Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents

Essuubi Eritaggwaawo

 - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    20 — Okuzzaobuggya Eddiini Okukulu

    Obunnabbi bwa malayika ow’olubereberye mu Kubikkulirwa 14, bulangirira eddiini okudda obuggya okukulu wansi w’omulamwa gw’okujja kwa Kristo okwamangu ddala. Malayika alabibwa ng’abuuka “mu bbanga ery’omu ggulu,EE 227.5

    ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” “N’ayogera n’eddoboozi ddene nti ‘Mutye Katonda mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.’” Oluny. 6,7.EE 228.1

    Malayika okuba nga yagambibwa okulangirira okulabula kuno nsonga nkulu ddala. Katonda mu magezi ge yasiima omubaka ow’eggulu, mu butukuvu bwe, ekitiibwa, ne mu maanyi ge ye aba akola omulimu guno ogw’ekitiibwa mu kutwala obubaka mu maanyi ne mu kitiibwa ekigusaanira. Era n’okubuuka kwa malayika “mu bbanga ery’omu ggulu,” awamu n’okwogeza “eddoboozi eddene” ng’ategeeza okulabula kuno, ate ng’akutegeeza bonna “abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu,” - biraga obwangu n’okusasaana kw’omugendo.EE 228.2

    Obubaka bwennyini butuwa omusana ku kiseera ekituufu omugendo guno we gulibeererawo. Butulaga nga ekyo kitundu ku “njiri ey’emirembe n’emirembe;” ate era bulangirira entandikwa y’ekiseera eky’omusango. Obubaka obw’obulokozi bubadde bubuulirwa okuyita mu mirembe gyonna; naye nga obubaka buno obukola ekitundu ku njiri, bwo nga bulina kubuulirwa mu nnaku ez’oluvannyuma zokka, kubanga olwo Iwe buyinza okubeera obw’amazima nti ekiseera eky’omusango gwe kituuse. Obunnabbi butulaga ebintu nga bwe bijja biddiriŋŋana okutuuka ku ntandikwa y’okusala omusango. Era kino kirabikira nnyo mu kitabo kya Danieri. Naye ekitundu ekyo ku bunnabbi bwe ekikwata ku nnaku ez’oluvannyuma, Danieri yategeezebwa abikke ku bigambo asse akabonero ku kitabo “okutuusa ekiseera eky’enkomerero.” Era okutuusa nga tutuuse ku kiseera ekyo obubaka buno obukwata ku kusala omusango lwe bulina okubuulirwa, nga butuukiriza obunnabbi buno. Wabula mu nnaku ez’oluvannyuma, nnabbi agamba nti, “bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera.” Danieri 12: 4.EE 228.3

    Omutume Pawulo yalabula ekkanisa ereme kulindirira Kristo mu biro ebyo. “Kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng’okwawukana kuli kumaze okubaawo, era omuntu oli ow’okwonoona nga alimala okubikkulwa.” 2Abasessaloniika 2: 3. Okutuusa nga wabaddewo bangi abavudde mu ddiini era okutuusa nga wayise ekiseera ekiwanvu “omuntu ow’okwonoona nga yaafuga, olwo lwe tunaayinza okulindirira okukomawo kwa Mukama wafTe. “Omuntu ow’okwonoona,” era amanyiddwa nge “ekyama ky’obujeemu,” “omwana w’okuzikirira,” era “omubi oyo,” ayimiriddewo mu kifaananyi ky’obwapapa, oyo ayogerwako mu bunnabbi nti waakufugira emyaka 1260. Ekiseera kino kyaggwaako mu 1798. Okujja kwa Kristo nga tekuyinza kubaawo okutuusa nga ekiseera ekyo kiweddeko. Okulabula kwa Pawulo kwatwaliramu Obukristaayo bwonna okutuukira ddala mu mwaka 1798. Era obubaka buno obw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri bwakubuulirwa mu mulembe guno.EE 228.4

    Tewali bubaka bwa ngeri eno obwali bubuuliddwa mu mirembe egyo. Era nga bwe tulabye Pawulo naye teyabubuulira; wabula yabalengezanga mu maaso eyo mu kiseera ekyo ewaali ewala nti Kristo waalikomerawo. Abazza b’ekkanisa nabo tebabubuulira. Martin Luther yasuubira nti olunaku olw’okusala omusango lwakubaawo mu myaka nga bisatu egijja okuva mu kiseera kye. Naye oluvannyuma lwa 1798 ekitabo kya Danieri kyagibwako envumbo, okumanya kw’obunnabbi kweyongedde, era bangi babadde babuulira obubaka bw’olunaku olw’okusala omusango nti lusembedde.EE 228.5

    Okufaanana n’omuggundu gw’Okuzza Obuggya ekkanisa ogwaliwo mu kyasa ky’ekkumi n’omukaaga, n’Abadventi baabuna kumpi mu buli nsi z’Obukristaayo zonna mu kiseera kye kimu. Abantu abalimu okukkiriza era abasabi okuva mu Bulaaya ne mu Amerika baayigirizibwa obunnabbi, ne banoonya mu byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, era ne bakizuula nga enkomerero y’ebintu byonna esembedde. Ate mu nsi endala waaliyo obubinja bw’Abakristaayo abeeyigiriza ku bwabwe Ebyawandiikibwa, ne batuuka okukkiriza nti Omulokozi anaatera okudda.EE 229.1

    Mu 1821, nga waakayita emyaka esatu okuva Miller Iwe yawandiika ekiwandiiko nnamutaayika eky’obunnabbi obulaga ekiseera eky’okusala omusango, Dr. Joseph Wolff, “ow’obuminsani mu nsi yonna,” naye naatandika okubuulira nti Mukama anaatera okudda. Wolff yazaalibwa mu Bugirimaani, ng’abazadde be Bayudaaya, kitaawe nga Iabbi. Bwe yali nga akyali muto ddala yakkiriza amazima g’eddiini y’Obukristaayo. Yali afaayo nnyo era anoonyereza naddala bwe yali mu maka g’ewaabwe ag’Abaebbulaniya amakuukuutivu abaakuŋŋaananga buli nkya okwejjukanyanga essuubi n’okwesunga kw’abantu baabwe, okuli mu Masiya agenda okujjira mu kitiibwa n’okuzzaawo eggwanga lw’Abayisiraeri. Olunaku lumu yawulira nga boogera ku Yesu ow’e Nazaaleesi, omulenzi kwe kwebuuza nti oba ye ani oyo. Yaddibwamu nti, “Omuyudaaya eyali omugezi ennyo, naye olw’okweyita Masiya, olukiiko lw’Abayudaaya lwamusingisa omusango n’attibwa.” “Lwaki?” bwe yayongera okubuuza, “ne Yerusaalemi nakyo kyazikirizibwa, era Iwaki tuli mu buwambe?” Beesanga babotodde ekyama nti: “Ndowooza Yesu yali nnabbi, Abayudaaya ne bamutta nga talina musango.” - Travels and Adventures of the Rev. Joseph Wolff, vol. 1, p. 6. Ekirowoozo kino kyamugenda wala nnyo, nga newakubadde yakugirwa obutayingira mu kkanisa z’Abakristaayo, yateranga naayimirira wabweru okuwuliriza nga babuulira.EE 229.2

    Ng’awezezza emyaka musanvu gyokka egy’obukulu, yali nga tatya kugenda wa muliraanwa waabwe eyali omuntu omukulu mu myaka amubuuze ku buwanguzi bwa Isiraeri obw’omu maaso ku kujja kwa Masiya, era naye eyamuddamu n’eggonjebwa nti: Mwana wange, ka nkubuulire Masiya omutuufu: ye Yesu ow’e Nazaleesi,... oyo bajjajja bo gwe baakomerera era nga bwe baakolanga bannabbi ab’edda. Ddayo eka osome essuula 53 eya Isaaya, ojja kukizuula nga Yesu Kristo ye Mwana wa Katonda.” - Ibid., vol. 1, p. 7. Yawulira okulumirizibwa okwamaanyi mu ye. Yakomawo eka naasoma Ebyawandiikibwa, ne yewuunya okulaba nga bwe byamutuukirirako oyo Yesu ow’e Nazaleesi. Ddala ebigambo by’Abakristaayo bituufu? Omulenzi kwe kusaba kitaawe amunnyonnyole ku bunnabbi, naye yewuunya okulaba nga kitaawe tamunyeze era naalayira obutaddamu kumwebuuzaako ku nsonga eyo. Wabula kino, kyamwongeramu bwagazi bwa kwagala kweyongera kumanya ku ddiini y’Obukristaayo.EE 229.3

    Okumanya kwe yali yetaaga nga kumukwekeddwa mu ngeri ey’amagezi mu maka g’ewaabwe ag’Abayudaaya; kyokka bwe yaweza emyaka kkumi na gumu egy’obukulu, n’ava mu nju ya kitaawe naagenda mu nsi okweyongera okusoma, okusalawo eddiini ye n’okwefunira omulimu. Yasooka kusuzibwa mu baganda be, wabula ne bamugoba olw’okulabika nga eyagwa, era bwatyo naatandika obulamu obw’omu atalina sente era emmomboze. Yagendanga atambulanga ngaEE 229.4

    bwe yeyongera okusoma n’okweyimirizaawo nga bw’asomesa Olwebbulaniya. Olw’okuyigirizibwa omusomesa Omukatoliki yeesanga nga akkirizza eddiini y’Abaluumi era ne yeyama abeere omuminsani eri abantu be. Era bwatyo yagenda mu ssomero lyabwe erisomesa okusasaanya eddiini e Luumi oluvannyuma lw’emyaka si mingi. Kyokka ate eyo, yalabibwa ng’alimu enjigiriza z’obulimba, bambi olw’okubanga teyayagalanga kumulowooleza n’olw’okubeera omwanjulukufu mu njogera ye. Yavumirira nnyo obulyake obwali mu kkanisa era ng’asaba bakyuseemu. Newakubadde nga yasooka n’ayagalibwa nnyo abakungu ba papa, naye oluvannyuma yagobwa e Luumi. Yagenda yetegerezebwa ekkanisa mu buli kifo gye yagendanga, okutuusa Iwe kyakakasibwa nti takyayinza kuzzibwa wansi wa bufuge bwa Luumi. Baamulangirira okuba atafugika era ne bamuwa eddembe agende gy’ayagala. Yagenda e Bungereza era bwe yakkiriza enzikiriza y’Abapulotestanti ne yegatta ku kkanisa y’Abangereza. Yafuluma mu mwaka 1821 oluvannyuma lw&pos;emyaka ebiri egy’okusoma, naayolekera omulimu gwe.EE 230.1

    WolfT bwe yakkiriza amazima amakulu ag’okujja kwa Kristo okwasooka nga “Omuntu ow’ennaku era eyamanyiira obuyinike,” yakiraba nga mazima obunnabbi era bwoleka ne mu ngeri yeemu oku[ja kwa Kristo omulundi ogwokubiri mu maanyi ne mu kitiibwa. Era bwe yayagala abantu be abatuuse ku Yesu ow’e Nazaleesi nga y’Oyo Eyasuubizibwa, era abalage nti ye yasooka okujja nga mwetoowaze era nga saddaaka ku Iw’ebibi by’abantu, era yabayigiriza ne bw’agenda okukomawo omulundi ogwookubiri nga Kabaka era ng’Omununuzi.EE 230.2

    Yagamba nti: “Yesu ow’e Nazaleesi, Masiya ow’amazima, oyo eyafumitibwa ebiwundu mu bibatu bye era ne mu bigere bye, eyaleetebwa ng’Omwana gw’endiga okuttibwa, oyo eyali Omuntu ow’ennaku era eyamanyiira obuyinike, oyo eyagibwako engule y’obwakabaka bwa Yuda n’obuyinza wansi w’ebigere bye, oyo eyajja omulundi ogwasooka; alikomawo nate ku bire eby’eggulu, n’ekkondeere lya Malayika omukulu” (Josph Wolff, Researches and Missionary Labours, Page 62), “era aliyimirira ku lusozi lw’emizeyituuni, akwasibwe obufuzi obwali obwa Adamu okufuga obutonde bwonna, kyokka ne bumugibwako, Lub. I: 26; 3: 17. Yalifuga ensi yonna nga Kabaka. Okusinda n’okukungubaga kw’ebitonde byonna kulikoma, naye ennyimba ez’okutendereza n’okwebaza ze ziriwulirwa.... Yesu bw&pos;alikomawo mu kitiibwa kya Kitaawe, n’ekya bamalayika,... abafu abaafiira mu ye be balisooka okuzuukira. 1 Abasessaloniika 4: 16; lAbakkolinso 15: 32. Ekyo ffe Abakristaayo kye tuyita okuzuukira okw’olubereberye. Ku olwo, ensolo lwe zirikyusa enneyisa yaazo (Isaaya 11: 6-9), nga zikkakkana mu maaso ga Yesu. Zabbuli 8. Ensi yonna lw’erifuna emirembe egy’olubeerera.” - Joumal of the Rev. Joseph Wolff, page 378, 379. “Mukama lw’alitunuulira ensi nate, n’ayogera nti, ‘Laba, byonna nga birungi.’” - Ibid., page 294.EE 230.3

    Wolff yakkiriza nti okujja kwa Mukama kusembedde nnyo nnyini, era okusinziira ye nga bwe yannyonnyolanga era ne ku bwe yabalangamu ebiseera by’obunnabbi, ng’alaba entikko ya byonna yakubaawo mu myaka si mingi okwenkana egya Miller gye yayogerako. Yagamba bonna abaali bamuwakanya nga bakozesa Ebyawandiikibwa nti “Eby’olunaku luli n’ekiseera tewali abimanyi,” era nti tekigwanira bantu kumanya bya ntuuko ya kukomawo kwe, bwe yabaddamu nti: “Ddala Mukama waffe yayogera nti olunaku n’ekiseera tekitugwaniraEE 230.4

    kubimanya? Teyatuwa obubonero bw’ebiseera, waakiri tumanyeeko ku ntuuko y’okukomawo kwe, ng’oli bw’amanya entuuko y’ekiseera omutiini bwe gutojjera amalagala gaagwo? Matayo 24: 32. Tetulimanya kiseera ekyo, so nga teyakoma mu kutubuulirira kyokka nti tusome obunnabbi bwa Danieri, naye era n’okubutegeera tubutegeere? era nga mu Danieri mwennyini, mwagambira nti ebigambo byabikkibwako okutuusa ekiseera eky’enkomerero (so ng’ate kye kyali ekiseera kye mu biro ebyo), era nga ‘bangi abaliddiŋŋana embiro’ (enjogera y’Abaebbulaniya etegeeza okwetegereza n’okulowooza ku biseera), ‘n’okumanya’ (ng’ayogera ku kiseera ekyo), ‘kulyeyongera.’ Danieri 12:4. Ng’ogyeko ebyo, Mukama wafTe tategeeza nti, entuuko y’ebiseera teteekwa kumanyibwa muntu yenna, naye nti ‘olunaku’ lwennyini ‘n’ekiseera tewali abimanyi.’ Ekisingawo, agamba nti olunaku lulitegeererwa ku bubonero bw’ebiseera, tusikirizibwe okweteekarateekera okujja kwe nga Nuuwa bwe yateekateeka eryato.” - WolfT, Researches and Missionary Labours, page 404,405.EE 231.1

    Ng’ayogera ku nnyinnyonnyola entuufu oba enkyamu ku Byawandiikibwa eyalingawo mu kiseera ekyo mu bantu abasinga obungi, Wolffyawandiika bwati: “Ettundutundu ly’Abakristaayo abasinga obungi bakyamye okuva ku ntegeera entuufu ey’Ebyawandiikibwa ne badda mu nsinza ng’ey’Ababudisti ey’emizimu, abakkiriza nti abantu okusanyuka kwe basuubira okutuukako mu maaso eyo kitegeeza kuseeyeeyeza mu bwengula, era nga bagamba nti bw’osoma ku Bayudaaya, tegeera nti oba oyogera ku bamawanga; era nti bw’osoma Yerusaalemi, bategeere nti otegeeza kkanisa; era nga singa kyogera ku nsi, oba otegeeza bwengula; era nga okukomawo kwa Mukama wafife, bakimanye nti okwo kwe kweyongera kw’Ebibiina ebibuulizi By’enjiri; era nti okugenda ku lusozi Iw’ennyumba ya Mukama, kitegeeza okusisinkana kw’Abamethodisti mu bibiina byabwe.”- Joumal of the Rev. Joseph Wolflf, page 96.EE 231.2

    Mu myaka abiri mu ena egyayitawo okuva mu 1821 okutuuka mu 1845, Wolfif yatambula nnyo mu: Afrika, yakyalira Bulaaya, ne Abisiiniya; mu Asiya, n’atalaaga ensi za Buwalabu omuli, Palesitiina, Busuuli ne Buperusi, Bokala ne Buyindi. Era yagendako ne mu Amerika, eyo gye yabuulirira obubaka ku bizinga bya St. Helena. Yatuuka e New York mu Agusto, 1837; era oluvannyuma lw’okubuulira mu kibuga ekyo, yabuulira ne mu Firaderufiya awamu ne Baltimo, n’afuundikirira e Washington. “Wano,” agamba nti, “eyali Pulezidenti wa Amerika, John Quincy Adams, bwe yaleeta ekiteeso mu zimu ku nkiiko za Amerika enkulu njogereko eri olukiiko, olukiiko Iwasemba ekiteeso awatali kwesalamu ne lunzikiriza nkozese ekisenge ky’olukiiko lw’eggwanga nga njogererayo, era ne mbulirirayo obubaka ku lunaku Iwa satade, mwe nafunira omukisa okwogera eri abakiise bonna, era n’eri omulabirizi we Vaginiya awamu n’abasumba era n’abatuuze be Washington. Era nafiina omukisa gwe gumu obukulembeze bwe New Jasse ne Penisirivaaniya bwe bwanzikiriza ne mbabuulira ku kunoonyereza kwange bwe nnali mu Asiya, era n’ekyo Yesu Kristo kyakoze mu bulamu bwange.”- Ibid., page 398,399.EE 231.3

    Dr. Wolff yatambula nnyo mu nsi za bakanywamusaayi eyo mu Bulaaya wakati mu buzibu obungi era mu bulabe obutayogerekeka, naye nga taweereddwa bukuumi bwonna. Yakubwa nnyo ebigere n’obukongowule nga kwotadde okumulumya enjala, yatundibwa ng’omuddu, era yasalirwako ogw’okufa enfunda ssatu.EE 231.4

    Emirundi egimu yazingizibwako abazigu ate olulala kaabula katono afe ennyonta. Olumu yanyagibwako ebintu bye byonna obutamulekera kantu kyokka ng’alina okutambula mayilo ezisoba mu kikumi ku bigere ate wakati mu nsozi, omuzira nga bwe gumuyiika mu maaso era ne ku bigere ebitali mu ngatto nga bisannyaladde olw’okubirinnyisa ku ttaka eriringa omuzira.EE 232.1

    Bwe yalabulibwa akome okutambula mu bantu ab’obulabe era abakambwe nga talina kyakulwanyisa, yeyogerako nti “nnina ebyokulwanyisa” - “kwe kusaba, okwagala Kristo, era n’okwesiga obuyambi bwe.” “Era,” agamba, “Katonda ambeera olw’okwagala kwe era n’olw’okuba ow’omukwano mu mutima, ate era nnina ne Bayibuli.” - W.H.D. Adams, In Perils Oft, page 192. Yatambulanga ne Bayibuli y’Olwebbulaniya awamu n’ey’OIungereza buli gye yagendanga. Agamba mu emu ku bbaluwa ze ezasembayo nti: “Bayibuli yabanga mbikkule mu mukono gwange. Nga mpulira amaanyi gange gandi mu Kitabo, era nga obuyinza bwayo bwe bumpanirira.” -Ibid., p. 201.EE 232.2

    Bwatyo bwe yanywerera ku mulimu gwe okutuusa obubaka bw’olunaku lw’okusala omusango bwe yabuuliranga lwe bwatuusibwa mu bitundu bingi eby’ensi omuli abantu. Yasasaanya ekigambo kya Katonda mu Bayudaaya, mu Batuluuki, Abaperusi, Abahindu, n’amawanga amalala mangi agoogera ennimi ez’enjawulo nga bwagenda alangirira obufuzi bwa Masiya obusembedde.EE 232.3

    Yasanga mu bantu abeesudde eyo mu byalo enjigiriza y’okukomawo kw’Omulokozi bwe yali atambula mu bitundu bya Bokala. Abawalabu be Yemeni, agamba nti, nga “balina ekitabo ekiyitibwa Seera, ekyogera ku kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri n’obufuzi bwe obw’ekitiibwa; era nga basuubira nti waliwo eby’okubaawo n’enkyukakyuka nnyingi mu mwaka 1840.” - Joumal of the Rev. Joseph Wolff, page 377. “Bwe nnali mu Yemeni... nnasulako n’abaana ba Lekabu okumala ennaku mukaaga. Tebanywa kitamiiza kyonna, tebasimba lusuku lwa mizabbibu, wadde okusiga ensigo yonna, nga basula mu weema, era nga bajjukira ebiseera ebyo ebya Yonadaabu omwana wa Lekabu; era nnabasanga bali wamu n’abaana ba Yisiraeri, abeekika kya Daani,... nga balindiririra wamu n’abaana ba Lekabu okulabika kwa Masiya okwamangu ku bire eby’eggulu.” - Ibid., page 389.EE 232.4

    Omuminsane omulala yasanga enzikiriza yeemu mu bantu be Tatary. Era kabona w’aba Tatar yabuuza omuminsane amubuulire ddi Kristo Iw’asuubira okukomawo omulundi ogwookubiri. Omuminsane bwe yamuddamu nti talinaako ky’amanyi ku nsonga eyo, kabona ne yeewunya nnyo okulaba obutamanya omuyigiriza wa Bayibuli bwe yayolesa, ye kwe kumutegeeza ky’akkiriza, ng’akisimbula mu bunnabbi, nti Kristo waakukomawo nga mu mwaka 1844.EE 232.5

    Obubaka bw’okukomawo kwa Kristo bwatandika okubuulirwa mu Bungereza eyo mu mwaka gwa 1826. Kyokka omugendo tegwategerekeka bulungi nnyo nga bwe kyali mu Amerika; nga tebayigiriza kiseera kyennyini eky’okukomawo kwe, naye baayigirizanga amazima amakulu ag’okukomawo kwa Kristo okwamangu mu maanyi ne mu kitiibwa okwetoloola wonna. Wabula nga tebakikola mu bawakanyi oba abatakkiriza bokka. Mouranti Brock omuwandiisi Omungereza, agamba nti abasumba abawera nga lusanvu mu Kkanisa y’Ebungereza beenyigira mu kubuulira “enjiri y’obwakabaka.” Obubaka obusonga ku mwaka 1844 nga ekiseera ky’okujja kwa Mukama nabwo bwabuulirwa mu Bungereza. Ebiwandiiko by’AbadventiEE 232.6

    okuva mu Amerika ne bisasaanyizibwa wonna. Ebitabo n’empapula z’amawulire ne zizasasaanyizibwa buggya e Bungereza. Era mu 1842 Robert Winter omusajja Omungereza, eyafunira obubaka bw’okukomawo kwa Kristo mu Amerika, yakomawo mu nsi ye naye alangirire okujja kwa Mukama. Bangi baamwegattako ku mulimu, era obubaka bw’olunaku lw’okusala omusango ne bubuulirwa mu bitrundu bingi ebya Bungereza.EE 233.1

    Mu Amerika y’Obukiikaddyo, wakati mu bakanywamusaayi n’abasamize, Lacunza Omusipanisi era Omujesuwitisi, gye yazuulira Ebyawandiikibwa era bwatyo naatuuka ne ku mazima g’okukomawo kwa Kristo okwamangu ennyo. Bwe yawulira okulumirizibwa munda mu ye ng’ayagala okulabula abantu, wabula nga atya Luumi okumuvumirira, kwe kuwandiika ekitabo kye mu mannya amapaatiike aga “Labbi Ben-Ezera,” nga yeeraga nga Omuyudaaya omukyufu. Lacunza yabeerawo mu kyasa ky’ekkumi n’omunaana, kyokka ekitabo kye kyatuuka e Bungereza awo nga mu 1825, era ne kiwuunulwa mu Lungereza. Okusasaanyizibwa kwakyo kwayongeramu bwongezi mwoyo ogwali gumaze okuzuukusibwa e Bungereza ku nsonga y’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri.EE 233.2

    Bengeri omusumba w’ekkanisa ya Lutherani era omuyivu mu Bayibuli kyokka nga mukolokosi, yali yayigiriza dda enjigiriza eno e Bugirimaani eyo mu kyasa ky’ekkumi n’omunaana. Bwe yamaliriza emisomo gye, Bengeri yali “yasalawo era n’okusoma essomo ly’eddiini, eryamusikiriza ennyo olw’okubeera ku birowoozo bye kubanga mwe yasooka okuyigirizibwa nannyikira. Era naye okufaanana n’abavubuka abeegendereza ababadewo era n’abazze babaawo, yafuna olutalo mu birowoozo ng’abuusabuusa eddiini, era ayogera wakati mu kulumwa ku ‘busaale obungi obwafumitanga omutima gwe ne bumukalubiriza bwe yali mu myaka gye egy’obuvubuka.” Kyokka yafuna omukisa naagattibwa ku lukiiko olukulembera ekkanisa ya Lutherani ey’ekitundu kye Wurttemberg, era eyo gye yalwanirira ennyo eddembe ly’okusinza. “Newakubadde nga yanyweza eddembe n’emikisa ebiweebwa ekkanisa, yalwanirira nnyo eddembe lyonna erisaana ku lwa buli muntu yenna eyawuliranga nga asibiddwa ekkanisa mu nsonga y’okusinza, oba nga ayagala agyeyawuleko.” - Encyclopaedia Britannica, 9th ed., art. “Bengel ” Ebirungi byonna ebyava mu kuteekawo enkola eno nakati bikyalabwako mu ssaza ly’ewaabwe gy’azaalwa.EE 233.3

    Lwali olwo Bengeri bwe yali ateekateeka ekyokuyiga okuva mu Kubikkulirwa 21 ekyali eky’okubuulirwa ku Ssande eyamajja (advent), omusana gw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri Iwe gwayaka mu birowoozo bye. Obunnabbi bwa Kubikkulirwa bwagenda bwebikkula kyatalabangako. Yawalirizibwa okusooka ave mu kufumiitiriza ku kyokuyiga olw’obuutikirwa ekirowoozo ekinene kityo ekijjudde ekitiibwa ekisinga nnabbi nga bwe yakisengeka. Era ekifaananyi kyeyongera okweyoleka gyali mu maanyi bwe yali abuulira ku kituuti. Yamalirira okuyiga obunnabbi n’okuva mu kiseera ekyo, naddala obwo obwogera ku nkomerero y’ensi, era amangu ddala yatuuka okukkiriza nti busonga ku kujja kwa Kristo nti kusembedde. Ennaku ye zeyateekawo nti kye kiseera Kristo waalikomerawo omulundi ogwookubiri nga ziri mu myaka si mingi okuva ku egyo oluvannyuma Miller gye yayogerako.EE 233.4

    Ebiwandiiko bya Bengeri bisasaanidde mu nsi zonna ez’Obukristaayo. Obunnabbi bwe yayigirizanga bwayanirizibwa abantu abasinga obungi mu ssaza ly’ewaabwe e Wurttemberg, era ne mu bitundu ebirala ebitonotono mu Bugirimaani. Abantu baayongera okukkiririza mu ndowooza ye newakubadde oluvannyuma lw’okufa kwe, era n’obubaka bw’okukomawo kwa Kristo ne buwulirwa wonna mu Bugirimaani mu kiseera kye kimu we bwakwatira ennyo ebirowoozo by’abasinga obungi mu nsi endala. Abamu ku bakkiriza baagenda e Lussiya mu kiseera ekyo ekyasooka ne bakolayo amatwale, era n’enjigiriza eno ey’okukomawo kwa Kristo ekyakkiririzibwamu mu makanisa g’Abagirimaani mu nsi eyo.EE 234.1

    Omusana gwatuuka ne mu Bufalansa awamu ne mu Switizilandi. Gawuseni ye yabuulira mu Geneva obubaka bw’okukomawo kwa Kristo awasooka okubuulirwa Farel ne Calvin mu kuzza obuggya ekkanisa. Bwe yali nga akyali muyizi, Gawuseni yasisinkana abantu abalina endowooza y’okwekkiriranya eyasasaanira Bulaaya yenna ku nkomerero y’ekyasa eky’ekkumi n’omunaana era ne ku ntandikwa y’ekyasa ky’ekkumi n’omwenda; era bwe yeegatta ku buweereza, teyakoma mu kubeera nga talina kyamanyi ku ddiini kyokka, naye era yeesangamu n&pos;endowooza eno ey’okubuusabuusa. Yayagala nnyo okuyiga obunnabbi bwe yali nga akyali muvubuka. Yasooka kusoma kitabo kya Rollins ekyogera ku Ebyafaayo Ebyedda, omwo ebirowoozo bye mwe byawambirwa essuula eyookubiri ey’ekitabo kya Danieri, nga yeewuunya obunnabbi engeri gye bwatuukirirangamu okusinziira ku buwandiike bwa munnabyafaayo ono. Era muno yasangamu obujulirwa bw’ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, ebyamubeerera ekyokwesigamako mu myaka egyaddirira mwe yalabira obubi obungi. Wabula teyayinza kumatira na ndowooza eno ey’okwekkiriranya, okujjako okunoonya mu Bayibuli omusana ogusingako, era oluvannyuma Iw’ekiseeera mwe yategeerera okukkiriza okutuufu.EE 234.2

    Bwe yali ng’ali mu kunoonyereza ku bunnabbi, yatuuka okukkiriza nti okukomawo kwa Mukama kuli kumpi nnyo. Yeegomba okutuusa ku bantu amazima gano amakulu ennyo oluvannyuma lw’okulumirizibwa; kyokka naafuna emiziziko olw’endowooza eyalingawo nti obunnabbi bwa Danieri mujjudde ebyama era nti tebuyinza kutegerekeka. 01uvannyuma yasalawo, nga ne Farel bwe yakola mu kubuulira ekibuga Geneva, atandikire ku baana abato, be yasuubira nti be banaasikiriza abazadde.EE 234.3

    “Neegomba ensonga eno etegeerwe,” bwatyo bwe yayogera oluvannyuma nga ayogera ku kigendererwa kye mu kukola kino, “si lwakubanga yali nsonga ntono nnyo, wabula olw’obukulu bwayo kwe kusalawo okugitegeeza mu ngeri eno eyabulijjo, era kwe kugitegeeza abaana abato. Nnayagala mpulirwe kyokka nga ntya nti tekisoboke bwe nsooka okutegeeza abantu abakulu.” “Nasalawo ntandikire ku baana. Nnakugŋaanyanga abaana, era ekibiina bwe kyagejjanga, nga ndaba bawuliriza, basanyufu, nga banyumirwa, era nga bategeedde awamu n’okusobola okunnyonnyola ensonga, olwo nga nteekawo ekibiina ekirala, abo nga bamaze okukyuka, olwo abantu abakulu baakukiraba nga kya nsonga okutuula nabo bayige. Nga kino bwe kikolebwa, ekigendererwa kinaaba kituukiddwako.” L. Gaussen, Daniel the Prophet, vol. 2, Preface.EE 234.4

    Omulimu gwatambula bulungi. Bwe yayogeranga n’abaana, abantu abakulu bajjanga ne bawuliriza. Ebisenge ebyawaggulu mu kkanisa ye ne bijjuzibwanga n’abantu abawuliriza obulungi. Mu abo mwalingamu abeebitiibwa era n’abayivuEE 234.5

    awamu n’abagwira ko n’abagenyi mu kibuga Geneva; bwegatyo amawulire bwe gaatwalibwa mu bitundu ebirala.EE 235.1

    Bweyalaba ng’omulimu guzzaamu amaanyi, Gawuseni kwe kukubisa mu kyapa ebyokuyiga bino ng&pos;asuubira okwagazisa abantu okuyiga ebitabo by’obunnabbi mu makanisa g’abantu aboogera Olufalansa. “Mu kukubisa ebyokuyiga bye nnawanga abaana,” Gawuseni agamba, “nga njagala okutegeeza abantu abakulu abataayagalanga kuyiga bitabo bino olw’endowooza ey’obulimba nti tebitegerekeka, ‘nti biyinza bitya okubeera nga tebitegerekeka ng’ate abaana bammwe bo babitegeera?’ ” “Nnayagala nnyo,” bwayongera okugamba, “nsasaanye okumanya kw’obunnabbi mu bantu b&pos;ekkanisa bangi nga bwekisoboka.” “Tewali by’oyinza kuyiga, mazima ebiyinza okwanukula ebyetaago by’ekiseera kino mu ngeri esingako, nga nze bwe ndaba.” “Bino bye bituyamba okweteekerateekera okuyigganyizibwa okuli okumpi okubaawo, tutunule era tulindirire Yesu Kristo.”EE 235.2

    Newakubadde nga yali wanjawulo nnyo era eyayagalwa abangi ku babuulizi b’olulimi Olufalansa, oluvannyuma Gawuseni yamala naayimirizibwa okuva mu buweereza, ng’ogumuvunaanwa: mu kifo ky’okuyigiriza katekisimu y’ekkanisa, ekitabo ckitereeza era ekirimu okunnyonnyola, so nga mu kyo temuli njigiriza yetengeredde, yakozesa Bayibuli mu kuyigiriza abavubuka. Oluvannyuma yeegatta ku ssomero ly’ebyeddiini, ng’ate ku Sande bwakola omulimu gw’okusomesa katekisimu n’okuyigiriza abaana nga bw&pos;abanyweza mu Byawandiikibwa. Obunnabbi bwe yayigirizanga nabwo bangi baabwagala. Ng’omusomesa omukenkufu, omuwandiisi era ng&pos;omuyigiriza w’abaana omulimu gwe yayagalanga ennyo, naayongera okutegeeza n’okwagazisa abantu okuyiga obunnabbi nga bw&pos;abategeeza nti okukomawo kwa Mukama kusembedde.EE 235.3

    Mu Bulaaya ey’obukiika kkono nayo obubaka bw’okukomawo kwa Kristo bwatuuka n’omuliro ne gukoleezebwa. Bangi ne bazuukusibwa okuva bukuumi bwabwc obutaliimu, baatule era baleke ebibi byabwe, banoonye okubeerwa mu linnya lya Kristo. Kyokka abalabirizi b&pos;ekkanisa ne bawakanya ekisinde ekyo, era bangi ku baabuuliranga obubaka ne bakasukibwanga mu makomera olw&pos;obuyinza bw’abalabirizi. Mu bifo ebingi ababuulizi b’okukomawo kwa Mukama gye baasirisibwanga obutayogera, Katonda naasima okutuusangayo obubaka mu ngeri ey&pos;ekyamagero ng&pos;abuyisa mu baana. Olw’okubanga baali bakyali bato ng’amateeka g’eggwanga tegabasingisa musango, bwebatyo ne babuuliranga awatali kukomebwako.EE 235.4

    Ekisinde kino nga kirabikirannyo mu bantu aba wansi, era nga bakuŋŋaanira mu bifo eyo gye baasulanga okuwuliriza okulabula kuno. Abaana bano ababuulizi nga basinga kuba baana babanaku. Nga abasinga obungi tebasukka myaka mukaaga oba munaana egy’obukulu; kyokka era olwokubanga mu bo baalabikanga nga baagala Omulokozi, era nga bafuba okubeera mu bulamu obuwulize eri ebyo Katonda byayagala ebitukuvu, obuwulize n&pos;obusobozi bwe baayolesanga nga bwebwo obulabikira mu baana abeemyaka egyo. Kyokka buli Iwe baayimiriranga mu maaso g’abantu okwogera, nga kirabika balina amaanyi agabakozesa okusinga ku busobozi bwabwe. Amaloboozi n&pos;enneyisa nga bikyuka, olwo ne boogera mu maanyi nga bategeeza okulabula ku kiseera eky’omusango nga bwe bakozesa ebigambo byennyini eby’Ebyebyawandiikibwa nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa:EE 235.5

    kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.” Baanenya ebibi abantu bye bakola nga tebakoma mu kuvumirira bugwenyufu n’agayisa agavundu bye baakolanga, wabula n’okubanenya olw’okwagala ensi n’okudda emabega mu kukkiriza, era ne balabulanga ababawuliriza baanguwe okudduka bawone ekiruyi ekiri okumpi okubaawo.EE 236.1

    Abantu ne bawuliriza wakati mu kutya. Omwoyo wa Katonda ng’abalumiriza mu mitima gyabwe. Era bangi ne bakulemberwa mu mwoyo omuggya okunoonya mu Byawandiikibwa, abagwenyufu n’abateegendereza ne bakyusibwa, abalala ne balekayo agayisa gaabwe, omulimu omukulu ddala ne gukolebwa, abasumba mu kkanisa nabo ne bawalirizibwa okukkiriza nga mazima omukono gwa Katonda gwe gukoza bino.EE 236.2

    Katonda ye yasalawo amawulire g’okukomawo kw’Omulokozi gategeezebwe ne mu nsi z’obukiika kkono bwa Bulaaya; era nga abaddu be bwe baazibwa emimwa gyabwe obutayogera, naateeka Omwoyo we ku baana abato era omulimu gwe gutuukirizibwe. Yesu bwe yasemberera ekibuga Yerusaalemi eno nga bwe yeetolooddwa ekibinja ky’abantu abasanyufu abafuuyira waggulu amakondere n’okuwuuba amatabi g’enkindu, nga bwe baategeeza nti ono ye Mwana wa Dawudi, abafalisaayo baakwatibwa obuggya, ne bamusaba abakomeko; naye Yesu yabaddamu nti abo baali batuukiriza bunnabbi, era nga singa bano banaasirika amayinja ge ganaayogera. Abantu olw’okutya n’okutiisibwa bakabona n’abafuzi, bakkakkanya ku maloboozi gaabwe ag’essanyu bwe baali bayingira mu nzigi za Yerusaalemi; kyokka oluvannyuma abaana nga bali mu luggya Iwa yeekaalu bo ne baddamu okuyimba oluyimba, ne bawanika amatabi g’enkindu nga bwe boogerera waggulu nti: “Ozaana eri Omwana wa Dawudi!” Matayo 21: 8-12. Abafalisaayo bwe baanyiiga, ne bamugamba nti, “Owulira bano bwe bagamba?” Yesu n’abagamba nti, “Mpulira: temusomangako nti mukamwa k’abaana abato n’abawere otuukiriza ettendo?” Nga Katonda bwe yasiima okukozesa abaana abato mu kujja kwa Kristo okwasooka, era bwe yasiima abakozese mu kutegeeza obubaka bw’okukomawo kwe omulundi ogwookubiri. Ekigambo kya Katonda kirina okutuukirizibwa, olwo amawulire g’okukomawo kw’Omulokozi gategeezebwe eri abantu bonna, mu nnimi zonna ne mu mawanga gonna.EE 236.3

    Ye William Miller awamu ne banne nga bo balina kutegeeza era n’okulabula abantu b’omu Amerika. Ensi eno ye yali entabiro y’omugendo gw’okukomawo kwa Kristo. Eno obunnabbi obwali mu bubaka bwa malayika owolubereberye gye bwasinga okutuukiririra. Ebiwandiiko bya Miller ne banne byasasaana okutuuka mu bitundu ebyewala. Abaminsane buli gye baatuukanga okwetoloola ensi yonna, ne batuusaangayo amawulire ag’essanyu ag’okukomawo kwa Kristo nga bwali okumpi ddala. Obubaka obw’enjiri ey’emirembe n’emirembe ne butuuka ewala n’okumpi nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.”EE 236.4

    Obujulirwa obw’obunnabbi obwali ng’obusonga ku kujja kwa Kristo nti kwakubaawo mu mwezi gwa mutungo wa 1844, bwakwata omugamba ku bantu bangi. Obubaka gye bwakoma okutuuka mu buli ssaza, abantu bonna nga bazuukusibwa. Era bangi ne bakakasibwa nga ebiseera ebyogerwako mu bunnabbi bituufu, bwebatyo ne beggyamu amalala era ne bakkiriza amazima mu ssanyu. Abasumba abamu ne basuula eri enjawukana zaabwe, ne bafiirwa emisaala eraEE 236.5

    ne balekawo amakanisa gaabwe, olwo ne beegatta mu kutegeeza okukomawo kwa Kristo. Kyokka abasumba baali batonotono bw’ogerageranya, abakkiriza obubaka buno; n’olwekyo omulimu omunene guno gwakwasibwa bantu babulijjo. Abalimi baalekayo ennimiro zaabwe, bamakanika ne balekayo ebyuma ebikola, abasuubuzi ebyamaguzi byabwe, abayigirize ne bafnrwa ebifo byabwe; wabula ng’abakozi batono ddala olw’omulimu omunene ogulina okutuukirizibwa. Embeera y’ekkanisa mwe yali ey’obutatya Katonda n’ensi eyali etubidde mu bugwenyufu, byazitoowereza emmeeme z’abaali abatunuulizi, bwebatyo ne bakola obutaweera, n’okwerumya awamu n’okubonabona, basobole okuyita abantu bangi beenenye olw’okuweebwa obulokozi. Newakubadde nga baawakanyizibwa nnyo Setaani, baayinza okukola omulimu, n’amazima g’okukomawo kwa Kristo abantu nkumi na nkumi ne bagakkiriza.EE 237.1

    Nga buli wamu owulira okuyayaana, nga balabula abonoonyi, omuli abeensi era n’abekkanisa badduke okuva mu kiruyi ekiri okumpi okubaawo. Okufaanana ne Yokaana Omubatiza eyakulembera mu kujja kwa Kristo, ababuulizi baateeka embazzi ku kikolo ky’emiti ne basaba abantu babale ebibala ebisaana olw’okwenenya. Engeri gye baakowoolangamu abantu ng’erina enjawulo nnene bwogerageranya n’okugumizibwanga nga bwe bali mu mirembe n’obukuumi bye baawuliranga mu makanisa gaabwe; era na buli wamu obubaka gye bwawulirwanga, abantu nga bakwatibwako. Obujulirwa bw’Ebyawandiikibwa obwayogerwanga mu ngeri enyangu era ennesimbu nga buweebwa mu maanyi g’Omwoyo Omutukuvu, bwalumiriza emitima gy’abantu, nga batono ddala abayinza okukigumiikiriza. Abakenkufu mu ddiini baasisimulwa okuva bukuumi bwabwe obw’obulimba. Beeraba nga bwe badda emabega, era nga bwe baayingirwamu okwagala ensi n’obutakkiriza, amalala n’okwerowoozaako. Bangi ne banoonya Mukama wakati mu kwenenya n’okwetoowaza. Okwagala ensi okwali kubayingiddemu okumala ekiseera ekiwanvu ne bakuzza eri eggulu. Omwoyo wa Katonda n’abakkako, olwo emitima gyabwe nga gikkakkanyizibwa era nga gimenyesemenyese ne beegatta ku kwogerera waggulu nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.”EE 237.2

    Abonoonyi ne beebuuza nga bwe bakaaba nti: “Nkole ntya okulokolebwa?” Abo abaali bamanyiddwa ng’abatali beesigwa ne beesunga okuteekawo enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Ate abo abafunye emirembe mu Kristo ne beegomba okulaba nga n’abalala bagabana ku mikisa egyo. Emitima gy’abazadde ne gikyukira eri abaana, n’abaana eri abazadde baabwe. Emiziziko egisibuka ku malala n’okwerowoozaako ne bisangulibwawo. Abantu ne baatula munda mu mitima gyabwe, ng’ow’omu nnyumba afuba ku lw’abo abamuli okumpi era n’ab’emikwano balokolebwe. Nga buli kiseera owulirayo eddoboozi ly’omu eyeegayirira. Nga buli wamu waliyo emyoyo egirumwa nga gyegayirira Katonda. Era bangi ne bameggana mu kusaba okuyita mu budde obw’ekiro beekakase nga ebibi byabwe bibasonyiyiddwa, oba ku Iw’okukyusibwa kw’owoluganda oba balirwana.EE 237.3

    Abantu ab’ebitii eby’enjawulo ne bagendanga mu nkuŋŋaana z’Abadiventi. Abagagga n’abaavu, abagulumivu n’abawejjere, nga baija olw’ensonga ez’enjawulo era nga beesunga okwewulirirako ku njigiriza y’okukomawo kwa Yesu Kristo omulundi ogwookubiri. Mukama yaziyiza omwoyo gw’empaka eno ng’abaddu beEE 237.4

    bwe bannyonnyola ensonga ezisibukako okukkiriza kwabwe. Oluusi ng’akozesebwa ekikula kye munafu; naye nga Omwoyo wa Katonda ateekesa amaanyi mu kigambo kye eky’amazima. Ng’enkuŋŋaana ziwulirwa zeetooloddwa bamalayika, era bangi ne beegattanga ku kibiina ky’abakkiriza. Enkuyanja y’abantu yawulirizanga obutassa mukka eri ebigambo bino ebikulu buli Iwe bawuliranga okuddiŋŋananga kw’obukakafu bw’okukomawo kwa Kristo nti kusembedde. Eggulu n’ensi nga biringa ebinywegeragana. Amaanyi ga Katonda nga gawulirwa ku buli mukadde, omuto awamu n’omuvubuka. Abantu nga banoonya amaka gaabwe okuyita mu kutendereza okw’emimwa gyabwe, era n’eddoboozi ery’essanyu ne liwulirwa nga liseyeeyeza mu bwengula bw’ekiro ekiteefu. Tewali n’omu eyayinza okwetaba mu nkuŋŋaana ezo asobola okwerabira ebifaananyi ebyo ebyegombebwa ekitalo.EE 238.1

    Okulangirira ekiseera kyennyini Kristo waalikomerawo kyasitula okuwakanyizibwa okutagambika okuva mu bantu eb&pos;engeri ezitali zimu; omuli abasumba ababuulira ku bituuti n’okutuuka ku bamamaavu, abonoonyi abasembayo. Ebigambo by’obunnabbi ne bituukirira: ‘kNga mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja n’okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo ne boogera nti, Okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.” 2Peetero 3: 3,4. Bangi ku baali baagala Omulokozi, ne bategeeza nga tebawakanya njigiriza yakukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri; wabula nga bawakanya kiseea kyennyini. Naye nga eriiso lya Katonda eriraba byonna lyasomye dda emitima gyabwe. Nga tebaagala kuwulira Kristo nti akomawo okusalira ensi omusango ku lw’obutuukirivu. Anti nga tebabadde baddu beesigwa, ng’ebikolwa byabwe tebiyinza kuyimirirawo mu maaso ga Katonda akebera emitima, n’olwekyo nga batya okusisinkana Mukama waabwe. Okufaanana n’Abayudaaya mu biro Kristo mwe yasookera okujjira tebaali beteefuteefu kwaniriza Yesu. Tebaakoma mu kugaana kuwuliriza Bayibuli kyeyogera kyokka, naye era baasekereranga n’abo abaanoonyanga Mukama. Setaani ne bamalayika be ne babawerekerezanga ebigambo ebisokasoka mu maaso ga Yesu ne mu maaso ga bamalayika be abatukuvu nti abaana be abamutya balina okwagala kutono nnyo gyali nga tebeegomba kulabika kwe.EE 238.2

    “Tewali muntu amanyi lunaku newakubadde ekiseera” bwebatyo abawakanyi b’enjigiriza y’okukomawo bwe baateranga okugamba. Naye Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Naye eby’olunaku luli n’ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab’omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.” Matayo 24: 36. Abaanoonyanga Mukama bannyonnyolanga Ekyawandiikibwa kino mu ngeri etegerekeka era erimu obutangaavu, era n’engeri abalabe baabwe gye baakyogezangamu obulala nayo n’eragibwa bulungi. Ebigambo byayogerwa Kristo mu mboozi eyekijjukizo wakati we n’abayigirizwa be bwe yali ku lusozi Iw’emizeyituuni Iwe yasembayo okugenda mu yeekaalu. Abayigirizwa baabuuza ekibuuzo: “Tubuulire bino we biribeererawo n’akabonero ak’okujja kwo bwe kaliba, n’ak’emirembe gino okuggwaawo?” Yesu yabawa obubonero n’abagamba nti: “Bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi.” Ennyir. 3, 33. Ekigambo ky’OmuIokozi ekimu tekikozesebwa kusangulawo kirala. Newakubadde nga tewali muntu n’omu amanyi lunaku wadde ekiseera eky’okujja kwe, naye tuyigirizibwa era tuvunaanyizibwa okumanya nga bwe kuli okumpi. Era twongeraEE 238.3

    okuyigirizibwa nti bwe tunyooma okulabula kwe era ne tugaana oba okugayalirira okumanya ebiro eby’okujja kwe nga bwe biri okumpi, nga kiriba kyakabi era nga bwe kyali mu biro bya Nuuwa bwe bataamanya mataba Iwe galibaawo. Era n&pos;olugero mu ssuula yeemu olwogera ku njawulo wakati w’omuddu eyali omwesigwa n’ataali mwesigwa, nga lulangirira olunaku Iw’okuzikirira ku oyo eyagamba mu mutima gwe nti, “Mukama wange aludde,” Iwongera okulaga Kristo bw’aliramulamu era n’okusasula empeera ye eri abo baalisanga nga batunula era nga bayigiriza abantu bw’alikomawo awamu n&pos;abo abawakanya okukomawo kwe. “Kale mutunule,” bw’agamba. “Omuddu oyo alina omukisa Mukama we gw&pos;alisanga ng’azze ng’akola bw’atyo.” Olunny. 42, 46. “Kale bw’otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.” Okubikkulirwa 3: 3.EE 239.1

    Pawulo ayogera ku kibiina Mukama waft&pos;e ky’alisanga nga tekyeteeseteese. “Bwe lutyo olunaku Iwa Mukama wafte lujja ng’omubbi ekiro. Bwe baliba nga boogera nti mirembe, siwali kabi, okuzikirira okw’amangu ne kulyoka kubajjira, ng&pos;okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n&pos;akatono.” Naye era ayongerako ng&pos;agamba abo abassaayo omwoyo eri okulabula kw&pos;Omulokozi nti: “Naye mmwe ab&pos;oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng’omubbi. Kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab&pos;ekizikiza.” 1 Abasessaloniika 5: 2-5.EE 239.2

    Bwekityo Ebyawandiikibwa tebiteekawo bbanga abanlu okusigala mu butamanya ku nsonga y&pos;okukomawo kwa Kristo. Naye eri abo abaayagala okubaako ne kye beekwasa mu kugaana amazima, baaziba amatu gaabwe obutawulira kunnyonnyola okwo, era n&pos;ebigambo ebigamba nti, “Tewali amanyi lunaku newakubadde ekiseera ne byogerwanga olutata buli musekerezi awamu n&pos;abeeyita abaweereza ba Kristo. Abantu bwe baazuukusibwa era ne babuuzanga ekkubo eribatwala mu bulokozi, abayigiriza b’eddiini nga bayimiriranga mu kkubo lyabwe okubaziyiza okulaba amazima, ne banyoolanga ekigambo kya Katonda nga baagala okukkakkanya okutya kwe balina. Abakuumi bano abataali beesigwa, beegatta n’omulyolyoomi nga bwe bagamba nti, Mirembe, mirembe so nga Katonda tayogedde nti mirembe. Okufaanana n&pos;abayigirizwa mu biro bya Kristo, bo bennyini baagaana okuyingira obwakabaka bwa Katonda, so era ne baziyiza n’abalala okuyingira. Omusaayi gw’emyoyo gino gulivunaanibwa mu mikono gyabwe.EE 239.3

    Mu abo abaasooka okukkiriza obubaka mwe muli abantu abawombeefu era abeewoonze eri Katonda okuva mu makanisa ag’enjawulo. Be bo abaayiganga Bayibuli ku Iwabwe nga tebayinza wabula okugaana enjigiriza y’obunnabbi etali ya Byawandiikibwa eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo; ng’olwo abantu bwe batalemesebwa bannaddiini, nga beenoonyeza mu kigambo kya Katonda, era nga kibeetaagisa kugerageranya bugerageranya njigiriza yayakukomawo kwa Kristo ku Byawandiikibwa okukakasa obuyinza bwa Katonda ku yo.EE 239.4

    Bangi baayigganyizibwa baganda baabwe abatakkiriza. Era olw’okwagala basigale nga bakyasinza mu kkanisa, abamu ne basalawo babunire obutayogera ku ssuubi lyabwe, so abalala nga bawulira nti tebayinza kuzibira mazima agaabakwasibwa Katonda olw’obuwulize bwe balina gyali. Si batono abaagobwa mu kusseekimu okw’ekkanisa olw’ensonga emu yokka: kwe kulaga okukkiriza kwabwe mu kudda kwa Kristo. Ebigambo eby’omuwendo era ebyabagumyanga abo abaayitaEE 239.5

    mu kugezesebwa kuno by’ebyo nnabbi bye yayogera nti: “Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi.” Isaaya 66: 5.EE 240.1

    Bamalayika ba Katonda nga batunula beetegereza okulaba ebiva mu kulabula okwabaweebwa. Abantu bwe baagaananga obubaka obwaweebwa ekkanisa, olwo bamalayika ne banakuwala. Kyokka waaliwo bangi abaali batanategeezebwa ku mazima gano ag’okukomawo kwa Kristo. Era bangi abaabuzaabuzibwanga abaami bwabwe, abakyala, abazadde oba abaana, era ne babakkirizisa nti kuba kwonoona bw’owuliriza eŋŋambo ezo eziyigirizibwa Abadiventi. Bamalayika baalagirwa bakuume n’obwesigwa emyoyo gino, kubanga baalina omusana omulala ogw’okumulisiza eri ensi okuva mu ntebe ya Katonda.EE 240.2

    Abo abakkiriza obubaka baalindirira okulaba okulabika kw’Omulokozi waabwe bonna nga bajjudde okuyayaana okutayogerekeka. Ekiseera we baamusuubirira okumusisinkana nga kituuse. Essaawa yatuuka bonna nga bakkakkamu. Nga bawummulidde mu kutabagana okw’omukwano wakati waabwe ne Katonda^ era nga beesunga emirembe gye bagenda okuweebwa oluvannyuma. Tewali n’omu eyalina essuubi lino n’obwesige ayinza okwerabira ekiseera ekyo mwe baali nga balindirira. Emirimu gyonna egikolebwa egy’ensi gy’ayimirizibwa ng&pos;ebula essabbiiti nga ziizo okutuuka ku ssaawa endagaane. Abakkiriza abeesigwa beekebera buli kirowoozo na buli kufumiitiriza okw’omu mutima mpozi ng’abaali basulirira okufa era nga mu ssaawa ntono nnyo baakuziba amaaso gaabwe obutaddamu kulaba bintu byonna eby’ensi. Tebeetungira “byambalo” byakugenderamu mu ggulu; kyokka bonna nga bawulira kyetaagisa omuntu okwekakasa mu nda mu mutima nti yeteeseteese okusisinkana Omulokozi; era ebyambalo ebyeru bye baalina gwe mwoyo ogutukuziddwa - obulamu obulongooseddwa okuvaako ekibi olw’omusaayi gwa Kristo ogutabaganya. Kale singa abantu ba Katonda bano baasigala n&pos;omwoyo ogwo, omwoyo oguyayaana, era abamaliridde mu kukkiriza. Singa beeyongera okweyisa mu bukakkamu eri Katonda nga bateeka okwegayirira kwabwe ku ntebe ey’ekisa, baandibadde basukkiridde mu kumutegeera okusinga nga bwekiri leero. Waliwo okusaba kutono, okulumirizibwa ekibi kutono okwanamaddala, era wakyaliwo obwetaavu obw’okukkiriza okulamu okulese bangi nga baavu eri ekisa kya Katonda ekiweebwa Omununuzi awatali kigera.EE 240.3

    Katonda yakigenderera okugezesa abantu be. Omukono gwe gwabikka ku nsobi eyali mu kubala ebiseera eby’obunnabbi. Abadiventi tebaayinza kuzuula nsobi, so era teyayinza kuzuulibwa balabe baabwe abaali basingayo okuba abayivu. Bo nga bagamba: “Engeri gye mubalamu ebiseera by’obunnabbi ntuufu. Mazima waliwo eky’okubaawo amangu; naye si kyekyo Mwami Miller ky’alanga okubaawo; wabula y’ensi okukyusibwa, naye si kwe kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri.”EE 240.4

    Ekiseera mwe baasuubiririra Yesu okukomawo kyayita, kyokka Kristo teyalabikako okujja okununula abantu be. Waaliwo okusaalirwa Kunene nnyo eri abo abaali abamazima mu kukkiriza era nga balindirira Omulokozi waabwe. Wabula Katonda yatuukiriza ebigendererwa bye; yali agezesa emitima gy’abo nabo abaagambanga nti bamulindirira. Mu abo mwalimu abakkiriza si Iwa bigendererwa birala wabula olw’okutya. Okukkiriza kwabwe nga tekuli mu mutima wadde okukyusa kuEE 240.5

    bulamu bwabwe. Kye baasuubira okubaawo bwe kitaatuukirira, abantu bano ne bategeeza nga bwe batasaaliddwa; tebaakikkirizaako n’omulundi n’ogumu nti Kristo waakukomawo. Era be baasooka okusekerera ennaku y&pos;abakkiriza ab’amazima.EE 241.1

    Kyokka Yesu awamu n’eggye lyonna ery’omu ggulu baalumirwa wamu n’abo abeesigwa abaayita mu kugezesebwa wabula ne basaalirwa. Singa olutimbe olwawula ebirabibwa n’amaaso mu nsi muno Iwaggibwawo, bandirabye bamalayika nga basemberedde emyoyo gino eminywevu era nga babakugira eri obusaale bwa Setaani.EE 241.2

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents