Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents

Essuubi Eritaggwaawo

 - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    13 —Budaaki N&pos;ensi Z’obukiikakkono Bwa Bulaaya

    Obwannakyemalira bwa papa bw’agamrwawo abantu mu nsi eno eya Budaaki. Abalabirizi babiri baanaabira omukiise wa papa mu maaso, ne bamugoba ng’ekyabula emyaka lusanvu okutuuka mu kiseera Luther we yabeererawo, bwe baasindikibwa ku kitebe ekikulu ekya Luumi, ne baategerera ddala ekifaananyi ekituufu “eky’ensi entukuvu:” Katonda “yeekolera mugole we era nnabakyala, nga ye kkanisa ye ey’ekitiibwa agirabirirenga emirembe gyonna, ng’agyegulira n’omuwendo ogw’oluberera, gye yayambaza engule era n’agiwa obuyinza okufuga;... byonna n’obiganyulwamu ng’ebiwambiddwa omubbi. Wewaŋŋamya mu yeekaalu ya Katonda; mu kifo ky’okuba omusumba n’oba omusege wakati mu ndiga;... oyagala tukkirize nti oli mulabirizi ow’oku ntikko, naye weeyisa nga nnakyemalira.... Wewandibeeredde omuweereza wa banne nga bwe weeyita, ofuba kubeera mukama wa bakama.... Oleetera amateeka ga Katonda okunyoomebwa.... Omwoyo Omutukuvu ye muzimbi w’amakanisa okutuusa yonna ensi gy’ekoma.... Ekibuga kya Katonda, gye tuli ng’abatuuze, kituuka ku buli nsonda y’eggulu; era kisingira wala ekibuga bannabbi kye baayita Babuloni, ekyefuula ekibuga kya Katonda, era ne weeyogerako nti amagezi go gaalubeerera; n’ekisembayo, nti ne bwotolowooza toyinza kuwaba era toliwaba.” - Gerard Brandt, History of the Reformation in and About the Low Countries, b. 1, p. 6.EE 151.1

    N’abalala bangi ne basitukawo nga baddiŋŋananga ebigambo ebyo buli kiseera nga bawakanya Luumi. Abayigiriza abo abaatambulanga mu bitundu bingi eby’ensi, ne bamanyibwanga mu ngeri nnyingi, naye okusinga nga abaminsani aba Vaudois, ne babunya wonna enjiri nga basanserera ddala mu Budaaki. Enjigiriza yaabwe n’esasaana mangu nnyo. Ne bawunula ne Bayibuli mu Ludaaki ng’eri mu bitundutundu. Baagamba nti bagyenyumiririzaamu, anti yo “teriimu kusaagirira, oba engero-gero, oba ebitalina makulu, temuli bulimba, wabula ebigambo eby’amazima; kyokka nga mu yo mulimu ebigumu okulya, naye nga obusomyo n’obuwoomi bw’obulungi bwa yo era obutukuvu bwanguyire abantu okubuvumbula.” - Ibid., b. 1 p.EE 151.2

    14. Bwebatyo baganda bafife bwe bawaandiika ku kukkiriza okw’ebiseera ebyo, mu kyasa ky’emyaka ekyekkumi n’ebibiri.EE 151.3

    Luumi n’eddamu nate okuyigganya abakkiriza; kyokka wakati mu kwokebwa omuliro n’okubonyabonyezebwa, abakkiriza beeyongeranga bweyongezi, nga bwe bategeeza nti Bayibuli bwe buyinza bwokka obutawaba mu ddiini, era nti “tewalirizibwa ku muntu alyoke agikkirize, wabula awangulibwa na kubuulirwa.” - Martyn, v. 2, p. 87.EE 151.4

    Enjigira ya Luther yayanguyira nnyo abantu b’e Budaaki, era abantu abeesigwa nga bamalirivu baasitukawo ne batandika okubuulira enjiri. Waalabikawo omuntu eyava mu limu ku masaza ga Budaaki ayitibwa Menno Simons. Naye newakubadde yayigirizibwa Obukatoliki era n’ayawulwa ng’omusasedooti, yali talina ky’amanyi ku Bayibuli era nga tagisoma olw’okutya okuwubisibwa okuva mu Bukatoliki. Bwe yayingirwamu okubuusabuusa enjigiriza y’omugaati n’envinnyo okufuukamu omubiri n’omusaayi gwa Kristo byennyini, n’akiwulira ng’ekikemo Setaani ky’amuleetedde, bwatyo n’atandika okusaba n’okusiiba aviibweko ekikemo ekyo; naye nga buteerere. Yanoonya ebifo eby’enjawulo mwayinza okwebulizabuliza asobole obutawulira ddoboozi limulumiriza, nakyo ne kigaana. Kwe kutandika okusoma Endagaano Empya nga wayiseewo ekiseera, awamu nayo era n’ebiwandiiko bya Luther, nnakkiriza enjigiriza empya. 01uvannyuma naalaba omuntu gwe bajjeeko omutwe ne bamutta mukyalo ekiriranyewo olw’okuddamu okubatizibibwa. Kino nakyo ne kimwongeramu amaanyi okwagala okuyiga Bayibuli ku kyeyogera ku kubatiza abaana abawere. Teyayinza kuzuula bujulizi bukiwagira mu Byawandiikibwa, wabula okwenenya n’okukkiriza byokka ebyetaagisa omuntu abatizibwe.EE 152.1

    Menno yava ku kkanisa y’e Luumi era naamalirira okugenda mu maaso ng’ayigiriza amazima g’azudde. Ekyennaku, ng’e Bugirimaani n’e Budaaki wasituseeyo ekibinja ky’abantu ab’akajanja, nga bayigiriza enjigiriza ezitalina makulu era ezireetera abantu okulya mu nsi yaabwe olukwe, obusambattuko n’obuvundu bw’empisa omuva okwagala okumaamulako obukulembeze. Menno bwe yalaba obubi obuyinza okuva bikolwa bino, kwe kubawakanyiza ddala awamu n’enjigiriza zaabwe. Kyokka waaliwo bangi abaali bamaze okubuzabuzibwa n&pos;abantu bano, naye ne beenenya enjigiriza zaabwe ez’obulabe, era mu abo mwalimu n’abaava mu njigiriza y’Obukristaayo eyasooka, ebibala by’Abawaldensi. Era mu abo Menno mwe yaweerereza n’amaanyi mangi era n’awangula.EE 152.2

    Yatambula mu bifo bingi ng’omunaku awamu ne mukyala we ko n’abaana okumala emyaka makumi abiri mu etaano, wakati mu buzibu obungi, si nakindi n’okufiirwa obulamu. Yaddiŋŋananga ebitundu bya Budaaki n’obukiika kkono bwa Bugirimaani, ng’aweerereza mu bantu aba wansi, be yakolamu ennyo omulimu. Newakubadde nga teyali muyivu nnyo, yalina ekirabo ky’okwogera obulungi, nga tayuzibwayuzibwa, omukakkamu era omuntu mulamu, owamazima era munaddiini, ayigiriza ekyo ky’ali, era asiima obwesigwa bw&pos;abantu bwe balina mu Katonda. Abagoberezi be bangi baasasaana olw’okuyigganyizibwa. Baabonabona nnyo olw’okwegatta n’enjigiriza ya Munster. Kyokka ng’abantu bangi abaakyuka olw’okufuba kwe.EE 152.3

    Teriiyo kitundu bantu gye baasinga kusanyukira njigiriza eno empya okwenkana Budaaki. So ng’ate abagoberezi bano baabonabona ebitagambika mu nsi si nnyingi. Ebugirimaani, kabaka Charles V yali agiweze era nga yaandisanyuse nnyo bwe yandiyokezza bonna abagikkiririzangamu, naye abalangira be baalemesa kijambiya ono. Amaanyi ge gaasinga kweyolekera Budaaki, gye yaweerezanga ebibaluwa ebiragira okutta abakkiriza buli kiseera. Ng’okusoma Bayibuli, okugiwuliriza oba okugibuulirako oba okugyogerako, ng’ekibonerezo kuttibwa ng’oyokebwa muliro. Okusaba mu linnya lya Katonda ng’oli mukyama, obutafukaamirira kifaananyi oba okuyimba zabbuli yonna, ng’obonerezebwa na kuttibwa. Newakubadde n’aboEE 152.4

    abeenenya ensobi zaabwe nga bavunaanibwa, abasajja nga battibwa na bitala; ate abakyala, nga baziikibwa balamu. Nkumi na nkumi ne bazikiriza olw’obufuzi bwa Charles ne kabaka Firipo 11.EE 153.1

    Waaliwo olumu amaka gonna lwe gaasimbibwa mu lukiiko Iw’abalamuzi, nga bavunaanibwa obutetaba mu misa ne basinziza awaka. Bwe baabuuzibwa ekibakoza kityo, omwana asembayo obuto kwe kwanukula nti: “Tufukamira ku maviivi gaffe, ne tusaba Katonda abikkule ku magezi gaffe era asonyiwe ensobi zaffe; tusabira kabaka waffe obufuzi bwe bube bwa mirembe era abeere n’obulamu obw’essannyu; tusabira abafuzi, Katonda abakuume mirembe.” - Wylie, b. 18, ch. 6. Abamu ku balamuzi baakwatibwako nnyo, ekyennaku, taata n’omwana we ne basalirwa ogw’okuttibwa nga bookebwa omuliro.EE 153.2

    Ekiruyi ky’abayigganyanga abantu ne kyenkanankana n’okukkiriza kw’abattibwanga. Nga si basajja bokka wabula n’abakyala ab’emibiri emigonvu awamu n’abawala abaayolesa obuvumu bwabwe. “Abakyala nga baguma okulaba ng’abaami baabwe battibwa bookebwa, era ne babayimbiranga n’ennyimba awamu n&pos;okubagumya nga bali wakati mu muliro.” “Abawala nga bagalamira mu ntaana zaabwe nga balaba, gy’oba bayingidde mu bisenge mwe basula okwebaka; oba okugenda ku bulabba bookebwe omuliro nga bambadde ebyambalo byabwe ebisinga obulungi, gy’oba bagenda ku mbaga.” - Ibid., b. 18, ch. 6.EE 153.3

    Mu biro obukaafiiri we bwayagalira okusaanyawo enjiri, omusaayi gw’Abakristaayo gwe gwali ng’ensigo ezaasigibwa. (Laba Tertullian, Apologgy, paragraph 50.) Okuyigganya ne kwogera bwongezi muwendo gwa bajulizi ab’amazima. Anti obwakabaka bwatuuka n’okugwa eddalu olw’okulemwa okuzikiza obumalirivu bw’abantu abeeyongerangako buli mwaka: bw’atuuka n’okukola ebikolwa eby’obukambwe ennyo; naye nga buteerere. Obukristaayo bwamala ne bufuna eddembe ly’abwo ery’okusinza Katonda mu biseera omulangira William ow’e Orange we yafugira.EE 153.4

    Enjiri yeyongera okukulakulana okuyita mu kuyiwa omusaayi gw’abayigirizwa eyo ku nsozi ze Piedmont, mu malungu g’e Bufalansa awamu ne ku mbalama z’ennyanja e Budaaki. Wabula yayanguwa nnyo okuyingira waggulu eyo mu bukiika kkono bwa Bulaaya, bwe yatuusibwayo abayizi abaakomawo eka okuva e Wittenberg. Ebiwandiiko bya Luther nabyo byayongera okusasaanya omusana. Abantu b&pos;obukiika kkono abaali abangu era abavumu ne bakyusibwa enjiri okuva mu bulyake, okwewulira, n’obusamize bwa Luumi, ne baaniriza amazima ga Bayibuli agaleeta obulamu era agategerekeka obulungi.EE 153.5

    Tausen “Omuzza w’ekkanisa Obuggya okuva e Denmark,” yazaalibwa balimi. Omulenzi ono yalabikirawo okuba omugezi; era yayagala nnyo okusoma; kyokka naalemesebwa olw’embeera y’abazadde be, bwatyo n’ayingira obuseminaaliyo. Yayagalibwa nnyo wano abakulu olw’empisa ennungi awamu n’obumalirivu nga kw’otadde n&pos;obwesigwa bwe. Bwe yeetegerezebwa, n&pos;alabika nga alina ekirabo ekiyinza okuba eky’omugaso eyo mu maaso mu kuweereza ekkanisa. Ne basalawo ayambibwe mu kusoma mu zimu ku ssettendekero za Bugirimaani oba mu Budaaki. Omuvubuka ono yaweebwa omukisa okwerondera essomero gye yandyagadde okusomera kasita litabeera Wittenberg. Nga tebaagala ayingirwemu butwa bwa njigiriza nkyamu. Bwebatyo bwe baagamba.EE 153.6

    Tausen yalondawo Cologne erimu ku masomero agaali, era nga nakati, amatwale ga Luumi. Kyokka yawulira nga yetamiddwayo olw’okugobereranga enkola emu mu kuzinza. Era kumpi mu kiseera kye kimu, n’afuna n’ebiwandiiko bya Luther. Yabisoma nga bwe yewuunya era nga musanyufu, era n’ayagala nnyo Luther abeeko omusomesa we. Naye nga bwe yandikikoze, yandibadde azizza omusango eri abakulu abamutwala n’okufiirwa obuyambi. Kyokka yasalawo, era mu bbanga si ddene, ne yewaandiisa ng’omuyizi e Wittenberg.EE 154.1

    Bwe yakomawo e Denmark, kwe kuddayo mu bulamu bwe obw’obuseminaaliyo. Tewali yamusuubira kubaamu njigiriza ya Luther; era teyategeeza muntu yenna ku kyama kye, wabula yafuba nnyo okubalaga nga bwali omuwulize baleme okumuteebereza, eno nga bw’abategeeza okukkiriza okutuufu era n’obulamu obutukuvu. Yabasomeranga Bayibuli nga bw’abannyonnyola by’etegeeza eby’amazima, era n’ababuulira Kristo, omutuukirivu w’omwonoonyi era essuubi lye lyokka ery’obulokozi. Ekiruyi ne kijula okubatta, olw’omuntu gwe baalinamu essuubi nti yaalirwanirira Luumi. Yaggibwayo bunnambiro ne bamutwala mu kigo ekirala gye baamusibira ku biragiro ebikakali.EE 154.2

    Ate ekyamukuba enkyukwe, be basasedooti abakuumi be abaggya, bangi bwe baayatula nga nabo bwe bakkiriza Obupulotestanti. Yabategeezanga ku mazima ng’ayima mu myagaanya gy’emitayimbwa mu kkomera mwe yasibirwa. Singa abakulembeze b’eddiini e Denmark baali bakugu ekimala mu kulwanyisa obulimba ng’entekateeka y’ekkanisa y’e Luumi bw’eri, eddoboozi lya Tausen teryandizeemu kuwulirwa; kyokka mu kifo ky’okumusibira mu kkomera ery’omuttaka, baagoba mugobe mu kigo. Kaakano nga tebakyamuyinza. Ebbaluwa ya kabaka ewa obukuumi abayigiriza b’enjigiriza empya nga nayo emaze okufulumizibwa. Tausen n’atandika okubuulira. N’ayitibwanga mu makanisa mangi; abantu ne beeyiwanga eyo okumuwuliriza. N’abalala bangi nga nabo bwe babuulira ekigambo kya Katonda. Endagaano Empya eyakyusibwa mu lulimi Oludeeni, nayo n’esasaanyizibwa nnyo. Okufuba kw’obwapapa mu kusaanyawo omulimu, ne kugwongeramu bwongezi kugaziwa, mu bbanga si ddene, Denmark n’ekkiriza enjigiriza eno empya.EE 154.3

    E Sweden nayo, ng’eriyo abavubuka abaanywa ku nsulo y’e Wittenberg abaatwala ku mazzi amalamu mu nsi z’ewaabwe. Babiri ku baakulembera Okuzza Obuggya ekkanisa e Sweden, omuli Olaf ne muganda we Laurentius Petri abazaalibwa omuweesi okuva e Orebro abaayigirizibwa Luther ne Melankisoni, ne bafuba nnyo okuyigiriza amazima ge baayiga. Okufaanana n’Omuzza w’ekkanisa omukulu, Olaf naye yakyamuukiriza nnyo abantu b’ewaabwe olw’okubeera omwogezi omulungi era omucamufu, ate nga Laurentius afaanana Melankisoni, eyali omuyivu, omwegendereza era omukakkamu. Bombi nga batya nnyo Katonda, era abayivu mu ddiini, ate nga tebayuzibwayuzibwa mu kutegeeza amazima. Kyokka n’obwapapa nga tebutudde. Anti abasasedooti baasokasoka abantu abatalina na kyebamanyi wabula obusamize. Era emirundi mingi Olaf yayiikirwanga ogubinja gw’abantu, n’emirundi egimu n’awoneranga watono okuttibwa. Ekyomukisa omulungi ng’Abazza b’ekkanisa bano, kabaka yabaagala nnyo era n’abawa n’obukuumi.EE 154.4

    Mu biseera ekkanisa y’e Luumi we yafugira, abantu baali baziikiddwa mu lupokero lw’obwavu n’okunyigirizibwa. Nga tebamanyi Byawandiikibwa; ng’eddiini ya kumimwa na mikolo, omutali musana gumulisa mu birowoozo, kumpi nga bazeeyoEE 154.5

    mu nzikiriza z’obusamize n’obukafiiri obwa bajjajja baabwe. Ensi nga yeekutuddemu ebiwayi ebyenjawulo n’entalo ezitakoma ezaabongeranga okulaba ennaku. Kabaka kwe kusalawo wakolebwewo enkyukakyuka mu ggwanga awamu n’ekkanisa, awo kwe kwaniriza abayambi be bano bamuyambe mu kulwanyisa Luumi.EE 155.1

    Olaf Petri yalwanirira enjigiriza kaakano ezziddwa obuggya n’amaanyi ge gonna ng’awakanya Luumi wakati mu lukiiko nga ne kabaka atudde awamu n’abakungu mu nsi eno Sweden. Yakyogera Iwatu nti enjigiriza z’abasasedooti ziba za nsonga bwe ziba zeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa; era nga n’emisingi emikulu egy’okukkiriza gy’awandiikibwa mu Bayibuli mu ngeri esiinga okutegerekeka era enyangu, abantu bonna bayinze okugitegeera. Kristo yagamba nti: “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw’oli eyantuma” (Yokaana 7:16); ne Pawulo n’agamba nti bw’abuulira enjiri efaanana obulala okuva ku eyo gye yaweebwa, akolimirwe (Abagalatiya 1:8). “Awo, kiyinzika kitya” Omuzza w’ekkanisa agamba, “abalala okuteekawo enjigiriza ezibasanyusa, ate ne baziwaliriza nga bye byokka ebigwanira olw’obulokozi?” - Wylie, b. 10, ch. 4. Era yakitegeeza nti ebiragiro by’ekkanisa y’e Luumi tebiba na buyinza bwe biba nga bikonagana n’ebiragiro bya Katonda, nga bw’anyweza etteeka ekkulu eritambulizibwako Obupulotestanti erya “Bayibuli era Bayibuli yokka” y’eremula okukkiriza ne nneyisa.EE 155.2

    Empaka zino newakubadde nga zaategekebwa mu ngeri etaategerekeka bulungi, zoongera okutulaga “ekika ky’abantu abaali abavumu era nga bwe baddiriŋŋana mu ggye ly’Abazza b’ekkanisa. Tebaali basosoze wadde abakaayanira ebitaliimu nti oba oli awo tebaali bayivu - nedda; baayiga ekigambo kya Katonda, era nga bamanyi ne bwe bayinza okukozesa ebyokulyanyisa ebyali mu Bayibuli. Nga mu magezi amasome bali waggulu okusinga ku myaka gyabwe. Bwe tulowooza ku bifo nga Wittenberg ne Zurich ng’ensibuko y’amagezi, ne ku mannya g’abasajja nga Luther, Melankisoni, Zwingili ne Owekalampodiyasi, ng’amannya agassibwamu ekitiibwa, tuba beenkanya bwe tutegeezebwa nti mazima baali bakulembeze mu mugendo, tubalaba nga baalina amaanyi ag’enjawulo era nga bamanyi; wabula abooluvannyuma si bwe baali. Kaakano ka tudde ku mpaka ezitaategerekeka ezaali e Sweden, ne ku mannya nga Olaf ne muganda we Laurentius Petri - abaali abasomesa kaakano bayigirizwa - tulaba ki wano? .... Bayivu, abasajja abakuguse enteekateeka yonna ey’enjiri ey&pos;amazima, ne bwe bawangulamu mu ngeri enyangu bakagezi- munnyu awamu n’abakungu ba Luumi.EE 155.3

    Era n’ekyava mu mpaka zino, kabaka n’akkiriza eddiini y’Obupulotestanti, era tewayita na bbanga n’olukiiko lw’eggwanga ne lugisemba. Endagaano Empya yali emaze okuwunulibwa Olaf ne Petri mu lulimu Oluswedi, era ne kabaka n’asiima abooluganda bano baawunule Bayibuli yonna. Bwebatyo abantu be Sweden ne beefunira ekigambo kya Katonda mu lulimi Iwabwe. Olukiiko era ne lulagira abasumba bannyonnyole Ebyawandiikibwa era n’abaana abali kussomero bayigirizibwe okugisoma.EE 155.4

    Mpola mpola, omusana gw’enjiri ne gugenda nga gugoba ekizikiza ky’obutamanya awamu n’obusamize. Eggwanga ne lifuna ekitiibwa ko n’amaanyi ekitabangawo, Luumi bwe yalekera awo okubanyigiriza. Bwetyo Sweden n’efuuka obuddukiro bw’Obupulotestanti. Nga wayise emyaka kikumi, Bugirimaani bwe yali mu mbeera enzibu ennyo mu lutalo olwamala emyaka asatu, eggwanga lino ettono ennyo ateEE 155.5

    nga linafu - lye lyagiyamba mu mawanga gonna ag’e Bulaaya. Ng’amawanga gonna agali mu bukiika kkono bwa Bulaaya nga galinga agazzibwayo mu bufuge bwa Luumi. Gaali maggye ga Sweden agasobozesa Bugirimaani okweggyako obwapapa, n’okufunira eddembe Abapulotestanti, omuli Abacalvin n’Abaluther, n’okulwanirira eddembe ly’okusinza eri amawanga agakkiriza okuteekawo enkyukakyuka mu kkanisa.EE 156.1

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents