi wa Zabbuli yayimba ku maanyi n’ekitiibwa kya Kabaka wa Isiraeri nti: “Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza. Katonda waffe alijja, so talisirika; .... Alikowoola eggulu waggulu, n’ensi, alyoke asalire abant0u be omusango.” Zabbuli 50: 2-A. “Eggulu lisanyuke, era n’ensi ejaguze... mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; kubanga ajja okusalira ensi emisango. Alisalira ensi emisar.go egy’ensonga. Aliramula amawanga n&pos;amazima ge.” Zabbuli 96:11-13.EE 192.2

    Isaaya nnabbi agamba: “Muzuukire muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng’omusulo ogw’okumiddo, n’ettaka liriwandula abafu ” “Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira.” “Yamirira ddala okufa ennaku zonna; era Mukama Katonda wo alisangula amaziga mu maaso gonna; n’ekivume ky’abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde. Kale kiryogerwa ku lunaku luri nti Laba, ono ye Katonda waflfe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijjaguliza obulokozi bwe.” Isaaya 26: 19; 25: 8, 9.EE 192.3

    Ne Kaabakuuku nga yenna amaliddwawo n’okwolesebwa okutukuvu, yalaba okulabika kwe. “Katonda yajja ng’ava ku Temani, era Omutukuvu yajja ngava ku Iusozi Palani. Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, era ensi n’ejjula ettendo lye. N’okumasamasa kwe kwali ng’omusana.” “Yayimirira n’agera ensi; yatunula n&pos;agoba amawanga n’agasalamu. Ensozi ez’olubeerera ne zisasaana, obusozi obutaggwaawo ne bukutama, okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga obw’edda.” “N&pos;okwebagala ne weebagala embalaasi zo; n’olinnya ku magaali go ag’obulokozi.” “Ensozi zaakulaba ne zitya... ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, n’eyimusa emikono gyayo waggulu. Enjuba n’omwezi ne biyimirira mu bifo byabyo mwe bibeera, olw’okutangaala kw’obusaale bwo nga butambula, olw’okwakaayakana kw’effumu lyo erimasamasa.” “Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta.” Kaabakuuku 3: 3,4,6,8,10,11,13.EE 192.4

    Omulokozi bwe yali anaatera okugibwa ku bayigirizwa be, yabagumya bwe baali nga banakuwadde bwe yabakakasa nti alikomawo nate: “Omutima gwammwe tegweralikiriranga.... Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby’okubeeramu... kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Era obanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo ndikomawo nate, ne mbatwala gye ndi.” Yokaana 14: 1-3. “Naye Omwana w’omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye.” “Awo bw’alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye: nn’amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge.” Matayo 25: 31,32.EE 192.5

    Bamalayika abaali ku lusozi Iw’emizeyituuni nga balindirira oluvannyuma lw’Omulokozi okulinnya mu ggulu baddamu ebigambo byebimu eri abayigirizwa abaali basobeddwa nti: “Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bwatyo nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.” Ebikolwa by’Abatume 1: 11. N’omutume Pawulo, yayogera ng’aluŋŋamiziddwa Omwoyo n’akakasa nga, “Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n&pos;okwogerera waggulu n’eddoboozi lya Malayika omukulu n’ekkondere lya Katonda.” Abasessalonika 4: 16. Nnabbi w’e Patimo ye ate agamba: “Laba, ajja n’ebire; era buli liiso lirimulaba.” Okubikkulirwa 1: 7.EE 193.1

    Okukomawo kwe kujjuddemu ekitiibwa “oky’okulongosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye.” Ebikolwa by’Abatume 3: 21. Awo obufuzi bw’omubi obubaddewo ebbanga eddene, bulyoke bukomezebwe, “obwakabaka bw’ensi” bufuuke bwa “Mukama waflfe era bwa Kristo we; era anaafuganga emirembe n’emirembe.” Okubikkulirwa II: 15. “Nekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu.” “Kubanga ng’ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era n’olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu Iwo; bwatyo Mukama Katonda wammwe bw’alimeza obutuukirivu n’okutendereza mu maaso g’amawanga.” “Kubanga Mukama aliba ngule ya kitiibwa, era aliba nkuufiira ya buyonjo, eri abantu be abalifikkawo.” Isaaya40: 5; 61: II; 28: 5.EE 193.2

    Awo obwakabaka bwa Kristo obwemirembe era obubadde bulindibwa ebbanga lyonna bulyoke buteekebwewo wansi w’eggulu. “Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika, n’afuula olukoola Iwe okuba nga Adeni, n’eddungu lye okuba ng’olusuku Iwa Mukama.” “Ekitiibwa kya Lebanoni kiririweebwa, obulungi obungi obwa Kalumeeri ne Saloni.” “Toliyitibwa nate lwakubiri nti Alekeddwa; so n’ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n&pos;ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n’ensi yo erifumbirwa,... era ng’awasa omugole bw’asanyukira omugole, bwatyo Katonda wo bw’alikusanyukira.” Isaaya 51: 3; 35: 2; 62:4, 5.EE 193.3

    Okukomawo kwa Kristo omulundi ogw’okubiei lye libadde essuubi ly’abagoberezi be abeesigwa okumala ebbanga lyonna. Omulokozi bwe yasuubiza, nti alikomawo nate bwe yali ku lusozi lw’emizeyituuni, abayigirizwa be baafuna nate essuubi eriggya, emitima gyabwe ne gijjula essanyu era n’essuubi eritayinza kumalibwawo nnaku wadde ebigezo. Wakati mu kubonaabona n’okuyigganyizibwa, “okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo” lye libadde “essuubi ery’omukisa.” Abakristaayo Abasessalonika bwe bajjula okunyolwa olw’okuziikanga abeemikwano, abaalowoozanga nti baakulaba okukomawo kwa Mukama, Pawulo omuyigiriza waabwe, yabasongera ku kuzuukira, okulibeerawo Kristo ng’akomawo nate. Awo abaafiira mu Kristo balyoke bazuukire, abo, awamu n’abalamu balyoke basitulibwe okusisinkana Mukama waabwe mu bbanga. “Kale,” agamba, ” bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n’ebigambo bino.” 1 Abasessalonika 4: 16-18.EE 193.4

    Omutume omwagalwa bwe yali ku kizinga Patumo yawulira ku bigambo by’essuubi, “Wewaawo: njija mangu,” era naye yaddamu nga bw’ayayaana era nga bwe kubadde okusaba kw’ekkanisa eri mu kulamaga nti, “Amiina: jjangu, Mukama wafFe Yesu.” Okubikkulirwa 22: 20.EE 194.1

    Abajulizi ababadde nga basibwa mu makomera ag’omu ttaka, okwokebwa omuliro, n’okuttibwa ku bulabba olw’amazima, bazze nga baatula okukkiriza kwabwe era n’essuubi okuyita mu byasa by’emyaka byonna. Nga bakakafu nti “nga Kristo bwe yazuukira, era nabo be baddako ng’akomawo nate okubakima,” omu ku Bakristaayo bano bwe yagamba, nti “baanyooma okufa era ne beeraba nga kubali wansi.” - Daniel T. Taylor, The Reign of Christ on Earth: or, The Voice of The Church in All Ages, page 33. Nga bamalirwu okukka mu ntaana, balyoke “bazuukire nga baddembe.” - Ibid., page 54. Nga balindirira Mukama eyali owookujja ng’ava mu ggulu akkira ku bire mu kitiibwa kya Kitaawe,” “okuleetera abeesigwa obwakabaka bwe obutaggwaawo.” Abagoberezi ba Waldensi okukkiriza okwo kwe baayayaaniranga. Ibid., pp 129-132. Wycliffe naye yatunuuliranga okulabika kw’Omununuzi ng’essuubi eri ekkanisa.” Ibid., pp. 132-134.EE 194.2

    Luther yagamba nti: “Nkakasa nga mazima olunaku olw’omusango teruuyinze kussukka myaka bikumi bisatu gyonna. Kubanga Katonda tayinza kugumiikiriza nsi eno eggudde eddalu n’akatono.” “Olunaku olukulu lujya mangu olulimalawo obwakabaka bw’ababi.” - Ibid., pp. 158, 134.EE 194.3

    “Enkomerero teri wala okutuuka ku nsi eno ekkaddiye,” Melankisoni bwe yagamba. Ate Calvin akowoola Abakristaayo, “baleme kulindiriza, wabula batunule nkaliriza okulaba olunaku Iw’okukomawo kwa Kristo omuli essuubi lya byonna;” era n’agamba nti, “amaka gonna agabeesigwa gaakulindirira olunaku olwo.” “Kitugwanira okulumwa enjala y’okukomawo kwa Kristo, tukunoonye, tukufumiitirizeeko,” bw’agamba, “okutuusa obudde lwe bulikya obw’olunaku olukulu olwo, Mukama waffe lw’alitwolesa ekitiibwa kyonna eky’obwakabaka bwe.” Ibid., pp. 158,134.EE 194.4

    “Mukama waffe Yesu Kristo teyalinnya waggulu wamu n’emibiri gyaffe? Era talikomawo nate?” Knox Omusikooti bwe yabuuza, “Tukimanyi nti alikomawo nate, wamu ne bamalayika be.” Ridley ne Latimer, abaafiirira amazima, olw’okukkiriza baalindiriranga olunaku lwa Mukama. Ridley yawandiika nti: “Ensi eteriimu kubuusabuusa - eyo gye nzikiriza, era ŋŋamba nti eno etuuse ku nkomerero yayo. Katwegattire wamu ne Yokaana, omuddu wa Katonda twogere mu mitima gyaffe eri Omulokozi Kristo nti, Jjangu Mukama waffe Yesu.” Ibid., pp. 151, 145.EE 194.5

    “Ebirowoozo by’okukomawo kwa Mukama waffe,” Baxter agamba, biwoomerera nnyo era binsanyusa.” - Richard Baxter, Works, vol. 17, p. 555. “Guno gwe mulimu gw’abakkiriza era beeyise batyo, baagale okulabika kwe n’okutunuulira enkaliriza essuubi eryo ery’omukisa.” “Okufa bwe kuba nga ye mulabe akomererayo okuzikirizibwa ku lunaku Iw’okuzuukira, kitugwanira okumanya abakkiriza bwe balina okuyayaanira n’okusaba ennyo olw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, obuwanguzi buno obwenkomeredde butuukibweko.” Ibid., vol. 17 p. 500. “Luno Iwe lunaku abakkiriza bonna Iwe baagwanidde okwagala ennyo, balulindirire, olw’okubanga ye ntikko y’obununuzi, omuli n’ebyo emmeeme zaabwe bye zeegomba.” “Olwanguyeeko ayi Mukama, olunaku olwo olw’omukisa!” - Ibid., vol. 17, pp. 182, 183. Eryo lye lyali “essuubi ery’ekkanisa eno ey’abatume, ery’ekkanisa mu ddungu” awamu n’Abazza b’ekkanisa obuggya.EE 194.6

    Obunnabbi tebukoma mu kututegeeza bigendererwa bya kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri n’engeri bwe kulifaanana kyokka, naye era butegeeza abantu ne bye balimanyirako nti kuli kumpi okubaawo. Yesu yagamba nti: “Era walibaawo n’obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku munnyeenye.” Lukka 21: 25. “Enjuba erizikizibwa n’omwezi tegulyaka musana gwagwo, n’emunyeenye ziriba nga zigwa okuva mu ggulu, n’amaanyi ag’omu ggulu galikankana. Kale ne balyoka balaba omwana w’omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi amangi n’ekitiibwa.” Makko 13: 24- 26. Ate Omubikkuzi Yokaana naalambulula obubonero obw’okusooka okubaawo mu ku[jakwe: “Ne waba ekikankano kinene; enjuba n’edduggala ng’olugoye olw’ebyoya, n’omwezi gwonna ne guba ng’omusaayi.” Okubikkulirwa 6: 12.EE 195.1

    Obubonero buno bwalabibwa nkuntandikwa y’ekyasa ky’ekkumi n’omwenda. Mu mwaka 1755, musisi ow’entiisa ennyo atalabikangako bwe yayita naatuukiriza obunnabbi obwo. Newakubadde nga yamanyibwa nnyo nga musisi w’ekibuga Liziboni, yasasaana okutuuka mu Bulaaya yenna, Afirika ne mu Amerika. Yawulirwa e Guliinirandi, mu Wesiti Indiizi, ku bizinga bye Madeyira, mu Norwe n’e Swideni, mu Bungereza ne Ayirirandi. Yayita mu bugazi bwa mayiro obukadde buna. Omusinde ogwawulirwa mu Afirika nga gwenkana n’ogwayita mu Bulaaya. Ettunduttundu erisinga obunene mu Aligaazi, lyayonoonebwa; era yazikiriza ekyalo okwali kutudde abantu abali wakati w’akanaana n’omutwalo akabanga si kanene okuva e Moroko. Yayuguumya olubalama lw’e Sipeyini ne Aflrika ey’obukiika kkono, n’azingazinga ebibuga byonna omwali okwononerwa okunene.EE 195.2

    E Speyini ne Potugo gye yasinga okwegiriisiza. Anti e Kadizi yasitula ejjengo ku nnyanja eryalowoozebwa okwenkanankana n’obuwanvu bwa tuuti nkaaga. “Ezimu ku nsozi ezisinga obunene e Potugo ne ziyuguumizibwa ng’ezikwatiddwa ku ntobo y’azo, endala ne zeebikkuka waggulu ku ntikko nga zeeyuzizzaamu mu ngeri ey’ekyamagero, ne zikulumulukuka okweyiwa mu biwonvu ebiriranyewo. Waalabika omuliro ogulowoozebwa okusibuka ku nsozi zino.” - Sir Charles Lyell, Principles of Geology, page 495.EE 195.3

    “Waawulirwa okubwatuka e Liziboni wansi mu tlaka, era amangu ddala ekitundu ekinene ku kibuga ne kyeyiwa ku taka. Mu kabanga ka budakiika mukaaga, abantu abawera kakaaga ne bazikirira. Ennyanja yasooka n’eba nteefu, n’olubalama nga lwereere; ennyanja ne yeesika okudda mu nda, ejjengo ne lisituka obuwanvu bwa fuuti amakumi ataano oba n’okusingawo nga bw’eba bulijjo.” “N’ebirala ebitali byabulijjo ku ebyo ebyatuuka e Liziboni mwe mwali okukka kw’amazzi g’awagobera emmeeri awaali wakazimbibwa, nga baazimbisa mayinja gokka amagumu ddala, ku buwanana bwa sente. Era eyo abantu abayitirivu gye baakugŋaanira nga balaba we wokka gye bayinza okufunira obuddukiro ebizimbe obutabagwako; ekyennaku omwalo gwakka gwonna awamu n’abantu abaaliko, era tewaalabikayo wadde omulambo ogumu bweguti nga guseeyeyeza ku ngulu ku mazzi.” - Ibid., page 495.EE 195.4

    Ekyaddirira oluvannyuma lw’okunyeenyezebwa kw’ensi, ge makanisa gonna n’ebigo okugwa ku ttaka, era kumpi n’ebizimbe byonna ebyolukale ebinene ddala nga kwotadde n’ekitundu kimu kyakuna eky’amayumba agasulwamu. Nga wayise essaawa nga bbiri zokka, omuliro ne gubaluka kumpi mu buli katundu ka kibuga, omuliro ne gwokya buli kantu akandiyokeddwa omuliro ogwandyakidde ennakuEE 195.5

    ssatu, ekibuga ne kisigala mu matongo ddala. Okunyeenya kw’ensi kwaliwo ku lunaku Iwa ggandaalo ng’amakanisa n’ebigo bijjuzizza abantu, era batono ddala abaawonawo.” - Encyclopaedia Americana, art. “Lisibon,” note (ed. 1831). “Entiisa yajjula abantu ebitayogerekeka. Nga tewali akaaba; anti nga kisukka amaziga. Ne badduka nga badda eruuyi n’eruuyi, nga batabuddwa olw’okutya n’okwewuunya, nga bwe bawowogganira waggulu n’okwekuba empi nti: ‘Miseriocardia!’ abamukulu ‘Ensi etuuse ku nkomerero y’ayo!’Abazadde beerabira abaana baabwe, ne badduka nga baambalidde ebifaananyi by’emisaalaba. Eky’omukisa omubi baddukanga bagenda mu makanisa nti gye banaafuna obukuumi, naye nga buteerere; tebaayinza na wadde kutuuka ku alutaali; anti ebifaananyi, abasasedooti, n’abantu bonna baazikiririra wamu.” Kiteeberezebwa nti abantu emitwalo kyenda be baafa ku lunaku olwo.EE 196.1

    Nga wayise emyaka abiri mu etaano, akabonero akalala akoogerwako mu bunnabbi ne kalabika, gwe mwezi n’enjuba okuzikira. Ekyasinga okwewunyisa ennyo mu kabonero kano, kwekuba nti ekiseera mwe kaali akookutuukiririra kyali kyalagulwa dda. Omulokozi bwe yali n’abayigirizwa be ku lusozi lw’emizeyituuni, yaabagamba ng’amaze okubannyonnyola ekiseera ekiwanvu ekkanisa ky’eriyitamu eky’okubonaabona, - emyaka 1260 egy’okuyigganyizibwa, kye yasuubiza nti ekiseera ekyo kirisalibwako, - bwatyo kwe kubabuulira obumu ku bubonero obulikulembera okujja kwe, naabalaga akalisooka okulabika: “Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erizikizibwa n&pos;omwezi tegulyaka musana gwagwo.” Makko 13: 24. Ennaku oba emyaka 1260, gyakoma mu 1798. N&pos;okuyigganyizibwa nga kumpi wonna kuweddewo ng’ekyabula emyaka nga abiri mu etaano. Ekyaddirira okuyigganyizibwa kuno, okusinziira ku bigambo bya Kristo, enjuba erizikira. Nga 19 Mayi, 1780, obunnabbi buno bwatuukirira.EE 196.2

    Eyeerabirako n’amaaso ng’abeera mu Masakyusetisi annyonnyola ebyaliwo ku olwo: “Enjuba yavaayo bulungi kumakya, naye n&pos;egenda ng’ebikibwa mpola. Ebire ne byekulumulula nga bwe bigenda bikwata era nga bitiisa, eggulu ne limyansa, era ne litandika okubwatuka, olukubakuba ne lufuuyirira. Awo ku ssaawa nga ssatu, ebire ne bibula, eggulu ne limyuka, era n&pos;endabika y’ensi, enjazi, emiti, ebizimbe, amazzi n’abantu n’ekyusibwa olw’okwaka kuno okutali kwa bulijjo. Eddakiika ntono ezaddako, ekire ekikutte zzigizzigi ne kyetimba obwengula bwonna nga kireseewo akawaatwa, kyokka nga kakutte ekizikiza okufaanana essaawa essatu ez’akawungeezi....EE 196.3

    Abantu bajyula entiisa n’okweralikirira. Abakyala nga bayimiridde ku miryango, baasamaalirira anti nga balaba ensi ekkutte enzikiza, abasajja ne bakomawo okuva mu nnimiro, ababazzi ne basuulawo emisumeeni, abaweesi ne balekawo ennyondo, abasuubuzi ne baggalawo amaduuka. Abaana ku masomero ne basiibulwa, ne badda eka nga bakankana. Abatambuze ne banoonye awo okumpi ne webaba basula. ‘Kiki ekijja’ kye kibuuzo ekyalinga ku buli mumwa n’omutima gwa buli muntu. Nga kiringa omuyaga ogwamaanyi ogwali gugenda okuyita ku nsi, oba nti enkomerero y’ebintu byonna etuuse.EE 196.4

    Ettaala zaakoleezebwa; emmunyeenye ne zaaka bulungi okwenkana okwenzikiza.... Enkoko ne ziddayo mu biyumba byazo, ente ne ziddayo mu biraalo okulya omuddo omukalu, ebikere ne bivaayo mu bunnya bwabyo, ebinyonyi neEE 196.5

    biyimba ennyimba zaabyo ez’akawungeezi, n’ebinyira ne bujjula obwengula. Kyokka abantu bokka nga be bamanyi nti obudde tebunaziba....EE 197.1

    Omusumba Dr. Nathanael Whitteker ow’ekkanisa ya Tabemacle e Salemi, yateekateeka okusinza, era naabuulira obubaka mwe yakinywereza nti ekizikiza kino si kyabulijjo. Waaliwo n’okusinza ne mu bifo ebirala. Ebyawandiikibwa ebyasomwanga mu bubaka tebyateekebwateekebwa, wabula byali ebyo ebimanyiddwa era ebitegeeza nti ekizikiza kyayogerwako mu bunnabbi.... Ekizikiza kyasinga okukwata awo ku ssaawa nga ttaano ez’oku makya.” The Essex Antiquarian, April 1899, vol. 3, No. 4, pp. 53, 54. “Mu bitundu by’ensi ebirala ebisinga obungi, ekizikiza kyakwata nnyo obudde nga misana, abantu nga tebasobola kutegeera budde ku ssaawa zaabwe, oba okulya, oba okukola emirimu gyonna nga tebakozesezza ttaala....EE 197.2

    Ekizikiza kino kyasukka. Anti Kyalabibwa okuviira ddala eri ebuvanjuba e Falumawusi. Kyatuuka ebugwanjuba awasemba mu bitundu bye Konekitikati ne Alubane. Ebukiika ddyo kyatuuka kumbalama z’ennyanja; ate ebukiika kkono ne kisasaanira amatwale ga Amerika.”- William Gordon, Histiry of the Rise, Progress, and Establishment of the Independence of the U.S.A., vol. 3, p. 57.EE 197.3

    Ekizikiza kino ekyaliwo emisana kyaddirirwa obwengula obwetadde essaawa emu oba nga bbiri obudde okuwungera, enjuba ng’erabika bulungi, newakubadde nga ku ggulu kwaliko olufu olukutte. “01uvannyuma ng’enjuba egudde, ebire byabikka nate obwengula ekizikiza n’ekikwata mangu nnyo nnyini.” “Newakubadde ekizikiza ekyaliwo obudde obw’ekiro, tekyali kyabulijjo era kyali kya ntiisa okwenkana n’ekyaliwo emisana; so ng’ate kwali kwa mwezi, kyokka nga tewali ky’oyinza kulaba wabula ng’okoleezezza ettaala, era nga ne muliraanwa, oba nga kyolaba kiri walako okuva ne wooli, nga kifaanana ng’ekizikiza ky’e Misiri ekitayisikamu maaso.” Isaiah Thomas, Massachusetts Spy; or American Oracle of Liberty, vol. 10, No. 472 (May 25, 1780). Omuntu eyalabako n’amaaso ge agamba: “Nakubanga akafaananyi mu kaseera ako, nga singa buli ekyaka mu bwengula mu bbanga kyali kibikkiddwako kireme okulabibwa, oba ne kijjigirwawo ddala, ekizikiza tekyandikyenkanye.” Letter by Dr. Samuel Tenney, of Exter, New Hampshire, December 1785 (in Massachusetts Historical Society Collections 1792, lst Series, vol. 1, p. 97). Newakubadde nga ku ssaawa essatu ez’ekiro omwezi gwavaayo bulungi ku lunaku olwo, “tegwayinza kumalawo nzikiza eno eringa ey’emagombe.” Naye oluvannyuma lw’ettumbi, ekizikiza kyabula, era n’omwezi, mu kusooka okulabika nga mumyufu okukira omusaayi.EE 197.4

    Nga Mayi 19, 1780, Iwe lunaku olumanyiddwa mu byafaayo nga “Olunaku Lw’ekizikiza.” Era okuviira ddala mu biseera bya Musa, tewabangawo kizikiza ekyali kikyenkanye oba mu bugazi wadde obuwanvu bw’ekiseera. Bwe wetegereza ebigambo by’abo abaalabako n’amaaso gaabwe, mu byo olabamu ebigambo bya Mukama bye yayogerera mu kamwa ka nnabbi Yoweeri emyaka enkumi bbiri mu bitaano kino kiryoke kibeewo: “Enjuba erifuuka kizikiza, n’omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnaba kujja.” Yoweeri 2:31.EE 197.5

    Kristo yatemya ku bantu be batunule nkaliriza okulaba obubonero obukulembera okujjakwe era basanyuke nga babulabye olwa Kabaka waabwe ajja. tfNaye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitweEE 197.6

    gyammwe kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka ” Yasongera abayigirizwa be ku miti egitojjera n’abagamba nti: “Kale bwe gitojjera, mulaba ne muteegeera mwekka, nti kaakano okukungula kuli kumpi. Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” Lukka 21:28, 30, 31.EE 198.1

    Ekyennaku, abantu bwe baggwamu omwoyo gw’obwetoowaze era ogw’okwagala ekkanisa yaabwe, ne bayingirwamu amalala n’eddiini eyokungulu, ne bawola mu kwagala Kristo era n’okukkiriza kwe baalina mu kukomawo kwe. Abantu ba Katonda bano nga bonna bamaliddwawo ensi n’okwagala amasanyu, amaaso gaabwe gaazibwa ne batalaba bubonero bwa kulabika kwe Omulokozi bwe yabagamba. Enjigiriza y’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri yalagajjalirwa; ebyawandiikibwa ebikwogerako ne binyoolebwa okutuusiza ddala Iwe byagibwako omwoyo era ne byerabirwa. Kino kyalabikira nnyo mu kkanisa z’omu Amerika. Anti eddembe n’emirembe abantu abeebiti ebyenjawulo bye beeyagalirangamu; abantu okuyayaanira okufuna obugagga n’okwejalabya, byabaviiramu okumalibwawo okwagala okukola ensimbi, okwagala okumanyika n’okufuna obuyinza, ate nga byonna birabika bisoboka eri buli yenna: ne bibakulembera okuteeka ebirowoozo byabwe ku bintu by’obulamu buno, era ne boongezaangayo wala olunaku olwo olugenda okumalawo ebintu byonna.EE 198.2

    Omulokozi bwe yategeeza abagoberezi be obubonero bw’okukomawo kwe, era yababuulira n’ekiribeerawo ku bantu okuwola n’okudda emabega ng’anaatera okukomawo. Era nga bwe gwali mu biro bya Nuuwa, abantu nga badda eno n’eri okunoonya amasanyu - nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba, nga bawasa, nga bawayiza - nga beerabidde Katonda n’obulamu obugenda okujja. Naye eri abo abaliwo mu kiseera kino Kristo atubuulirira: “Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika.” “Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.” Lukka 21: 34,36.EE 198.3

    Era embeera eno ey’ekkanisa Omulokozi ayongera okugyogerako mu kitabo kya Okubikkulirwa nti: “Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya ery’okuba omulamu, era oli mufu ” Era ayongera okulabula n’abo abakyagaanye okuzuukuka bave mu ebyo bye beesiguliddeko nti: “Kale bw’otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.” Okubikkulirwa 3: 1,3.EE 198.4

    Kyali kikulu nnyo abantu okuzuukusibwa baleme okugwa mu kabi; bazuukuke beeteekereteekere eby’okubaawo ku nkomerero y’ekiseera eky’ekisa. Nnabbi wa Katonda agamba: “Kubanga olunaku Iwa Mukama lukulu, Iwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola?” Ani ayinza okuyimirirawo mu maaso g’oyo “alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu.” Yoweeri 2:11; Kaabakuuku 1:13. Eri abo abakaaba nti, “Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi so nga basobezza endagaano ye, ne bawanyisa Mukama olwa Katonda omulala, nga bakwese obubi mu mitima gyabwe era baagala okutambulira mu makubo g’abatali batuukirivu - era ne bano olunaku lwa Mukama lulibafuukira “kizikiza so si musana, ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala.” Koseya 8: 2, 1; Zabbuli 16: 4; Amosi 5:20.EE 198.5

    “Awo olulituuka mu biro ebyo, bw’ayogera Mukama, nditaganjula Yerusaalemi n’ettabaaza; era ndibonereza abasajja abatasengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mitima gyabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi.” Zeffaniya 1: 2. iCNange ndibonereza ensi olw’obubi bwabwe, n’ababi olw’obutali butuukirivu bwabwe, era ndimalawo ekyejo eky’abalina amalala, era ndikakkanya okwenyumiriza kw’abo abatiisa.” Isaaya 13: II. “Effeeza yaabwe teriyinza kubawonyeza ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama newakubadde ezaabu yaabwe.” “Obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n’ennyumba zaabwe matongo.” Zeffaniya 1: 18, 13.EE 199.1

    Nnabbi Yeremiya bwe yatunuulira ekiseera kino eky’entiisa kyava akaaba nti: “Omutima gwange gunnuma munda mwennyini.... Siyinza kusirika, kubanga owulidde, ai emmeeme yange eddoboozi ly’ekkondeere nga liraye. Okuzikirizibwa okuli kungulu w’okuzikirizibwa kulangirirwa ” Yeremiya 4: 19, 20.EE 199.2

    “Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku Iwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku Iwa kuziikirako n’okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n’ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte, lunaku Iwa kkondeere n’okulawa.” Zeffaniya 1:15, 16. “Laba olunaku Iwa Mukama lujja... okuzisa ensi, n’okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.” 13: 9.EE 199.3

    Ekigambo kya Katonda kyegayirira nga kiyita abantu be bazuukuke okuva mu tulo era banoonye amaaso ge n’okwenenya nga beetoowaza olw’olunaku olwo olukulu nti: “Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni era mulayize ku lusozi Iwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku Iwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi.” “Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mutukuze ekibiina, muleete abaana abato... awasa omugole ave mu kisenge kye, bakabona abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w’ekisasi n’ekyoto.” “Kaakano munkyukire n’omutima gwammwe gwonna, n’okusiiba n’okukaaba amaziga, n’okuwuubaala: era muyuze emitima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wa kisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa.” Yoweeri 2: 1,15,- 17, 12, 13.EE 199.4

    Ng&pos;omulimu omukulu ogw’okuzza obuggya abantu bateekebweteekebwe okusisinkana Katonda ku lunaku olukulu nga gulina okutuukirizibwa. Anti abantu ba Katonda nga tebakyazimba ku musingi ogw’olubeerera; wabula Katonda mu kusaasira kwe ng’ateekateeka okubaweereza obubaka obw’okulabula bazuukuke bave mu tulo basaanire okusisinkana Mukama ajja.EE 199.5

    Okulabula kuno kulabikira mu kitabo kya Kubikkulirwa 14. Wano woosanga obubaka obulangirirwa bamalayika abasatu era ne bugobererwa okulabika kw’Omwana w’omuntu akungule “ebikungulwa eby’ensi.” Okulabula okusooka kulangirira ekiseera eky’omusango. Nnabbi yalaba malayika ng’abuuka mu “bbanga ery’omu ggulu, ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe okubuulira abatuula ku nsi, na bulu ggwanga n’ekika n&pos;olulimi n’abantu, ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky&pos;omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n&pos;ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.” Okubikkulirwa 14:6,7.EE 199.6

    Obubaka buno bwe bukola ekitundu ku “njiri ey’emirembe n’emirembe.” Omulimu gw’okubuulira enjiri tegwakwasibwa bamalayika, wabula bantu. Bamalayika abatukuvu baaweebwa buvunaanyizibwa bwa kugulugrjamya, era bavunaanyizibwaEE 199.7

    n’okulabirira enteekateeka y’obulokozi bw’abantu; naye omulimu gwennyini ogw’okubuulira gukolebwa baddu ba Kristo abali ku nsi.EE 200.1

    Abaddu ba Katonda abeesigwa nga bawulize eri okulumirizibwa kw’omwoyo wa Katonda Omutukuvu era n’eri ekigambo kye, nga balina okutegeeza okulabula kuno eri ensi. Abo be baali abawulize eri “ekigambo kya bannabbi ekinywevu, “ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza, okutuusa obudde lwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’eyaka.” 2Peetero 1:19. Baanoonya okumanya kwa Katonda okusinga obugagga bwonna ne baanoonya amagezi ga Katonda okusinga ekyobugagga ekikusike, ne bakibala nga “obuguzi bwago businga obuguzi bwa ffeeza.” engero 3: 14. Ne Katonda n’ababikkulira ebikulu eby’obwakabaka. Anti, “ekyama kya mukama kiri mu abo abamutya; era anaabalaganga endagaano ye.” Zabbuli 25: 14.EE 200.2

    Abayivu mu ddiini si be baamanyisibwa amazima gano, wadde okugabuulira. Kyokka singa baayinza okutunula mu bwesigwa, ne banoonya mu byawandiikibwa n’okusaba, banditegedde ekiseera obudde nga kiro; era obunnabbi bwandibazibudde amaaso ne balaba eby’okubaawo amangu. Ekyennaku tebaayinza kukozesa mukisa guno, obubaka ne buweebwa abantu aboomutindo ogwa wansi. Yesu yagamba: “Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo.” Yokaana 12: 35. Bonna abakuba omugongo eri omusana Katonda gwamulisizza, oba ne bagulagajjalira so ng’ate bayinza okugwenoonyeza, baba mu kizikiza. Naye omulokozi agamba nti: Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n’omusana ogw’obulamu.” Yokaana 8: 12. Oyo yenna atawugulibwa na bigendererwa birala mu kunoonya Katonda by’ayagala era nga muwulize eri omusana ogwamuweebwa, wakuweebwanga omusana ogusingako, era emmunyeenye ey’eggulu yakwakayakanira mu mmeeme ye okumuluijgamya mu mazima gonna.EE 200.3

    Bakabona n’abawandiisi b’ekibuga ekitukuvu, abaali baakwasibwa ebitukuvu bya Katonda, bandiyinzizza okwetegereza obubonero bw’ebiseera era ne balangirira okujja kw’oyo eyasuubizibwa mu biro Kristo we yasookera okujyira. obunnabbi bwa mikka bwali bwategeeza ekifo gy’alizaabibwa; Danieri yategeeza ekiseera ky’alijjiramu. Mikka 5:2; Danieri 9: 25. Obunnabbi buno Katonda yabukwasa abakulembeze b’abayudaaya; nga tebalina kya kwekwasa olw’obutamanya n’obutategeeza bantu nti masiya ali kumpi nnyo okujja. Obutamanya bwabwe bw’aviiramu abantu okwonoona. Abayudaaya ne badda mu kuzimbanga ebijjukizo by’abannabbi ba Katonda abattibwanga, nga bwe banyooma abantu abakulu mu nsi, so ng’olwo bali mu kusinza baddu ba Setaani. Tebaayinza kulaba kuteesa kwa kabaka ow’eggulu ng’abawa ebitiibwa bya Katonda olw’okumalibwangawo entalo nga balwanira ebifo eby’ekitiibwa era n’obuyinza bw’ensi eno.EE 200.4

    Abakadde ba Isiraeri nga bandinoonyerezza nnyo bazuule ekifo, ekiseera, n’embeera ekwata ku nsonga enkulu ennyo bweti mu byafaayo by’ensi ey’oku[ja kw’Omwana wa Katonda a[ja okutuukiriza obununuzi bw’omuntu. era abantu nga be bandibadde bali mu kutunula n’okulindirira bayinze okubeera mu abo abandisoose okwaniriza Omununuzi w’ensi. Naye, laba, abatambuze babiri okuva mu nsozi z’e Nazaleesi abaali bakooyeseddwa n’olugendo okuyita mu nguudo enfunda zityo okugenda mu kabuga ak’ebuvanjuba Beserekemu, nga bwe banoonya ekifo aw’okusula mu kiro ekyo. Kyokka nga tewali kisulo we bayinza kusuzibwa. Wabula mu kiyumba omusuzibwa ente, mwe baafuna obubudamo, era eyo Omulokozi w’ensi gye yazaalirwa.EE 200.5

    Bamalayika okuva mu ggulu baali baalaba ku kitiibwa Omwana wa Katonda kye yalina ng’ekya Kitaawe ensi nga tennabaawo, era ne batunula nkaliriza okumulaba lw’alirabika eri abantu bonna ku lunaku olujjudde essanyu bw’aliba ng’ajja ku nsi. Era ne bakwasibwa obuvunaanyizibwa okutwala amawulire amalungi ago eri abeeteeseteese okugaaniriza era nabo bagamanyise mu ssanyu eri abatuula wonna ku nsi. Kristo yekkakkanya ayambale obutonde bw’omuntu; ng’alina okusitula omugugu ogw’ennaku ey’olubeerera bwe yakkiriza okuwaayo obulamu bwe okuba saddaaka olw’ekibi; naye era, nga bamalayika beegomba okulaba nga newakubadde omwana w’Oyo ali waggulu ennyo yatoowazibwa, kimugwanira okulabika eri abantu mu kitiibwa ekimusaanira. Ddala abantu abakulu ab’ensi bandikuŋŋaanidde mu kibuga kya Isiraeri ekikulu okumwaniriza ng’ajja? Ddala bamalayika baandimwanjulidde abantu ababadde bamusuubira?EE 201.1

    Malayika bwe yakyala ku nsi okulaba baani abeeteeseteese okwaniriza Yesu, teyazuulayo wadde akabonero akamu bwe kati ak’okumwaniriza. Teyawulirayo wadde eddoboozi ery’okutendereza oba okujaganya nti oba oli awo ekiseera ky’okulabika kwa Masiya kisembedde. Malayika naagumiikirizaako ng’ali mu bwengula bw’ekibuga ekironde ne ku yeekaalu Katonda gye yeyolesezanga ebbanga lyonna; naye era n’eyo nga tewali njawulo. Wabula bakabona abambadde amaganduula era abajjudde amalala abali mu kuwaayo saddaaka ezoononeddwa. Abafalisaayo nga bali ku mabbali ng’enguudo bwe boogerera waggulu eri abantu oba okusaba essaala ez’okwewaana. Mu mbiri za bakabaka, mu makuŋŋaaniro g’abagezigezi, ne mu masomero g’abawandiisi b’amateeka, bonna nga bafaanana era nga tebamanyi nti eggulu lyonna lujjuddemu essanyu n’okutendereza olw’amazima agewuunyisa - ge g’Omununuzi w’abantu agenda okulabika ku nsi.EE 201.2

    Nga tewali bukakafu nti Kristo asuubirwa, era nga tebeteeseteese kwaniriza omulangira w’obulamu. ekyennaku era ekyewunyisa, ye malayika omubaka w’eggulu okuddayo mu ggulu ng’atwala amawulire agaswaza bwe yazuulayo akabinja k’abasumba abaali ku ttale obudde obw’ekiro nga balunda ebisibo byabwe, era bwe baali nga batunudde mu bwengula bw’eggulu, eno nga bwe bafumiitiriza ku bunnabbi bwa Masiya agenda okujja ku nsi, era nga balindirira okulabika kw’Omununuzi w’ensi. Wano we waali abeteeseteese okwaniriza obubaka okuva mu ggulu. Era mangu nnyo malayika wa mukama n’abalabikira ng’abategeeza amawulire amalungi ag’essanyu eringi. Obwengula bwonna ne bujjula ekitiibwa ky’eggulu, ne bamalayika bangi abatayinza kubalibwa ne balabibwa, ng’ekitegeeza nti malayika omu teyayinza kwetikka ssanyu eringi lityo okuva mu ggulu, ne babaguka okutendereza mu maloboozi amangi oluyimba oluliyimbibwa ku lunaku luli amawanga gonna agaanunulwa nti: “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo, ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasimiibwa.” Lukka 2: 14.EE 201.3

    Hmm! ng’ekyokuyiga kino kirungi nnyo ku ebyo ebyatuuka e Beserekemu! Nga kitubuulirira ku butakkiriza bwaffe, omuli amalala n’okwematira. Nga kitulabula twegendereze, si kulwa nga naffe twonoona olw’obutafTaayo ne tulemererwa okwetegereza obubonero bw&pos;ebiseera, era bwe tutyo ne tutamanya lunaku Iwa kukyalirwa kwaffe.EE 202.1

    Abantu abaali batunula nga balindirira okujja kwa masiya malayika be yasanga tebaali ba ku nsozi za buyudaaya zokka, wadde abasumba abaali ku ttale bokka. Ne mu nsi z’abamawanga, waaliyo abaali bamulindirira; be bantu abaali abagezi, abagagga, abakungu, n&pos;abagezigezi okuva ebuvanjuba. Abamagi abayiga ku butonde, baali baalaba Katonda nga basinziira ku butonde bwe. Baayiga ku mmunyeenye eriva mu yakobo nga bakozesa ebyawandiikibwa by’olwebbulaniya, era ne baagala nnyo okumulaba ng’ajja, oyo atakoma mu “kusanyusibwa kwa Isiraeri&pos;‘ kyokka, naye era “ow&pos;okuba omusana ogw’okumulisa amawanga,” era “obulokozi okutuusa ku nkomerero y’ensi.” Lukka 2: 25, 32; Ebikolwa by’Abatume 13: 47. Baanoonyanga omusana, era omusana okuva mu ntebe ya Katonda ne gubamulisizanga ekkubo ly’ebigere byabwe. Eno nga bakabona ne ba rabbi abali e Yerusaalemi, abaateresebwa amazima era bagannyonnyole eri abantu, ekizikiza kibabuutikidde, emmunyeenye okuva mu ggulu yakulembera abamawanga bano okubatuusa mu kifo kabaka omuggya gy’azaaliddwa.EE 202.2

    “Kristo... alirabika omulundi ogwookubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw’obulokozi.” Abaebbulaniya 9: 28. Era okufaanana n&pos;amawulire ag’okuzaalibwa kw’Omulokozi, n’obubaka bw&pos;okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri tebwakwasibwa bakulembeze ba bantu mu ddiini. Baalemererwa okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda, era ne bagaana n’omusana okuva mu ggulu; n&pos;olwekyo tebali ku muwendo gw&pos;abo omutume Pawulo baayogerako nti: “naye mmwe abooluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng’omubbi: kubanga mmwe mmwena muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro, newakubadde ab’ekizikiza.” 1 Abasess. 5:4, 5.EE 202.3

    Abakuumi ba Sayuuni be bandisoose okulaba amawulire g&pos;okujja kw’Omulokozi, era be bandisoose okusitula amaloboozi gaabwe balangirire nti asembedde, era balabule abantu beetekereteekere okujja kwe. Eky’omukisa omubi, baali mu ggandaalo, nga baloota kunoonya mirembe na bukuumi, abantu nga bwe beebakidde mu bibi byabwe. Yesu yalaba ekkanisa ye, ng’eringa omuti omutiini ogutaliiko bibala, wabula okubikkiddwa amakoola gokka omutali bibala. Abantu nga balina eddiini ya kungulu, naye ng’omwoyo gw’obwetoowaze, okwenenya awamu n’okukkiriza - ebiyinza okuleetera okuweereza kukkirizibwe eri Katonda, nga tebabirina. Mu kifo ky&pos;abantu okwolesa ekisa ekiweebwa Omwoyo, nga mu bo olabamu malala, eddiini ey&pos;okungulu, okwenyumiriza, okwerowoozaako, n’okuyigganya abalala. Ekkanisa ng’ezze emabega olw’okuziba amaaso gaayo eri obubonero obw’ebiseera. Kyokka Katonda teyabeerabira, wadde okukkiriza obwesigwa bwe okuggwaawo; naye bo be baamuvaako, ne beeyawula okuva ku kwagala kwe. Era gye baakomanga okugaana okuwulira by&pos;agamba, n’ebisuubizo bye gye byakomanga obutatuukiririra mu bo.EE 202.4

    Ebyo bye bimu ku bukakafu obuva mu kunyooma omusana n’emikisa Katonda by’agaba. Okuggyako ng’ekkanisa enekkiriza okwetwalira emikisaEE 202.5

    gye egigibikkuliddwa, n’ekkiriza buli musana, n’eteeka mu nkola ebiyinza okugibikkulirwa, eddiini egya kuggwaamu ensa efuuke ey’emikolo, n’omwoyo ogw’okutya Katonda gusaanewo. Amazima gano galabikidde nnyo mu byafaayo bye kkanisa. Katonda ayagala nnyo abantu be boolese ebikolwa eby’okukkiriza n’obuwulize nga bitambulira wamu n&pos;emikisa gye gy’agaba. Mu buwulize mulimu okwewaayo era n’okwetikka omusaalaba; era eyo ye nsonga Iwaki n’abagoberezi ba Kristo baagaana okwaniriza omusana oguva mu ggulu, era nga n’Abayudaaya ab’edda, bwe batyo ne batamanya kiseera kya kukyalirwa kwabwe. Lukka 19: 44. Mukama yabayitako olw’emitima gyabwe okujjula amalala n&pos;obutakkiriza, bwatyo n’abikkulira amazima ge abasumba b’e beserekemu n&pos;abamagi okuva ebuvanjuba abakkiriza okwetwalira omusana gwe baafuna.EE 203.1

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents