Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents

Essuubi Eritaggwaawo

 - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    4 — Abagoberezi Ba Waldensi

    Mu kizikiza ekyabikka ensi mu kiseera ky’okukulakulana kw’Obwapaapa, omusana ogw’amazima tegwazikirizibwa ddala gwonna. Mu buli mulembe gw’abantu mwabangamu abajulirwa ba Katonda abakkiriza nga Kristo ye muwolereza yekka wakati wa Katonda n’omuntu, abakkiriza Bayibuli nga lye tteeka lyokka ery’okufuga obulamu, era abatukuzanga Ssabbiiti ey’amazima. Ebbanja ensi ly’erina olw’abantu bano, emirembe gy’abantu egiriddirira tegiriyinza kulitegeera. Bassibwako akabonero ne babalibwa nga bakyamu, ebigambo byabwe ne biwakanyizibwa, empisa zaabwe ne zogerwako bubi, bye bawandiika ne bizikirizibwa n’okwogerwako obubi. Naye ne bayimirira nga banywevu mu ebyo byonna, ne bakuuma okukkiriza kwabwe mu buli mulembe, nga bwe busika obw’ewmirembe gy’abantu egiriddawo.EE 39.2

    Ebyo byonna ebyatuuka ku baana ba Katonda mu kiseera eky’ekizikiza ekyabutikira ensi olw’obufuzi bwa Luumi byawandiikibwa mu bitabo eby’omu ggulu, newakubadde ng’ensi teyinza kubijjukira byonna. Era bitono nnyo ebigenze nga bizuuka, wabula mu bavunaana ababayigganyanga. Kubanga Luumi yafubanga okusangulirawo ddala obujulizi mu njigiriza zaayo awamu n’amateeka obw’abo abagiwakanyanga. Yazikirizanga buli muntu alina endowooza erabikamu okubusabuusa oba okwebuuza ku njigiriza y’Obwapaapa k’abe mugagga oba mwavu, wakitiibwa oba owabulijjo. Era Luumi yafuba nnyo okumalirawo ddala obujulizi obw’obikolwa eby’obukambwe ebyakolebwa ku bagiwakanyanga. Olukiiko Iwa Paapa ne luyisa etteeka okwokya buli kitab oba kiwandiiko omuli obujulizi ng’obwo. Amagezi ag’okufulumya ekitabo mu kyapa nga teganafunibwa, ebitabo byabanga bitono mu muwendo, era kyabanga kizibu okubitereka olw’engeri gye byawandiikibwangamu, n’olwekyo kyabanga kizibu okuziyiza Luumi okutuukiriza ebigendererwa byayo.EE 39.3

    Tewali kkanisa eyali mu matwale ga Luumi etateganyizibwa kweyagalira mu ddembe ly’obulamu bwabwe. Buli kkanisa yawalirizibwa okugondera obufuzi bwa Luumi amangu ddala nga Luumi yakenyweza mu bufuzi n’esambirira yenna agaana okukkiriza obulimbabwe.EE 39.4

    Amawulire amalungi Abangereza ge baali bakafuna gayonoonebwa obukyamu bwa Luumi, Obukristaayo bwe bwali nga bukyali buto nnyo era nga butandise okusimba emirandira mu Bungereza. Okuyigganyizibwa okuva mu bakabaka bano abakafiiri okwatuuka ne ku bizinga bino ebyali bYesudde ewala, kye kyali ekirabo kyokka ekyabaweebwa Luumi. Abagoberezi ba Kristo bangi abadduka olw’okuyigganyizibwa oku mu Bungereza ne bafuna obubudamo mu nsi ya Scotilandi; bwekityo amazima ne gaanirizibwa mu ssanyu ne mu nsi ya Ayirilandi.EE 40.1

    Abagamani bwe baalumba Bungereza, obukafiiri ne bumera. Abakristaayo bwebatyo ne baddukira mu nsozi ne mu malungu olw’okunyoomebwa n’okutwalibwa ng&pos;abaddu b’abo ababawamba. Newakubadde mu kaseera ako, omusana ogwalabika ng’oguzikidde gwasigala gukyayaka. Oluvannyuma Iw’emyaka nga kikumi mu nsi ya Scotilandi, omusana gwayakira ddala ekyekanidde awo okutuuka ne mu nsi ez’ewala. Omusajja ayitibwa Columba omunyiikivu mu Kigambo kya Katonda ng’ali wamu ne banne, yakuņņaanya abakkiriza abaali basasaanidde ku kizinga Ayona ne bafuula ekizinga ettendekero ly’Abaminsani. Mu abo abakuņņaanyizibwa mwe mwali n’omubuulizi w’enjiri eyazuula amazima ga Ssabbiiti eya Bayibuli amazima ago nago ne gategeezebwa abantu. Ne bazimba essomero omwatendekerwanga Abaminsani abafulumanga okugenda okubuulira si mu Scotilandi mwokka naye ne mu Bungereza, Bugirimaani, Switizilandi ne mu Yitale.EE 40.2

    Naye nga Luumi amaaso egatadde ku Bungereza era nga emaliridde okutuusa Bungereza wansi w’obufuge bw’ayo. Mu kyasa ekyekkumi n’omukaaga, Abaminsani bamalirira okukola omulimu gw’okukyusa Abagirimaani abakatiiri. Obukafiiri bwayanirizibwa n’essanyu abantu abatafangayo nnyo ku byabuwangwa ne basendasenda mu bo abantu nga nkumi na nkumi okwatula enzikiriza ya Luumi. Era ng’enkola ya Luumi bw’eri, bwebatyo, abakulembeze ba Paapa ne balwanyisa Obukristaayo nga bukyakula mu bantu bano abato mu kukkiriza. Awo enjawulo ne yeyoleka. Abakristaayo nga bangu, bawombeefu era nga empisa yaabwe basomi ba Byawandiikibwa, ba mpisa so ng’ate bali balabikamu busamize, beeraga nga bajjudde amalala. Abakiise ba Luumi ne bawaliriza ekkanisa z’Abakristaayo bano bagondere era bakkirize obufuzi bwa Paapa n’abalabirizi be. Abangereza mu buteefu obw’ekitalo ne babaddamu nti bo baagala kwagala buli muntu, era nti Paapa tawebwangako kitiibwa kya kukulira kkanisa yonna, era nga bamugondera nga bwe bandigondedde omugoberezi wa Kristo omulala yenna. Ne baddibwamu enfunda eziwera okuwalirizibwa bagondere Luumi, naye ng’Abakristaayo bano abateefu beewunya amalala g’ababaka bano, kwe kubaddamu nti bo tebamanyiyo mukulembeze mulala wabula Kristo. Awo endowooza ya Paapa n’etandika okweyoleka. Omukulembeze omu owa Luumi n’abagamba nti: “Bwe mutakkiriza kwaniriza baaluganda babaletera mirembe, munaayaniriza abalabe bammwe ababaletera olutalo. Bwe mutatwegattako kulaga Bagirimaani bano ekkubo ery’obulamu, bo banaabaleetako okuzikirira.” - J. H. Merle D’Aubigne, History of the Reformation of the Sixteenth Century, b. 17, ch. 2. Kuno tekwali kutiisatiisa. Okulwana, okubalyamu enkwe n’obulimba ne bikozesebwa okuzikiriza abajulizi b’okukkiriza kwa Bayibuli, okutuusa ekkanisa zonna mu Bungereza lwe zasanyizibwawo oba okukkiririza mu bukulembeze bwa Paapa.EE 40.3

    Obukristaayo mu nsi ezaali zisukka obukulembeze bwa Luumi we bukoma, bwali mirembe okumala ebyasa by’emyaka nga tebwetabuddwamu bulimba bwaEE 40.4

    Paapa. Olw’okwetoloolwa obukafiiri, oluvannyuma bw’agenda bubasensera, naye ne basigala nga bakyakkiririza mu Bayibuli nga yeefuga okukkiriza kwabwe era ne bagondera n’amazima ag’enjawulo agagirimu. Nga bakkiriza nti Amateeka ga Katonda galuberera era nga bakkiriza okujjukira Ssabbiiti ey’olunaku olw’omusanvu eri mu tteeka eryokuna. Ekkanisa ezo nga zisangibwa mu Afrika ey’omu massekkati ne mu nsi ya Armeniya mu Asiya.EE 41.1

    Naye mu bonna abajeemera Paapa okubafuņņamako, abagoberezi ba Waldensi be basinga. Obulimba n’obujoozi bw’Obwapaapa bwasinga nnyo okujeemerwa mu nsi gye bwakuba ekitebe ky’abwo. Era okumala ebyasa by’emyaka bingi amakanisa mu kitundu ekiyitibwa Piedmont baali nga bakyefuga, naye era ekiseera kyatuuka Luumi lwe yabawaliriza nabo okumusinza. 01uvannyuma Iw’okulwana entalo ez’olutentezi n’abalabe baabwe bano, abakulembeze bano nabo ne bagondera obuyinza bwe obugonderwa kaakano kumpi ensi yonna. Naye era waaliwo abagaana okukkiririza mu buyinza bwe oba obw’abalabirizi be. Nga bamalirivu okukuuma okukkiriza kwabwe mu Katonda n’okukuuma obutukuvu n’enjigiriza yaabwe nga nyangu okutegeera. Ne wasitukawo okwawukana. Abakkirizanga enjigiriza ey’edda ne baabulira Luumi, ne badduka okuva mu nsozi zaabwe ezimannyiddwa nga Alps ne basitulira ebendera ey’amazima mu nsi ez’abamawanga amalala, abalala ne bekweka mu biwonvu ne mu njazi ez’okunsozi basigaze eddembe lyabwe okusinza Katonda nga bwe baagala.EE 41.2

    Enjigiriza y’Abakristaayo ba Waldensi eyayigirizibwanga okumala ebyasa by’emyaka yalaga enjawulo nnene nnyo okuva ku njigiriza ya Luumi. Enjigiriza yaabwe yasibukanga mu Kigambo kya Katonda, omusingi gw’Obukristaayo ogw’amazima. Naye nga bali mu bifo eyo gye bekwese, ensi ng’ebaggalidde, era nga bali mu kulunda bisibo byabwe n’okulima mu nnimiro zaabwe, baali tebatukanga ku mazima enjigiriza n&pos;obulimba bw’ekkanisa eyagwa byewakanyiza ddala. Okukkiriza okwabwe tekwali kuggya. Bo bakkiririzanga mu kukkiriza okwabalekerwa bakitaabwe. Era nga bamativu n’okukkiriza kw’ekkanisa y’abatume, - “Okukkiriza abatume kwe baweebwa omulundi ogumu.” Yuda 3. “Ekkanisa mu ddungu,” so si kkanisa erina abakulembeze abajjudde amalala, etudde mu kubuga ekinene eky’ensi yonna nti y’ekkanisa ya Kristo ey’amazima, nti ye yateresebwa obugagga obw’amazima Katonda bw’awadde abantu okubutwala eri ensi.EE 41.3

    Mu bintu ebingi ebyaleetawo okwawukana wakati w’ekkanisa ey’amazima okuva ku Luumi, bwe bukyayi obwasibuka ne buteekebwa ku Ssabbiiti eya Bayibuli. Mazima, nga bwekyalagulwako mu bunnabbi, obuyinza bw’Obwapaapa bwasuula amazima ku ttaka. Amateeka ga Katonda gasuulibwa mu nfuufu ne galinyirirwa ng’ate eno obulombolombo bwe busukkulumizibwa. Era ekkanisa ezaali wansi w’obufugwe bw’Obwapaapa ne ziwalirizibwa okukuuma olunaku Iwa sande olunaku olusooka mu wiiki ng’olunaku olutukuvu. Wakati mu nsobi ennyingi ezaali ziyitiridde n’obusamize, bangi ku bantu ba Katonda ne babuzaabuzibwa ne bakuuma Ssabbiiti ng’eno bwe bakuuma sande obutalukolerako mirimu. Naye era kino tekyamatiza bakulembeze ba Paapa. Ne bawaliriza sande si kulukuuma nga lutukuvu kyokka, naye era ne bagamba nti ne Ssabbiiti ey’amazima eggyibweko emikolo gy&pos;eddiini gyonna era ne bavunaana buli muntu yenna alutwala nga lutukuvu. Ng’okuggyako oddusse okuva obuyinza bwa Paapa we bukoma lwe wayinzanga okugondera amateeka ga Katonda nga matukuvu.EE 41.4

    Abagoberezi ba Waldensi be basooka okwefunira Ebyawandiikibwa Ebitukuvu nga bikyusiddwa mu lulimi lwabwe. Era okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka ne babeeranga ne Bayibuli mu lulimi lwabwe naye nga si nkube mu kyapa. Ne babeera nayo nga teyonooneddwa mazima gagirimu, ensonga eyavaako okubayigganya n’okubakyawa. Bwebatyo ne balangirira ekkanisa y’e Luumi okuba nga ye Babbulooni ekyagwa era nga tebafuddeyo ku bulamu bwabwe, ne bawakanyiza ddala obulimba bwe mu lwatu. Naye era wakati mu kunyigirizibwa olw’okuyigganyizibwa okutakoma, bangi ne bekkiriranya era mpola mpola ne bagondera emisingi gye, abalala ne basigala nga banywevu mu mazima. Wakati mu biseera eby’ekizikiza era n’ekkanisa y’e Luumi we yaviira ku mazima, wajja wabeerawo abagoberezi ba Waldensi abaagaana okufugibwa Luumi, ne bagaana okusinza ebifaananyi era ne bakuuma Ssabbiiti ey’amazima. Ne bakuuma okukkiriza kwabwe wakati mu kuwakanyizibwa okw’obukambwe. Newakubadde nga baafumitibwa amaggwa n’amatovu ng’eno bwe bafumitibwa kawule, bayimirira nga banywevu eri Ekigambo kya Katonda era nga bamusaamu ekitiibwa.EE 42.1

    Ebisaka n’obusaka mu nsozi ne bifuuka obuddukiro bw’abagoberezi ba Waldensi okumala emyaka mingi olw’okuyigganyizibwa n’okunyigirizibwanga. Era omusana ogw’amazima ne gusigala nga gwakira mu kizikiza okuyita mu Mirembe Egy’omumassekati (kwe kugamba okuva obwakabaka bwa Luumi we bwagwerawo okutuuka mu kyasa eky’ekkumi netaano). Okumala emyaka lukumi abajulirwa ab’amazima ne bakuumira eyo okukkiriza okwasooka.EE 42.2

    Bwatyo Katonda bwe yateekateeka ebifo ebyo ebibi ennyo okuba ebisulo ebisaana okukuumiramu amazima agabateresebwa. Ensozi ne zifuukira abawaņņanguse bano akabonero ka Yakuwa omutuukirivu atakyukakyuka. Ne balengezanga abaana baabwe ku ntiko z’azo waggulu mu bbanga ery’ekitiibwa eritakyukakyuka nga boogera ku Oyo ataliimu kufuuka wadde okubaamu ekisiikirize eky’okukyuka, Oyo ekigambo kye eky’olubeerera ng’ensozi. Katonda yali akoze ensozi n’azinyweza nga tewali mukono gwa muntu ogwandiyinzizza okubaggyayo okuggyako nga mukono gw’Oyo Omuyinzawebintubyonna. Era mu ngeri yeemu bwe yassaawo Amateeka ge, omusingi ogw&pos;obufuzi bwa Katonda mu ggulu era ne ku nsi. Omukono gw’omuntu guyinza okukola obulabe ku muntu munne era n’amuzikiriza; naye era omukono ogwo gwe gumu guyinza n’okubasigukululayo mu misingi gy’ensozi ne gubakasuka mu nnyanja era nga bwe gwayinza okukyusa akatonyeze mu mateeka ga Yakuwa oba okuggya ebisuubizo bye mu abo abakola by’ayagala. Abaddu ba Katonda nabo kibagwanira okuba ebeesigwa eri Amateeka ge era abatakyukakyuka ng’ensozi.EE 42.3

    Ensozi ezabakuumiranga mu biwonvu, zabajjukizanga buli kiseera ku maanyi ga Katonda ag’obutonzi era n’omukono gwe ogw’obukuumi ogutalemererwa. Abalamazi bano baayiga okwetegereza obubonero obwogerera mu kasirise nga bulaga okubeerawo kwa Yakuwa. Tebemulugunya olw’embeera enzibu gyebaalingamu, era tebaawulirako mbeera ya kuwuubaala wakati mu nsozi ezaali zibebulunguludde. Bebazanga Katonda olw’okubateerawo obuddukiro ne basegulira obukambwe n’obutemu bw’abantu. Ne basanyukiranga mu ddembe ly’okumusinza. Era emirundi mingi bwe baagobebwanga abalabe baabwe, ensozi ne zibakuumanga. Nga bali waggulu ku njazi eyo ku nsozi ne bayimbanga ennyimba ez’okutenderezaEE 42.4

    Katonda, so nga n’abalabe baabwe tebayinza kubasirisa nga beebaza Katonda mu nnyimba.EE 43.1

    Abagerezi ba Kristo bano baali bakakamu nga baagala nnyo Katonda waabwe n’omutima gwabwe gwonna, era nga batukuvu mu mpisa. Nga baagala amazima okusinga okwagala ennyumba, ettaka abeemikwano n’abekika wadde obulamu bwabwe. Ne baagala bayole ku mitima gy’abaana baabwe amazima gano ag’omuwendo. Ng’omwana ayigirizibwa Ebyawandiikibwa ng’akyali muto era naasomesebwa okussaamu ekitiibwa amateeka ga Katonda. Olw’okubanga ebitabo bya Bayibuli byabanga bitono mu kiseera ekyo, ng’omwana ayigirizibwa okukwata obukusu Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Era nga bangi bayinza okuddamu essuula eziwerako mu Ndagaano Enkadde ne mu Mpya. Ng’oyinza okulaba ekifaananyi kya Katonda mu butonde okuyita mu bulamu bw’abantu bano obwa buli lunaku. Abaana abato nga bayize okwebazanga Katonda n’omutima ogusiima olw’okubanga yagaba omukisa n’emirembe.EE 43.2

    Abazadde ne baagala abaana baabwe mu ngeri ey’amagezi era mu kwagala nga babayigiriza okuyiga obuteyonoonesa. Era nga batunuuliddwa okugezesebwa n’ebigezo oba oli awo n’okuttibwa ng’abajulizi. Ne babayigiriza okugumiranga ebizibu okuva mu buto bwabwe, okuyiga okwefuga, okwerowoleza n&pos;okwekolerera. Ne bayigirizibwanga okuba ab’obuvunaanyizibwa nga bakyali bato, okufuga ennimi zaabwe n’okumanya ekyama ekiri mu kufumitiriza. Era baleme okufulumyanga ekigambo kyonna ekitasaana okuwulirwa abalabe baabwe kubanga kiyinza okuzikiriza obulamu si bw’oyo yekka akyogedde naye n&pos;obulamu bw’abooluganda abalala nkumi; kubanga omulabe akyawa amazima atambulatambula ng’eddubu enoonya ekyokulya, ng’anoonya okuzikiriza oyo yenna agala okufuna eddembe ly’okusinza.EE 43.3

    Abagoberezi ba Waldensi bo nga bakkiriza okutlirwa obugagga obw’ensi olw’okusigaza amazima era ne batuyananga okufuna ekyokulya. Ne balimanga mu buli kafo akayinza okulimibwamu wakati mu nsozi; mu biwonvu n’ebifo ebitali bigimu bulungi ne babiddaabiriza okusobola okubaza emmere. Ne bayigira ku mbeera y’okukekereza n’okwefiriza ng’ekyobusika kyokka kye balinawo. Ne bayigirizibwa nga buli kye beetaaga balina kumala kukikolerera era nga bakifuna okuyita mu kukkiriza n’okukirowoleza. Eyo ye ngeri gye bayigamu etaali nyangu naye nga lye ssomero Katonda lye yateekawo okusomesezaamu olulyo Iw’omuntu olwagwa. Newakubadde ng’abavubuka baakulusanyizibwanga n’emirimu egy’amaanyi era emizibu, emirimu egy’omubwongo tegyagayalirirwa. Bayigirizibwa nga Katonda y’ensibuko y’amaanyi n’okumanya, era nga balina okweyongera mu magezi n’okumanya olw’okumuweereza.EE 43.4

    Ekkanisa ezo nga bwezabanga, zaafanananga n’ekkanisa mu biseera by’Abatume mu butukuvu ne n’obwangu. Nga tebakkiririza kufugibwa Paapa wadde abalabirizi be, ne basitulira waggulu Bayibuli okuba nga yeebafuga, obuyinza bwokka obw’amazima. Obutafaananako n’abasasedooti b’ekkanisa y’e Luumi, abasumba baabwe baagoberera ekyokulabirako ky’omuyigiriza Omukulu “eyajja okuweereza so si okuweerezebwa.” Ne balisanga ekisibo kya Katonda, nga babatwala awali omuddo omuto era awali amazzi amateefu ag’Ekigambo kya Katonda Ekitukuvu. Nga basinziza mu kkanisa ezitali za muwendo oba lutikko ezijjudde ekitiibwaEE 43.5

    ky’abantu n’amalala, naye wansi mu bisikirize by’ensozi ne mubiwonvu oba mu mpompogoma z’amayinja ezabakuumanga mu biseera eby’okuduka, okuwuliriza Ebigambo bya Kristo eby’amazima okuva mu baddu be. Abasumba nga babuulira si njiri yokka naye nga bakyalira abalwadde, ne bayigiriza abaana abato emisingi egy’okukkiriza, ne babuuliriranga abawaba, ne bafubanga okutabaganya abasoowaganye n’okujjumbizanga abantu okwagalananga ng’abooluganda. Mu biseera eby’emirembe ne balabirirwanga abooluganda abagadde okubawa; naye okufaanana ne Pawulo omukozi wa weema, nga buli omu alina omulimu oguyinza okumuyimirizaawo.EE 44.1

    Abavubuka ne baluņņamizibwanga abasumba baabwe. Newakubadde nga bafangayo nnyo okuyigirizibwa mu magezi ag’ebintu eby’enjawulo, Bayibuli ye yasinganga okuyigirizibwa. Enjiri ya Matoyo ne Yokaana ne bikwatibwanga bukusu nga kw’otadde n’ebbaluwa ez&pos;enjawulo. Okukopolola Ebyawandiikibwa ne gufuuka omulimu. Ng’ebitabo ebimu ebya Bayibuli bijjuvu ate ng’ebirala biri mu bitundutundu ekyasobozesanga abantu abalina obusobozi okwongerangamu ennyinnyonnyola enyangu okugaziya ku ntegeera y’Ebyawandiikibwa. Bwekityo eky’obugagga eky&pos;amazima bwe kyavumbulwa oluvannyuma lw’okuggalirwa abantu abegulumiza okusinga Katonda.EE 44.2

    Wakati mu bugumiikiriza n’obutakoowa, emirundi egimu nga bali mu mpuku eziri wansi mu ttaka era mu nzikiza, ne bakolezezanga emimuli okusobola okumulisibwa, ne bawandiikanga Ebyawandiikibwa Ebitukuvu lunyiriri ku lunyiriri, suula ku suula. Omulimu ne gukolebwanga mu ngeri eyo, okubikkulirwa kwa Katonda nga kugenda kutemagana nga zaabu ennoongose. Okujjako abo abaayinza okugumiikiriza ne balaba okutemagana n’okumasamasa nga kugenda kweyongera mu kitiibwa, be bategeera obuzibu bwe bayitamu. Bamalayika ba Katonda ne betoloolanga okusiisira abakozi bano abeesigwa.EE 44.3

    Setaani yayagala okukozesa abasasedooti n’abalabirizi ba Paapa okuziika ekigambo eky’amazima wansi mu kasasiro w’obulimba, okutabula n’obusamize, naye Katonda n’akikuuma nga tekitabuddwamu mu ngeri eyewunyisa okuyita mu mirembe gyonna egy’ekizikiza. Tekyayingizibwamu ndowooza ya muntu, naye ebyo byokka ebya Katonda. Omuntu afubye nga bw’asobola okunoonya ensobi mu bigambo ebyangu era ebitegerekeka okuva mu Byawandiikibwa azuulemu we bikontanira, naye okufaanana n’ekyombo wakai mu nnyanja bwe, n’Ekigambo kya Katonda bwe kiwangudde emiyaga egyo egyefunyirira okukizikiriza. Ng’omusimi w’ekyobugagga ekya zaabu oba feeza bw’eyesonseka mu bunnya ayinze okusimira ddala avumbule n’okuzuula ensibuko y’obugagga buno, bwekityo ne mu Byawandiikibwa muyudde obugagga obw’amazima obusobola okuzuulwa omuntu eyewaddeyo mu buwombeefu n’okusaba. Yali ntekateeka ya Katonda okuwandiisa Bayibuli okuba ekitabo ekigwanidde okuyigibwa ekiseera kyonna olulyo Iw’omuntu okuva mu buto bwe, nga muvubuka ne mu myaka egy’obukulu. Yakiwa omuntu nga mwe yebikkulira eri omuntu. Nabuli mazima agazuulibwa gongera okubikkula empisa z’oyo Omuwandiisi wakyo omukulu. Mu kuyiga Ebyawandiikibwa omuntu mwayita okusemberera Omutonzi we era mw’afunira okutegeera ebyo Katonda by’ayagala. Ye mpuliziganya Katonda gye yateekawo wakiti we n’omuntu.EE 44.4

    Newakubadde nga yali mpisa ya Bawaldensi okutya Mukama ng’ensibuko y’amagezi, tebaasuulirira bukulu buli mu kutegeera magezi ag’ensi, mu kutegeera omuntu n’obulamu bwe obwa bulijjo, okugaziya okutegeera kwabwe wamu n’obwangu bw’okuzuula ensobi. Abaana baabwe nga bamaze okusomera mu masomero gaabwe eyo wakati mu nsozi, baawerezebwanga okwongera okusoma mu masomero agawaggulu mu bibuga ebinene mu Bufaransa ne mu Italiya, gye baayinza okwongera okwetegereza ebiyigirizibwa mu bukugu obw’enjawulo okusingako eyo mu nsozi gye baali. Bwebatyo abavubuka abaweerezebwa ne basisinkana ebikemo, ne balaba obulimba, n’obukujyukujju bw’abaweereza ba Setaani, nga babasokasoka okukkiriza enjigiriza ez’obulimba eziyinza okubazikiriza. Naye nga banywezebwa okuva mu buto bwabwe mu ebyo bye baayigirizibwa olw’okubateekerateekera embeera eno.EE 45.1

    Nga tebalina kubaako muntu gwe balina kwatulira ku kyama kyabwe nga bali ku ssomero. Era nga n’ebyambalo byabwe byatungibwa mu ngeri ey’enjawulo okusobola okukweka ennyiriri za Bayibuli - eky’obugagga ekisinga. Ne batambulanga nabyo mwezi kumwezi era mwaka ku mwaka okutuusa lwe baamalanga okusoma, era ne babigabirako mikwano gyabwe abaalaganga okwagala amazima naye mu ngeri ey’obwegendereza. Omwana w’omugoberezi wa Waldensi nga yayigirizibwa okuva ku mabeere ga nnyina omulimu gw’okubuulira enjiri era nga bagukola n’obwesigwa. Bangi ne bakkiriza amazima okuva mu masomero gano, amazima ne gasenseranga kumpi okumalawo essomero lyonna; naye abakulembeze b’Obwapaapa nga tebayinza kuzuula nsibuko ya njiri esaasaanyizibwa bo gye bayita obulimba.EE 45.2

    Obulamu bwa Kristo bwa mwoyo wa kusaasaanya mawulire malungi. Era omuntu yenna eyakakyuka awulira okukubirizibwa okuleetayo omuntu omulala eri Omulokozi. Ogwo gwe gwali omwoyo gw’Abakristaayo bano. Baakimanya nga Katonda tayagala bakuumire butukuvu bwa mazima ge balina mu kkanisa zaabwe, wabula baleete bangi, era nga buvunaanyizibwa bwabwe okumulisiza ensi eri mu kizikiza erabe omusana, era bakutule obusibe obwabateekebwako Luumi okuyita mu maanyi g’Ekigambo kya Katonda. Abasumba nga batendekebwa okuba abaminsani, era nga buli ayagala okuyingira mu buweereza asooka kuyigirizibwa bubuulizi. Nga buli omu alina okufuna obumanyirivu bwa myaka esatu alyoke aweebwe okukulembera ekkanisa. Ng’okuyita mu buweereza buno omuli okwegaanyisa n’okwefiiriza, omusumba mwayita okugezesebwa. Ng’omuvubuka ayawuliddwa okuba omusumba, ategeezebwa obuvunaanyizibwa obumwolekedde omuli obulamu obw’okumenyeka n’obulabe si nakindi okuttibwa, so si kitiibwa na bugagga eby’omu nsi muno. Abaminsani ne bafulumanga kinnababirye nga ne Yesu bwe yasindika abayigirizwa be. Omuvubuka ng’atambula n’omusajja omukulu alina obumanyirivu afune okuluņņamizibwa n’okumutendeka. Oluusi nga tebatambulira wamu, naye nga balina okusisinkana olw’okusaba n’okubuulirirwa, bwebatyo bwe banywezagananga mu kukkiriza.EE 45.3

    Singa ekyama kye baalina eky’okubuulira enjiri kimala kitegeezebwa mu Iwatu, ng’olwo obuzibu bubajjidde, kye baava beekuuma obutamala gakyatula. Newakubadde n’abasumba nga balina okuba n’omulimu ogw’enjawulo, bwebatyo ne bakola emirimu gyabwe okusinziira ku buyivu bwabwe naye nga bwe bategeeza n’amazima. Basinganga kukola mirimu egy’abatambuzanga okutuuka mu bifoEE 45.4

    eby’enjawulo. “Baatundanga byakwewunda omuli ebikomo eby’ebbeeyi n’engoye ebitaabanga byangu bya kugula okuggyako mu bifo ebyewala; ne baanirizibwanga ng’abasuubuzi mu kifo ky’okusindiikirizibwanga ng’abaminsani.”- Wylie, b. 1, ch 7. Naye mu mitima gyabwe nga beebaza Katonda olw’amagezi g’abawadde okugabana ku ky’obugagga eky’omuwendo okukira zaabu n’ebikomo bye baatundanga. Ne batambulanga ne Bayibuli ennamba oba mu bitundutundu mu kyama okubikkulira n’okusomera ku baguzi baabwe omukisa we gujjidde. Era emirundi mingi abantu ne basanyukiranga Ekigambo kya Katonda, ne babalekeranga n’ebitundu ku yo.EE 46.1

    Omulimu gw’abaminsani ne gutandikira mu nsozi n’ebiwonvu okutuukira ddala mu bitundu eby’ewala. Ne batambulanga nga tebambadde ngatto mu bigere era mu ngoye ezitali nnungi okufaanana ne Mukama waabwe, ne bayita mu bibuga ebinene okutuuka mu nsi ez’ewala. Ne basiga ensigo zaabwe buli we baatukanga. Amakanisa ne gamerukanga mu buli kifo wabayitanga, n’abalala bangi ne battibwa ng’abajulizi ab’amazima. Olunaku Iwa Katonda olw’ekitiibwa lwe lulibikkula amakugula ag’ensigo ez’asigibwa abasajja bano abeesigwa. Omubuulizi ono ow’akasirise ng’ayambaziddwa mu byambalo ebitategerekeka mangu, ne yekolera ekkubo mu nsi kaakano omuli Obukristaayo, n’ayanirizibwa n’essanyu mu maka ne mu mitima gy’abantu.EE 46.2

    Abawaldensi nga tebatunuulira Byawandiikibwa ng’obuwaandiike obulaga Katonda bwe yakolagananga n’abantu mu biseera ebyayita, era ne kyakolera omuntu mu kiseera kino, naye era nga bibikulira omuntu okulaba by’ayolekedde mu maasa omuli ebiseera ebizibu n’enkomerero, ekitiibwa. Bakkiriza nga enkomerero y’ebintu byonna teri wala okutuuka, era nga mu kuyiga Ebyawandiikibwa mu maziga amangi n’okusaba ne bawulira nga tebayinza kwebeera okutuusa nga bategeezezza ku balala ebigambo eby’omuwendo eby’amazima agalokola. Baalaba entekateeka ya Katonda ey’obulokozi mu mpapula ez’omuwendo, ne bafuna okuweera, essuubi n’emirembe olw’okukkiriza Yesu. Ne bawulira essanyu olw’omusana ogw’amazima buli Iwe gweyongeranga okwaka mu mitima gyabwe, nabo ne baagala okumulisizaako banaabwe abali mu kizikiza eky’obulimba bwa Paapa.EE 46.3

    Ne balaba nga abantu bangi abatawanira obwereere okwagala okusonyiyibwa ebibi byabwe olw’okwebonereza nga bwe bategeezebwa Paapa n’abasasedooti. Bayigirizibwa okwesigama ku bikolwa byabwe ebirungi okusobola okulokolebwa, era nga buli lwe beetunuuliranga ne beeraba obwonoonefu bwabwe era nga ekiruyi kya Katonda kibalindiridde ne beebonerezanga omubiri n’omwoyo, naye nga tebafuna mirembe. Bwebatyo ne banywezebwa n’enjigiriza za Luumi. Nkumi na nkumi ne baawukana ku mikwano gyabwe n’aboluganda, ne beesibira mu bigo. Nga basiibanga enjala olutatadde n’okwebonereza mu ngeri ey’obukambwe, ne bayita mu kiro kyonna nga basaba, ne beeyalanga wansi ku ttaka okumala essaawa eziwera mu biseera eby’obunnyogovu, ne beetikanga amayinja agabasalanga mu ņņendo empanvu ez’okulamaga, nga basoma essaala ez&pos;okubonerera olw’okutya ebigenda okujja, naye bonna ne batafunira mmeeme zaabwe mirembe. Bangi ne bafa nga tebafunyeyo ssuubi olw’omubiri okukoyesebwa n’ekibi ekyabalumirizanga, nga batya ekiruyi kya Katonda okuwoolera eggwanga.EE 46.4

    Abawaldensi ne bawulira okuyaayaana mu mitima gyabwe okumenyera omugaati ogw’obulamu abantu bano abafa enjala, okubaggulirawo balabe ku mirembe gyaEE 46.5

    Katonda era babasongere ku Kristo essuubi ery’obulokozi. Era nga enjigiriza gye balina ey’okusonyiyibwa ekibi eky’okumenya amateeka ga Katonda olw’ebikolwa ebirungi, yazimbibwa ku bulimba. Enjigiriza eyigiriza okwesigama ku bikolwa ebirungi eby’omuntu ekontana n’okwagala kwa Kristo okutakoma. Yesu yafa nga saddaaka ku lw’omuntu eyagwa era ng’omuntu tayinza kweyogerako mu maaso ga Katonda. Omusingi gw’okukkiriza kw’Obukristaayo guyimiriddewo lw’ekyo Kristo kye yakolera omuntu - okufa n’okuzuukira kwe. Era omuntu kyekiva kimugwanira okwesigama ku Kristo okufaanana ng’ettabi ly’omuzabbibu bwe lyesigama ku muzabbibu.EE 47.1

    Enjigiriza za Paapa n’abasasedooti zaateeka endowooza mu muntu etunuulira Katonda ne Kristo nga abakakanyavu, buli kiseera abanyiivu era abatalina ssanyu. Ne ziraga Kristo nga atalina kisa eri omuntu mu mbeera ye eyagwa, kye kiva kyetaagisa okubeerawo kw’abasasedooti n&pos;abatukuvu okusobola okubegayiririra. Naye nga abamaze okumulisibwa Ekigambo kya Katonda bawulira ennyonta ey’okutegeeza n’okusongera abantu bano ku Yesu ajjude okusaasira, Omulokozi ow’okwagala, ayimiridde ng’agolodde emikono gye ng’ayita buli yenna azitoowereddwa n’omugugu gw’ekibi okugenda gyali. Ne bawulira okuyayaana okuggyawo emiziziko Setaani gy’atadde mu kkubo okuziyiza abantu okulaba ebisuubizo bya Katonda bajje gyali bamwatulire ebibi byabwe bafune okusonyiyibwa n’emirembe.EE 47.2

    Abaminsani bano mazima babikkulira abantu enjiri ey’amazima ag’omuwendo. Ne basomeranga abantu essuula eziwandiikiddwa obulungi ez’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu n’obwegendereza. Ne bawuliranga essanyu okuzaamu essuubi eri emyoyo eginyigirizibwa n’ekibi, abalaba Katonda nga awoolera eggwanga era alindiridde okusala omusango kyokka. Nga bonna emimwa gikankana era nga n’amaaso gajjudde ebiyengeyenge, ne bafukamira okubikkulira baganda baabwe ebisuubizo eby’omuwendo ebiraga omwonoonyi awali essuubi lye. Bwegutyo omusana ogw’amazima bwe gwasensera okumulisiza emyoyo egikwatiddwa mu kizikiza, okujjawo ekire eky’ekizikiza, okutuusa Enjuba ey’obutuukirivu Iwe yayakanga okumulisiza emitima n’okuleeta okuwonya mu biwawatiro byayo. Era emirundi mingi Ebyawandiikibwa ebimu ne biddibwamu okusomerwa mu matu g&pos;ababiwuliriza, basobole okwekakasa oba nga bye bawulidde mazima. Bino bye bimu ku Byawandiikibwa ebyayagalwanga ennyo okuwulirwa: lYokaana 1:7 “N’omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.” Yokaana 3:14,15 “Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwekityo ‘Omwana w’omuntu kimugwanira okuwanikibwa: buli muntu yenna amukkiriza ebeere n’obulamu obutaggwwaawo mu ye.”EE 47.3

    Bangi ne bawona obulimba bwa Luumi. Ne balaba nga omutabaganya wakati w’omuntu omwonoonyi ne Katonda takyetaagisa. Enjuba ey’omusana ogw&pos;amazima nga egenda evaayiirayo emmeeme zaabwe ne babaguka okusanyuka nga bwe bagamba nti: “Kristo ye kabona wange; omusaayi gwe ye saddaaka yange; nayatuliranga ye ebibi byange era ku wolutaali ye.” Ne beewa Kristo olw’ebyo bye yabakolera nga bwe baddamu ebigambo bino nti: “Awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa.” Abaebbulaniya 11:6 “Kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.” Ebikolwa by’Abatume 4:12.EE 47.4

    Abantu bano abanaku abaali batabuddwa ennyo, beeyongera okwewuunya obukakafu bw’okw&pos;agala kw’Omulokozi. Bakkakkana mu mitima ne bawulira ng’abasituliddwa ne batwalibwa mu ggulu. Emikono gyabwe ne bagiwummuliza mu mikono gya Yesu, ebigere byabwe ne babinywereza ku Lwazi olw’Edda - n’edda. Okufa nga tebakyakutya. Nga beegomba ekkomera n’okwokebwa omuliro bwe kiba nga kye kitegeeza okusaamu Omulokozi waabwe ekitiibwa.EE 48.1

    Ekigambo kya Katonda bwekityo ne kitwalibwanga mu kyama eri abantu bano oluusi ng’ali bw’omu oba nga bali mu kibinja eky’abantu abatonotono abanoonya okutegeera amazima. Emirundi egimu nga basula bayiga. Abawuliriza nga beewuunya okulaba omubaka ow’ekisa nga takoowa kusomera bantu okutuusa nga bategedde amawulire amalungi ag’obulokozi. Ne bawulirwa nga boogera ebigambo bino nti: “Naye Katonda anawulira okusaba kwange? Ayinza okumw&pos;enyezaako? Ayinza okunsonyiwa?” Eky’okuddamu ne kibasomerwa: “Mujje gye ndi mmwe mmwena abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” Matayo 11:28.EE 48.2

    Okukkiriza n’ebisuubizo ne binywegeragana, abantu ne baw&pos;ulirwa nga bagamba nti: “Sikyaddayo mu ŋŋendo za kulamaga wadde okugenda mu biggwa ebitukuvu. Nyinza okugenda eri Yesu nga bwe ndi, mu bubi bw&pos;ange n’obutali butukirivu bwange; taagobe mwonoonyi eyeenenya. ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa.’Ggwe wange osonyiyiddwa!”EE 48.3

    Emitima ne gijjula essanyu, n’erinnya lya Yesu ne ligulumizibwa n’okwebazibwa. Abantu abo ne baddayo eka nga basanyufu okutegeeza ku balala n’okubaddiramu ku mazima era nga bwe bazudde ekkubo ery’amazima era ery’obulamu. Mu Byawandiikibwa mwalimu amaanyi agatali ga bulijjo agaayogera n’emitima gy’abantu bano abaali bayayaana okutegeera amazima. Mazima lyali ddoboozi lya Katonda ery’alumiriza emitima gyabwe.EE 48.4

    Omubaka wa Katonda n’akwata ekkubo lye n’agenda; naye ne basigala nga beewunya okulaba omuntu omuwombeefu, ow’amazima, alina omuliro gw’Ekigambo kya Katonda. Emirundi mingi ne batamubuuza wa gy’ava era ne gy’agenda. Nga bawulira kibasuseeko olw’okwewuunya so ng’ate lwa ssanyu n’okwebaza ne beerabira okumubuuza. Bwe baamusabanga okubakyaliranga mu maka gaabwe, n’abategezanga nga bw’alinna okugenda eri endiga endala ezaabula. Ne basigala nga bewuunya oba nga ddala abadde malayika wa Katonda okuva mu ggulu?EE 48.5

    Era emirundi mingi tebaddayo kulaba mubaka ono nate. Ng’agenze mu kitundu kirala oba ng’asibiddwa mukkomera eritamanyiddwa abonaabona. Naye ng’ebigambo bye by’asize tebiyinza kuzikirizibwa. Nga bikola omulimu gw’abyo mu mitima gy’abantu, era ebibala eby’omukisa birirabibwa ku lunaku olw’enkomerero.EE 48.6

    Abaminsani ba Waldensi baali bali mu kuzinda bwakabaka bwa Setaani era nga n’amaanyi g’ekizikiza getegereza. Omulangira w’ekizikiza nga yetegereza buli kawefube akolebwa okubunyisa amazima, bwatyo n’ateeka okutya mu babaka be. Obwapaapa ne bulaba akabi akayinza okuva mu batambuze bano. Singa omusana ogw’amazima gw’akkirizibwa okwaka nga teguziyizibbwa, gwandyeruddewo ekire eky’obulimba ekyabikkibwa abantu. Gwandisongedde abantu ku Katonda omu ne gumalawo obulimba bwa Luumi.EE 48.7

    Luumi yafuna okulumirizibwa olw’okuva ku mazima olw’abantu bano abanyweredde ku mazima ag’ekkanisa eyasooka, bwetyo n’esituka muEE 48.8

    maanyi agekitalo okubalwanyisa n’okubayigganya. Ne bawalirizibwa okuleka Ebyawandiikbwa, nga bwe bagaana ne Luumi teyinza kubagumiikiriza. Luumi n&pos;amalirira okubasangulirawo ddala mu maaso g&pos;ensi. Kaakano entalo z&pos;eddiini ne zisituka okulwanyisa abantu ba Katonda eyo mu nsozi gye bali. Nga babuuzibwanga kajojijoji w’ebibuuzo; ng’olabira ddala ekifaananyi kya Abiri mu maaso ga muganda we Kayini omutemu nga kiddibwamu.EE 49.1

    Ne bafiirwa nate ebibanja byabwe ebigimu, amaka gaabwe n’amasinzizo ne bisanyizibwawo, nga mu bifo awaalinga ennimiro ennungi n&pos;amaka amalungi ag’abantu abakozi kaakano nga matongo. Ng’empologoma bw’ekambuwala olw’okuwomerwa omusaayi gw&pos;omuyigo, n’obusungu bw’abaweereza ba Paapa bwe bwali nga balaba okubonaabona kw’abantu abatalina musango. Bangi ne bayiggibwanga olw’enzikiriza yaabwe okuyita mu nsozi baabo mu biwonvu gye beekweka ne baggalirwa ebibira ebikutte oba ku ntikko z’enjazi.EE 49.2

    Nga tewali musango guyinza kuvunaanibwa bantu bano ensi beetwala ng’ekitagasa. Nga n’abalabe baabwe babamanyi ng&pos;abantu ab&pos;emirembe, abakakamu era abatya Katonda. Ng’omusango gwabwe, kwekugaana okusinza Katonda nga Paapa bw’ayagala. Olw’ekyo ne bavumibwanga n&pos;okunyoomebwa, ne bakolebwako ebikolobero byonna omuntu n&pos;omulabe bye baayinza okugunja.EE 49.3

    Omulundi ogumu Luumi bwe yasalawo okusangulirawo ddala akabiina kano akakyayibwa, Paapa yayisa ekiwandiiko ekivumirira enjigiriza zaabwe, n’abawaayo okusalibwa ng’ensolo. Tebavunaanibwa gwa kirereese oba olw’obutaba beesigwa, wadde okuba abatafugika; naye baavunaanibwa Iwa kulabika ng’abawulize ennyo era abayinza n’okusendasenda “endiga ez’omu kisibo eky’amazima” okubegattako olw’empisa zaabwe entukuvu. Paapa kwe kulagira “akabiina kano ak’omuzizo era ak’obulabe” kasanyizibwewo ng&pos;emisota egy’obusaggwa singa kalemera ku njigiriza zaako.”- Wylie, b. 16, ch. 1.EE 49.4

    Omukulembeze ono eyegulumiza yasuubira nti ebigambo bye ebyo birimujjukizibwa? Yakimanya nga ebigambo ebyo byawandiikibwa mu bitabo eby’eggulu gye birimusomerwa ku lunaku olw&pos;enkomerero? Yesu yagamba nti: “Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.” Mat. 25:40.EE 49.5

    Ekiwandiiko kino Paapa kye yawandiika ne kiyita abantu bonna mu kkanisa y’e Luumi beegatte mu kulwanyisa “obulimba.” Ne basuubizibwa obusiimo buli aneenyigira mu mulimu guno ogw&pos;obukambwe, era ekiwandiiko ne “kyejeereza oyo yenna anaabonereza n&pos;okulumya buli eyeeyita ow’akabiina ako; ne kisumulula buli eyegatta ku lutalo luno olw’eddiini okuba nga waddembe eri ekirayiro kyonna kye yalayira; ne kiwa omuntu yenna obuyinza mu mateeka okutwala ebyobugagga byabwe bye bayinza okutwala mu bumenyi bw’amateeka; ne kisuubiza okusonyiwa ebyonoono by’abo abanatta abantu bano abaava ku Luumi. Ekiwandiiko ne kisazaamu endagaano zonna ezakolebwa wakati waabwe n’omuntu omulala yenna, era ne kiragira bave mu maka ne mu bibanja byabwe; ne kiziyiza omuntu yenna okubawa obuyambi obw’engeri yonna, nga kwotadde n’okuwamba ebintu byabwe byonna.” - Wylie, b. 16, ch. I. Ekiwandiiko kino mazima kibikkula omukoza waabino byonna. Eryo ddoboozi lya gusota so si ddoboozi lya Kristo.EE 49.6

    Obwapaapa tebwayinza kuteekawo nkola na mateeka agafaanana n’amateeka ga Katonda, naye bwo bweterawo ekyo ekituukana ne kye bwagala, businziire okwo okuwaliriza bonna okukola nga bwe bwagala. Amateeka amakambwe ne gayisibwa. Ng’olwo Setaani akozesa obuwoozi bw’abasasedooti ne Paapa. Nga tebalina kusaasira n’akatono. Mu mwoyo gwennyini ogwawanikisaamu Yesu ku musaalaba n’engeri abatume gye battibwamu, n’engeri Nero kanywamusaayi bwe yattamu abantu abeesigwa mu nnaku ze, gwe mwoyo Setaani gwe yakozesa okumalawo mikwano gya Katonda ku nsi.EE 50.1

    Abaana ba Katonda bano abamutya abayigganyizibwa okumala ebyasa by&pos;emyaka bingi, baakuyitamu wakati mu bugumiikiriza ne basigala nga beesigwa eri Omununuzi waabwe. Ne basigala nga baweerezanga abaminsani mu nsi okusiga ensigo ez’omuwendo newakubadde nga baali balwanyisibwa n’okuttibwa ng’ensolo. Baayiggibwa okutuusa okufa; kyokka omusaayi gwabwe ne gufukirira ensigo ze baasiga ne zibala ebibala. Bwebatyo Abakristaayo ba Waldensi bwe baajulira Katonda okumala ebyasa by’emyaka bingi Luther nga tanazaalibwa. Olw’okubanga baali basasaanidde mu bitundu bingi eby’ensi, ne basiga ensigo ez’okuzza obuggya ekkanisa okwatandikira mu kiseera kya Wyclifte ne kukula okutuuka mu nnaku za Luther era nga kwakugenda mu maaso okutuuka ku nkomerero y’ebiseera eri abo abeeteseteese okubonaabona “olw’Ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu.” Kubikkulirwa 1:9.EE 50.2

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents