Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents

Essuubi Eritaggwaawo

 - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    25 — Amateeka Ga Katonda Agatakyukakyuka

    “Ne yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’ebikkulwa; ne walabika mu yeekaayu ye essanduuke y’endagaano ye.” Kubikkulibwa 11: 19. Essanduuko y’endagaano ya Katonda eri mu kifo ekisinga obutukuvu, kye kisenge ekyookubiri mu yeekaalu. Ekisenge kino kyaggulibwanga omulundi gumu ku lunaku lw’okutangirirako n’okulongoosa awatukuvu mu kuweereza okw’omu weema ey’oku nsi okwalinga “okw’ekisiikirize n’ebifaananyi by’ebyo eby’omu ggulu.” N’olwekyo okulangiriraEE 278.4

    nti yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’ebikkulwa, ne walabika essanduuke y’endagaano ye kitegeeza okuggula ekifo ekisinga obutukuvu eky’omu ggulu ekya yeekaalu ya Katonda mu 1844 Kristo bwe yayingira okutuukiriza omulimu gwe ogufundikira okutangirira. Abo abaagoberera Kabona waabwe asinga obukulu mu kifo ekisinga obutukuvu baalaba n’essanduuko y’endagaano ye. Olw’okubanga baali bayize eky’okuyiga eky’ekifo ekitukuvu, baategeera okukyuka kw’obuweereza bw’Omulokozi, era ne bamulaba nga kaakano ali mu kuweereza mu maaso g’essanduuko ya Katonda, ng’awolereza omwonoonyi olw’omusaayi gwe.EE 279.1

    Essanduuko eyalinga mu weema ey’oku nsi mwe mwakuumirwanga ebipande ebibiri eby’amayinja, okwawandiikibwako ebiragiro ebiri mu mateeka ga Katonda. Essanduuko yalinga muteresi ow’ebipande eby’amateeka, n’olwekyo yabanga yamuwendo era ntukuvu Iwakukuumirangamu biragiro bya Katonda. Yeekaalu ya Katonda bwe yabikkulibwa mu ggulu, ne walabika essanduuko y’endagaano ye. Mu watukuvu w’awatukuvu, eyo mu yeekaalu ey’omu ggulu, mwe mukuumirwa amateeka ga Katonda amateeka agayogerebwa Katonda mwene wakati mu kubwatuka okwali ku Sinaayi era ne gawandiikibwa n’engalo ya Katonda yennyini ku bipande eby’amayinja.EE 279.2

    Amateeka ga Katonda agali mu yeekaalu mu ggulu, ye nsibuko w’amateeka gonna, bwe buwandiike obutawaba omuli ebiragiro ebyawandiikibwa ku bipande ne Musa ge yawandiika mu bitabo bye ebitaano. Bwe baazuula era ne bategeera obukulu bw’ensonga eyo, baatuuka n’okumanya obutukuvu bw’amateeka ga Katonda era ne bwe gatakyukakyuka. Baalaba okusingako ne bwe baali balaba amaanyi agali mu bigambo by’Omulokozi ebigamba nti: “Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak’omu mateeka tekaliggwaawo.” Matayo 5: 18. Olw’okubanga amateeka ga Katonda ge gabikkula ekyo kyali, obuwandiike obw’empisa ze, gateekwa okunywerera emirembe gyonna, “ng’omujulirwa omwesigwa mu ggulu.” Obutaggyamu wadde ekiragiro ekimu ekiri mu mateeka oba okukyusa akatonnyeze akamu. Omuyimbi wa Zabbuli agamba: “Emirembe gyonna, ai Mukama, ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.” “Ebiragiro bye byonna binywerera. Biteekebwawo emirembe n’emirembe.” Zabbuli 119: 89; 111: 7,8.EE 279.3

    Wakati mu mateeka ekkumi mwe muli etteeka eryookuna nga bwe lyasooka okwogerwa nti: “Jjukira olunaku olwa Ssabbiiti okulutukuzanga. Ennaku omukaaga okulanga emirimu gyo gyonna: naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangako mirimu gyo gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde omwano omuwala, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo: kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n’ensi, ennyanja, n’ebintu byonna ebirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.” Okuva 20: 8-11.EE 279.4

    Omwoyo wa Katonda yalumiriza nnyo emitima gy’abayizi bano ab’ekigambo kye. Muli nga bawulira okulumwa olw’okubanga babadde bamenya ebiragiro bino olw’obutaffangayo ku kiwummulo eky’olunaku lw’Omutonzi. Olwo baatandika okunoonya ensonga Iwaki babadde bakuuma olunaku olusooka mu nnaku omusanvuEE 279.5

    mukifo ky’olunaku lwa Katonda olwatukuzibwa. Naye tebaazuulayo bujulizi bwonna mu Byawandiikibwa obulaga nti etteeka eryookuna lyaggibwawo oba nti Ssabbiiti yakyusibwa; omukisa ogwateekebwa ku lunaku olwoomusanvu teguluggibwangako. Babadde nga banoonya mu bwesigwa okutegeera Katonda ky’ayagala; kaakano nga bamaze okwezuula nga bwe bali abamenyi b’amateeka ga Katonda, emitima gyabwe ne bajjula okunakuwala, ne basalawo balage obuwulize bwabwe eri Katonda nga bakuuma Ssabbiiti ye nga ntukuvu.EE 280.1

    Okuva mu ddiini gye baali bamaze okuzuula tekyali kyangu. So ng’ate tewali n’omu ataayinza kulaba nti yeekaalu ey’oku nsi bw’eba nga yali kifaananyi ky’ebyo eby’omu ggulu, amateeka agaalinga mu ssanduuko y’endagaano eri ku nsi nti gaali buwandiike obukakasa okubeerawo kw’amateeka mu ssanduuko eya yeekaalu ey’omu ggulu; era nga bwe baba bakkiriza amazima agakwata ku yeekaalu ey’omu ggulu kizingiramu n’okukkiriza amateeka ga Katonda kye gagamba omuli n’etteeka eryookuna erya Ssabbiiti. Wano we baasanga obukaawu n’okuwakanyizibwa okungi ku njigiriza y’ebyawandiikibwa eyali ekwatagana obulungi ng’ebikkula obuweereza bwa Kristo mu yeekaalu ey’omu ggulu. Bangi ne baagala baggalewo oluggi Katonda Iwagguddewo, era baggulewo oluggi Iwaggaddewo. Naye “oyo aggulawo so tewali muntu aliggalawo, aggalawo so tewali muntu aggulawo,” yali agambye nti: “Laba nnateeka mu maaso go oluggi oluggule, omuntu yenna lw’atayinza kuggalawo.” Kubikkulirwa 3: 7,8. Kristo yali aggudde oluggi oba nga ayingiridde obuweereza obw’omu kifo ekisinga obutukuvu, ng’omusana gumulisibwa okuva mu luggi olwo oluggule olwa yeekaalu ey’omu ggulu, era ne balaba n’etteeka eryookuna wakati mu mateeka agaali mu watukuvu; weema eyasimbibwa Katonda, omuntu yenna gyatayinza kumenya.EE 280.2

    Kyokka abo abakkiriza omusana ogukwata ku buweereza bwa Kristo ng’omutabaganya n’amateeka ga Katonda ag’olubeerera, baakizuula nga gano ge mazima agalabikira mu Kubikkulirwa 14. Obubaka obuli mu ssuula eno bwogera ku kulabula kwa mirundi esatu nga buteekateeka abantu abali mu nsi olw’oku[ja kwa Mukama omulundi ogwookubiri. Ekirangiriro ekyogera nti: “Kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse,” kisonga ku buweereza bwa Kristo obufundikira omulimu gwe ogw’okulokola abantu. Amazima ago gaakulangirirwa okutuusa ku nkomerero y’okuweereza kwa Kristo ng’omuworereza alyoke akomewo ku nsi okutwala abantu be ye gyali. Ekiseera eky’okusala omusango ekyatandika mu mwaka 1844 kyakweyongera okutuusa ng’erinnya lya buli muntu likoneddwako, omuli ag’abalamu n’abafu; y’ensonga Iwaki kyakweyongera okutuusa ku nkomerero y’ekiseera eky’ekisa. Obubaka bulagira abantu nti, “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa,” era nti “mumusinze eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi,” bayinze okweteekateeka n’okuyimirira mu kiseera eky’okusala omusango. Abantu bwe banakkiriza okulabula kuno, olwo, ekigambo ne kilyoka kituukirira nti, bano be “bakwata ebiragiro bya Katonda era abalina okutegeeza kwa Yesu.” Okusobola okweteekateeka obulungi olw’ekiseera eky’okusala omusango, kigwanira abantu okukwata amateeka ga Katonda. Amateeka ago ge galibeera ekigera ky’empisa mu kusala omusango. Omutume Pawulo agamba nti: “Era bonna abaayonoonanga nga balina mateeka, balisalirwa omusango n’amateeka... ku lunaku Katonda kw’alisalira omusango gw’ebyama by’abantu, ku bwa Yesu Kristo.” EraEE 280.3

    agamba nti, “abakola eby’amateeka be baliweebwa obutuukirivu.” Abaluumi 2: 12- 16. Okukkiriza nsonga nkulu mu kukuuma amateeka ga Katonda; kubanga, “awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa ye ” Era “na buli ekitava mu kukkiriza kye kibi.” Abaebbulaniya 11: 6; Abaluumi 14: 23.EE 281.1

    Abantu bayitibwa okuyita mu malayika ow’olubereberye nti, “mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa,” bamusinze kubanga ye Mutonzi eyatonda eggulu n’ensi. Mu kukola kino balina okubeera abawulize eri amateeka ga Katonda. Omugezigezi agamba nti: “Otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye: kubanga ebyo bye byonna ebigwanira omuntu.” Omubuulizi 12: 13. Katonda tayinza kusiima kusinza kwaffe awatali kaba buwulize eri ebiragiro bye. “Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” “Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka n’okusaba kwe kwamuzizo.” 1 Yokaana 5: 3; Omubuulizi 28: 9.EE 281.2

    Abantu okusinzanga Katonda kusibuka ku mazima gano nti ye, ye Mutonzi era nga n’ebitonde byonna bibeerawo ku lulwe. Era buli Bayibuli lw’eyogera ku Katonda nga agamba okumussaamu ekitiibwa n’okumusinza, asukkulumizibwe okukira ku bakatonda b’abamawanga, emwogerako ng’eraga obuyiza obw’obutonzi bwe. “Kubanga bakatonda bonna ab’abamawanga bye bifaananyi: naye Mukama ye yakola eggulu n’ensi.” Zabbuli 96: 5. “Kale ani gwemulinfaananya nze okumwenkana? bw’ayogera Omutukuvu. Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali.” “Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi n’agikola ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu.... Nze Mukama so tewali mulala.” Isaaya 40:25,26; 45:18. Owa zabbuli agamba: “Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutunda naffe tuli babe.” “Mujje, tusinze, tuvuuname: tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe.” Zabbuli 100:3; 95:6. Era n’ebitonde ebitukuvu ebisinza Katonda mu ggulu byogera ensonga Iwaki bisinza oyo nti: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna era byabaawo Iwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Kubikkulirwa 4: 11.EE 281.3

    Abantu bakowoolebwa mu Kubikkulirwa 14 basinze Omutonzi; era n’obunnabbi butulaga ekibiina ky’abantu abo oluvannyuma lw’okukkiriza obubaka bwa bamalayika abasatu, kaakano nga bakuuma ebiragiro bya Katonda. Ekimu ku biragiro bino kisongera ddala ku Katonda ng’Omutonzi. Ekiragiro ekyookuna kigamba nti: “Naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo.. ..Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n’ensi, ennyanja, n’ebintu byonna ebirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.” Okuva 20: 10,11. Katonda ng’ayogera ku Ssabbiiti era agamba nti “ke kabonero... mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.” Ezekieri 20:20. Era n’ensonga n’eweebwa nti “kubanga mu nnaku mukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n’ensi, ne ku lunaku olwoomusanvu n’awummula n’aweera.” Okuva 31:17.EE 281.4

    “Ssabbiiti ng’ekijjukizo ky’obutonzi nkulu nnyo olw’ensonga nti etulaga buli kiseera ensonga eyamazima Iwaki kitugwanira okusinzanga Katonda” - kubanga ye, ye Mutonzi era naffe tuli bitonde bye. “N’olwekyo, Ssabbiiti musingi mukulu mu kusinza Katonda, kubanga y’etuyigiriza amazima gano amakulu ne gatasobola kusanguka, so tewali kijjukizo kirala kyonna kituyigiriza nsonga eno. EnsongaEE 281.5

    ey’amazima etuleetera okusinza Katonda, nga si Iwa lunaku Iwa musanvu kyokka, wabula mu kusinza okw’engeri zonna, eri mu njawulo eri wakati w’Omutonzi n’ebitonde. Amazima gano tegalikaddiwa, era tegalyerabirwa.” J. N. Andrews, History of the Sabbath, Chapter 27. Olw’okwagala oku[jukizanga abantu amazima gano, Katonda kyeyava ateekawo Ssabbiiti mu lusuku Adeni; kale singa tuyukiranga amazima gano nti ye ye Mutonzi waffe era nga yensonga etuleetanga mu maaso ge okumusinza, kavuna Ssabbiiti erisigala nga ke kabonero era ekijjukizo ky’obutonzi. Singa Ssabbiiti yali ekuumibwa abantu bonna, ebirowoozo by’abantu n’ebyo bye beegomba byanditunuulidde Katonda oyo assibwamu ekitiibwa era asinzibwa, era tewandibaddewo n’omu asinza bifaananyi, oba atakkiriza wadde omukafiiri. Okukuuma Ssabbiiti kabonero akalaga obuwulize eri Katonda ow’amazima, oyo “eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo ez’amazzi.” Obubaka buddirirwa ekiragiro ekiyita abantu okusinza Katonda era bakuume ebiragiro bye naddala okukuuma etteeka eryookuna.EE 282.1

    Ate ku luuyi olulala ng’oggyeeko abo abakuuma ebiragiro bya Katonda era abalina okutegeeza kwa Yesu, malayika owookusatu ayogera ku kibiina ekirala, ng’akirabula olw’ensobi zaabwe ze bakola nti: “Omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, era bw’akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge ogw’obusungu bwa Katonda.” Kubikkulirwa 14: 9,10. Wano kyetaagisa okumanya amakulu amatuufu ag’obubonero obukozeseddwa okusobola okutegeera obulungi obubaka buno. Kitegeezaki bw’ayogera ensolo, ekifaananyi oba enkovu?EE 282.2

    Obunnabbi omuli obubonero buno butandikira mu Kubikkulirwa 12, ogusota we gwayagalira okuzikiriza Kristo mu kuzaalibwa kwe. Ogusota gwogerwako nga ye Setaani (Kubikkulirwa 12: 9); oyo yeyakolera mu Kerode okwagala okutta Omulokozi. Naye omubaka wa Setaani omukulu mu kulwana ne Kristo awamu n’abantu be mu kyasa ekyasooka mu mulembe gw’Obukristaayo bwali bwakabaka bwa Luumi, obwafugibwanga eddiini z’obukafiiri. Bwekityo, newakubadde nga ogusota kitegeeza Setaani, mu ngeri endala kabonero aka Luumi enkafiiri.EE 282.3

    Mu ssuula 13 (ennyir. 1-10) woogera ku nsolo endala, “eyali efaanana ng’engo,” ogusota ne gugiwa “amaanyi gaayo, n’entebe yaayo ey’obwakabaka, n’obuyinza bungi.” Akabonero kano kategeeza bwapapa era nga bwekitwalibwa kumpi eddiini z’Obupulotestanti zonna, era nga bw’afuna amaanyi n’entebe era n’obuyinza obwalinga obw’obwakabaka bwa Luumi eyedda. Ng’ayogera ku nsolo eyali efaanana ng’engo, agamba nti, “N’eweebwa akamwa akoogera ebikulu n’obuwoozi.... N’eyasamya akamwa kaayo okuwoola Katonda, okuwoola erinnya lye, n’eweema ye n’abatuula mu ggulu. N’eweebwa okulwana n’abatukuvu n’okubawangula: n’eweebwa obuyinza ku buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga. Awatali kubuusabuusa obunnabbi buno kumpi obufaananira ddala n’obw’akayembe akatono mu Danieri 7, busonga ku bwapapa.EE 282.4

    “N’eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.” Era nnabbi agamba nti, tcN’endaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa ekiwundu okufa.” Era nti: “Omuntu yenna bw’ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw’atta n’ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n’ekitala.” Emyezi amakumi ana mu ebiri kye kimu “n’ekiseera ebiseera n’ekitundu kyekiseera, oba ennaku 1260EE 282.5

    ebiri mu Danieri 7 - ekiseera obuyinza bw’obwapapa mwe bwayigganyiriza abantu ba Katonda. Ekiseera kino nga bwe kibadde kyogerwako mu ssuula zetuyiseemu, kyatandikira ku bwapapa kufuna buyinza bw’abyabufuzi mu A.D. 538 era ne kiggwaako mu 1798. Mu kiseera ekyo amagye ga Bufalansa gaatwala papa mu bunyage, obwapapa ne bufuna ekiwundu eky’okufa obunnabbi ne butuukirira nti, oyo “bw&pos;ayagala okunyaga, anyagibwa.”EE 283.1

    Wano twongera okulagibwa n’akabonero akalala. Nnabbi agamba: “Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng’ag’omwana gw’endiga.” Olunyir.l 1. Bw’otunuulira ensolo eno n’engeri gye yasitukamu, kiraga nga eggwanga eryogerwako lya njawulo okuva ku ago getulabye mu bubonero obwogeddwako. Amawanga ag&pos;amaanyi agazze gafuga ensi gaalagibwa nnabbi Danieri mu bifaananyi eby’ensolo ezawambanga obuyinza, ezasituka nga ziva mu “mpewo ez’omu ggulu ennya ezawamatuka ku nnyanja ennene.” Danieri 7: 2. Mu Kubikkulirwa 17, malayika annyonnyola ng’agamba nti amazzi gategeeza “bantu n’ebibiina n’amawanga n’ennimi.” Empewo kabonero ka ntalo. Empewo ennya eziva mu ggulu nga zikuntira ku nnyanja ennene ziraga entalo ez’okuwamba n&pos;enkyukakyuka ezibeerawo ng’amawanga gatwala obuyinza.EE 283.2

    Naye ensolo erina amayembe agafaanana ng’ag’omwana gw’endiga yalabibwa ng’eva mu nsi. Mukifo ky’okuba nti yo ekozesa maanyi mu kuwangula obuyinza obulala esobole okubaawo, eggwanga lino eryogerwako lyakusituka okuva mu kitundu ekitabaddeemu bantu, ne likula mpola mpola era mu mirembe. Olwekyo, si lyakusituka nga liva mu mawanga agajjuddemu abantu ageerwanangako okusobola okubeerawo nga bwe kyabanga mu nsi ezo - okusiikuuka kw’ennyanja “y’abantu n’ebibiina n’amawanga n’ennimi.” Eggwanga lino liyina kunoonyezebwa ku Ssemazinga y’omu Bugwanjuba.EE 283.3

    Ggwanga ki eryasituka okuva mu Nsi Empya mu 1798 nga lifuna obuyinza, era nga lyolesa okufuuka eryamaanyi era nga litunuuliddwa amawanga gonna ag’ensi? Akabonero kano toyinza kukagerageranyiza ku ggwanga ddala lyonna. Waliwo eggwanga limu, era limu lyokka erituukana n’obunnabbi buno; anti busonga ku Amerika ey’obukiikakkono. Ebigambo bino byennyini eby’omuwandiisi w’ebitukuvu bizze biddiŋijanibwamu n’aboogezi awamu ne bannabyafaayo nga balaga okusituka n&pos;okukula okw’eggwanga lino. Ensolo yalabibwa nga “esituka eva mu nsi;” okusinziira ku muwuunuzi w’ebigambo, ye mukwogera nti “ng’eva mu nnyanja,” yagamba nti: “ng’ekula oba ng’emera ng’ekimera.” Era nga bwe tulabye, eggwanga lyakusituka mu nsi etebaddeemu bantu. Omuwandiisi omumanyifu, bwe yali annyonnyola eggwanga lya Amerika engeri gye lyasitukamu, alyogerako nga “ekyama ekyamerukira wakati mu bbanga,” era agamba nti: “Amerika yamera ng’ensigo ekulira mu kyama ne tukula okufuuka obwakabaka.” - G. A. Townsend, The New World Compared With the Old, p.462. Olupapula Iw’amawulire mu Bulaaya olwafuluma mu 1850, Iwayogera ku Amerika nga obwakabaka obwamaanyi obwali “busituka,” “wakati mu kasiriikiriro k’ensi nga bweyongerangako ku buyinza ne mu kitiibwa kyabwo buli lunaku.” - The Dublin Monitor. Edward Everett, bwe yali atontoma ku balamazi abaazuula eggwanga lino, yagamba: “Baanoonya kifo abantu gye batakyali, ekifo omutali kabi olw’obutamanyibwa, so nga kiri mulaala olw’okwesuula ewala, eyo akakanisa ke Leydon gye kaayinza okufuniraEE 283.4

    eddembe ly’okusinza? Laba amasaza agamaanyi agaawangulwa mu mirembe... mwe musituliddwa ebendera ey’omusaalaba!” - Speech Delivered at Plymouth, Massachusetts, Dec. 22, 1824, p. 11.EE 284.1

    “Era yalina amayembe abiri agafaanana ng&pos;ag’omwana gw’endiga.” Amayembe agafaanana ng’ag’omwana gw’endiga kabonero akalaga obuvubuka, obulungi, obuwombeefu ebituukanira ddala n&pos;ekikula kya Amerika nga bwe yalagibwa nnabbi nga “esituka” mu 1798. Mu Bakristaayo abangi abaddukira mu Amerika nga banoonya obubudamo olw’okuyigganyizibwanga bakabaka ne bakabona, bangi baasalawo okutandikawo obukulembeze obussaamu ekitiibwa eddembe lya buli muntu awamu n’okusinza. Era ebirowoozo byabwe ne biteekebwa ne mu ssemateeka w’eggwanga alambika obulungi amazima gano amakulu nti “abantu bonna benkanankana mu butonde” nga balina eddembe okubaEE 284.2

    “n’obulamu, okwerowooleza n’okufuna essanyu,” ebitayinza kubaggibwako. Era ssemateeka n’anyweza eddembe ly’abantu okwefuga, kavuna abakiise mu nkiiko eza waggulu abaalondebwa abantu abasinga obungi, bateekawo amateeka era ne batambulira ku mateeka ago. Eddembe ly’okusinza nalyo lyanywezebwa, nga buli muntu aweebwa eddembe okusinza Katonda nga bwawulira. Eggwanga ne lizimbirwa ku bukulembeze bw’abantu n’Obupulotestanti. Emisingi gino mwe mwali ekyama ky’obuyinza n’ettuttumu ly’ensi eno. Abayigganyizibwa era n’abasambirirwa ne badduka nga bava mu nsi zonna ez&pos;Obukristaayo okujja mu nsi eno wakati mu ssuubi. Obukadde n’obukadde bw’abantu buyayaanye okutuuka ku mbalama zaayo, era Amerika esituse okutuuka ku ntikko y’amawanga ag’amaanyi ku nsi.EE 284.3

    Kyokka ensolo eyalina amayembe ng’ag’omwana gw’endiga, “n’eyogera ng’ogusota. N’ekoza obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye mu maaso gaayo. N’esinzisa ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye, eyawona ekiwundu eky’okufa... ng’egamba abatuula ku nsi okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu” Kubikkulirwa 13: 111-14.EE 284.4

    Akabonero k’amayembe ng’ag’omwana gw’endiga era n’okwogera ng’ogusota byoleka okukonagana wakati w&pos;ebyo ebisuubirwa okukolebwa n’ebyo ebikolebwa mu ggwanga lino eryogerwako. “Okwogera” kw’eggwanga kulabikira mu bikolwa by’olukiiko lwalyo olukulu awamu n’essiga eddamuzi. Olw’ebikolwa ebyo, eggwanga lyesanga lirimbisizza enkola zaalyo ez&pos;okuteekawo eddembe n&pos;emirembe ng’emisingi kwe lifugirwa. Okulagula nti liryogera nga “ogusto” era “likoze obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye,” kiraga lwatu engeri omwoyo gw’obusosoze gye guligenda nga gweyongera okukula, awamu n’okuyigganya okwalabikiranga mu mawanga gali agali mu bubonero bw’ogusota n’ensolo eyafaanana ng’engo. Era n’ekigambo ekigamba nti ensolo eyalina amayemba abiri “n’esinzisa ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye,” kiraga obuyinza bw’eggwanga lino nti bwakulikozesa okuwaliriza okukuuma amateeka agamu agalaga okussaamu ekitiibwa obwapapa.EE 284.5

    Ebikolwa ng’ebyo byakwoleka okukonagana mu misingi emikulu okufugirwa eggwanga lino, mu mateeka ag’eddembe agabadde geegombebwa wonna, mu birayiro ebyakolebwa ng’eggwanga lifuna obwetwaze, awamu ne mu ssemateeka. Abaatandika eggwanga lino baafaayo nnyo okukuuma ekkanisa mu butakozesa buyinza bwa byabufuzi olw’ebyo ebimanyiddwa ebivaamu omuli obusosozeEE 284.6

    n’okuyigganya. Ssemateeka agamba nti “olukiiko olukulu teruuteekenga tteeka eriraga okutandikawo eddiini oba okukugira eddembe ly’okusinza mu ddiini eyo,” era nga “tewabenga kwagala kusooka kumanya ddiini ya muntu alyoke aweebwe okuweereza mu bifo by’olukale ebiri mu Amerika.” Nga kizibu ab’obuyinza okuwaliriza omuntu okusinza mu ngeri yonna okujjako nga kikoleddwa mu bugenderevu. Wabula ebyo tebiyinza kulema kubaawo nga bwe biragibwa mu bubonero, kubanga eyo ye nsolo erina amayembe ng’ag’omwana gw’endiga - ennongoofu mu bigendererwa, mpombeefu, eterina kabi naye n’eyogera ng’ogusota.EE 285.1

    “Ng’egamba abatuula ku nsi okukolera ensolo ekifaananyi.” Wano kirabika bulungi nga obunnabbi bwogera ku ggwanga lya Amerika eririna enkola y’ebyobufuzi ng’obuyinza bw’olukiiko olukulu buli mu bantu.EE 285.2

    Naye “okukolera ensolo ekifaananyi” kye ki? era kikolebwa kitya? Ekifaananyi kikolebwa ensolo ey’amayembe abiri, era kye kifaananyi eri ensolo. So era kiyitibwa ekifaananyi ky’ensolo. Awonno okumanya ekifaananyi nga bwe kifaanana era n’engeri gye kikolebwamu kitugwanira okumala okuyiga n’okumanya ensolo yennyini - obwapapa.EE 285.3

    Omwoyo wa Katonda awamu n’amaanyi ge byava ku kkanisa eyasooka bwe yayonooneka olw’okuva ku njiri eyali etegerekeka obulungi bwe yakkiriza okuyingiza emize n’enkola z’abamawanga; awonno, bwe yayagala okufuga endowooza z’abantu, n’esalawo efune obuwagizi okuva mu b’obuyinza. N’ekyavaamu bwe bwapapa, n’ekkanisa efuga obuyinza bw’eggwanga era ng’ebukozesa okutuukiriza ebigendererwa byayo naddala mu kubonereza “abagyawukanyeeko.” Amerika bw’eba yakukolera ensolo ekifaananyi, obuyinza bw’ekkanisa buteekwa okuba nga bwe bufuga obukulembeze bw’eggwanga nabwo, era nga obuyinza bw’eggwanga bw’akukozesebwa ekkanisa okutuukiriza bye yeetaaga.EE 285.4

    Ekkanisa buli lwebadde efuna obuyinza bw’ensi, ezze ng’ebukozesa okubonereza abavudde ku njigiriza zaayo. N’ekkanisa z’Obupulotestanti ezigezezaako okutambulira mu bigere bya Luumi olw’okukola emikago n’obuyinza bw’ensi, zoolesezza engeri yeemu mu kukugira eddembe ly’okusinza. Ekyokulabirako ekyangu kye kino ekyaliwo Ekkanisa y’e Bungereza bwe yayigganyanga abaali tebakkaanya nayo okumala ebbanga ddene. Abasumba bangi abatakkaanyanga na Kkanisa y’e Bungereza baawalirizibwa okudduka okuva mu kkanisa zaabwe, era bangi ku basumba awamu n’abantu ne baweesebwanga engassi, okusibwa mu makomera, okulumya emibiri gyabwe n’okubatta awo mu kyasa eky’ekkuminomukaaga era n’eky’ekkuminomusanvu.EE 285.5

    Ekkanisa eyasooka bwe yava ku mazima olwo n’enoonya obuyambi okuva mu bafuzi ab’ensi, era kino ne kiteekateeka ekkubo eryavaamu obwapapa - ensolo. Pawulo yagamba nti: “Kubanga ... ng’okwawukana kuli kumaze okubaawo, era n’omuntu oli ow’okwonoona nga alimala okubikkulibwa.” 2Abasessaloniika 2: 3. N’olwekyo ekkanisa okuva ku mazima kye kiriteekateeka ekkubo eri ekifaananyi ky’ensolo.EE 285.6

    Bayibuli eyogera lwantu nti mu biro eby’oluvannyuma Mukama waffe nga tanakomawo, walibaawo okudda ennyuma mu kukkiriza ng’okwo okwaliwo mu kyasa ekyasooka. “Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma ebiroEE 285.7

    eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, abaamalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batuukirivu, abatayagala baaluganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, abeenkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakwo.” 2Timoseewo 3:1-5.4CNaye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani.” lTimoseewo 4:1 Setaani wakukola “n’amaanyi gonna n’obubonero n’ebyamagero eby’obulimba.” Era bonna “abataayagala kwagala mazima, balyoke balokoke,” balirekebwa “okukyamya okukola bakkirize eby’obulimba.” 2Abasesaloniika 2: 9-11. Ensi bw’erituuka mu mbeera eno ey’obutatya Katonda, n’ekiriddirira kirifaanana ekyo ekyaliwo mu kyasa ekyasooka.EE 286.1

    Abantu bangi balowooza nti olw’okwawukana okungi okuli mu nzikiriza z’Obupulotestanti kizibu okuwaliriza amakanisa ago okwegatta awamu. Naye okumala emyaka mingi wabaddewo endowooza eyamaanyi era egenda ng’ekula ng’ewagira okwegatta nga kusinziira ku njigiriza ezifaanagana. Bw’otekawo obwegaffu obwo, olwo okuteesa kwonna okukwata ku njawukana ezibaddewo - si nsonga nkulu kyenkana ki okusinziira ku Bayibuli - kuba kwangu okukkiriza.EE 286.2

    Charles Beecher, mu bubaka bwe bweyabuulira mu 1846, yagamba nti “obuweereza bw’ekkanisa z’Obupulotestanti,” “tebuliiwo Iw’akunyigirizibwa olw’okutya kw’omuntu, naye ekkanisa ezo weeziri, zitambula, zissa mu mbeera eyonoonekedde ddala, era nga buli ssaawa eyitawo zigenda zeeyongeramu emize egiviiriddeko amazima okubula, olwo ekkanisa ne ziwangulwa amaanyi g’obukafiiri. Eyo si y’engeri eyaliwo mu Luumi? Tetutandise kweyisa mu ngeri yeemu ng’eyo? Tulengeraki mu maaso awo? Y’eddiini emu ekulembera zonna! Eddiini ey’ensi yonna! Omukago gw’eddiini awamu n’enjigiriza emu ey’eddiini!”- Sermon on “The Bible a Sufficient Creed,” at Fort Wayne, Indiana, Feb. 22, 1846. Kino bwe kirituukibwako, olwo, mu kufuba okutuukiriza obwegaftu bwennyini, mpozi nga kiryetaagisa maanyi.EE 286.3

    Amakanisa ag’amaanyi mu Amerika bwe galyegattira ku nsonga ng’ezo ezikwata ku njigiriza ze bafaanaganya, galiyogereza n’eggwanga liwalirize okuteekesa mu nkola amateeka gaabwe olw’okuyimirizaawo eddiini zaabwe, olwo Amerika ebadde ey’Obupulotestanti Iw’eriba ekoze ekifaananyi ky’obuyinza bwa Luumi, n’ekirivaamu kwe kubonabona okuliva mu bibonerezo ebiriteekebwa ku abo abagiwakanya.EE 286.4

    Ensolo ey’amayembe abiri “n’ewaliriza bonna, abato n’abakulu, n’abagagga n’abaavu, n’ab’eddembe n’abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe; era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly’ensolo oba omuwendo gw’erinnya lyayo.” Kubikkulirwa 13: 16,17. Okulabula kwa malayika owookusatu kugamba nti: “Omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, era bw’akkiriza enkovu ku kyenyi kye oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge gw’obusungu bwa Katonda.” “Ensolo” eyogerwako mu bubaka buno ewalirizisa abantu okugisinza ensolo ey’amayembe abiri, y’eyo ey’olubereberye oba ensolo eyali efaanana ng’engo eya Kubikkulirwa 13 - bwe bwapapa. “Ekifaananyi ky’ensolo” kitegeeza Obupulotestanti obwava ku mazimaEE 286.5

    olw’amakanisa g’Abapulotestanti okunoonyeza obuyambi mu bafuzi ab’ensi bawalirize enjigiriza zaabwe. Tukyetaaga okunnyonnyola “akabonero k’ensolo.”EE 287.1

    Oluvannyuma Iw’okulabula abantu obutasinza nsolo n’ekifaananyi kyayo, obunnabbi bugamba nti: “Awo we wali okugumiikiriza kw’abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina okutegeeza kwa Yesu.” Olw’okubanga abo abakuuma amateeka ga Katonda baliranyiziddwa wamu n’abo abasinza ensolo n’ekifaananyi kyayo era nga balina n’enkovu, kitegeeza nti okukuuma amateeka ga Katonda, ku luuyi olumu, n’okugamenya ku luuyi olulala, bye bikola enjawulo wakati w’abasinza Katonda n’abasinza ensolo.EE 287.2

    Enjawulo y’ensolo esinga okulabika, ka lugambe n’ekifaananyi kyayo, kwe kumenya amateeka ga Katonda. Danieri agamba ng’ayogera ku kayembe akatono, obwapapa nti: “Alirowooza okuwanyisa ebiseera n’amateeka.” Danieri 7: 25. Ne Pawulo ayogera ku buyinza bwe bumu nti, “omuntu w’okwonoona,” eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda. Obunnabbi bukwatagana. Obwapapa buyinza kwegulumiza okusinga Katonda Iwa kuwanyisa mateeka ge; era buli muntu akuuma amateeka nga bwe gaawanyisibwa era ng’akimanyidde ddala nti gaawanyisibwa aba agulumiza buyinza obwakola enkyukakyuka ezo. Obuwulize obw’engeri ng’eyo eri amateeka g’obwapapa eyo y’enkovu ey’obuwulize eri papa mukifo kya Katonda.EE 287.3

    Obwapapa bugezezaako nnyo okuwanyisa amateeka ga Katonda. Etteeka eryookubiri erigaana okusinzanga ebifaananyi, lyaggibwa mu mateeka, era n’eryookuna ne liwaanyisibwa likkirize okusinzanga olunaku olusooka mukifo kya Ssabbiiti ey’olunaku olwoomusanvu. Naye abakiririza mu papa bagamba nti ensonga eyaggisaamu etteeka eryookubiri nti teryetaagisa, olwokubanga lirabikira ne mu tteeka erisooka, era nga bo baagala bawandiike amateeka nga Katonda bwe yayagalira ddala gategeerebwe. Kuno si kwe kuwanyisa amateeka nga nnabbi bwe yalagula. Nnabbi alaga nga walibaawo okugenderera: “Alirowooza okuwaanyisa ebiseera n’amateeka.” Okuwaanyisibwa okwakolebwa mu tteeka eryookuna kutuukiriza obunnabbi buno. Anti obuyinza bw’ekkanisa y’e Luumi bukaayanira ekikolwa ekyo. Era wano we bwegulumiriza okusinga Katonda mu ngeri ey’olwatu.EE 287.4

    Abaddu ba Katonda bwe baliba bategeerebwa mu ngeri ey’enjawulo olw’okussaamu ekitiibwa etteeka eryookuna - so ng’ate ke kabonero ke ak’obuyinza obw’obutonzi era akajulira nga bw’ayagala abantu bamuseemu ekitiibwa n’okumusinza, abasinza ensolo balitegeerebwa Iwa kufuba kwabwe mukwagala kumenyawo kijjukizo eky’obutonzi, nga basukkulumya obuyinza bwa Luumi. Obwapapa bwe bwasooka okukaayanira olunaku Iwa Sande bwonna nga bujjudde amalala, era okusalawo bukozese amaanyi g’abafuzi ng’olwo baagala kuwaliriza bantu bakuume olunaku Iwa Sande nga “olunaku lwa Mukama.” Naye Bayibuli eyogera ku lunaku Iwa musanvu, so si lunaku olusooka mu ssabbiiti nti lwe lunaku Iwa Mukama. Kristo yagamba: “Omwana w’omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti nayo.” Ate etteeka eryookuna ligamba nti: “Olunaku olwoomusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo.” Okuyita mu nnabbi Isaaya Mukama aluyita, “Olunaku Iwange olutukuvu.” Makko 2:28; Isaaya 58:13.EE 287.5

    Abo abagamba nti Kristo yakyusa Ssabbiiti bye boogera si bituufu okusinziira ku bigambo bye ye kennyini. Bwe yali abuulira ng’ali ku lusozi yagamba:EE 287.6

    “Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza. Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa Iwe biriggwaawo, ennukuta emu newakubadde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo okutuusa byonna Iwe birimala okutuukirira. Kale buli anaadibyanga erimu ku Mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bwatyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw’omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.” Matayo 5: 17-19.EE 288.1

    Kyamazima Abapulotestanti okutwalizawamu bakkiriza nga Ebyawandiikibwa tebirina we byogerera ku kukyusibwa kwa Ssabbiiti. Kino kikakasibwa bulungi okuyita ne mu biwandiiko ebyakubibwa ebitongole nga American Tract Society ne American Sunday School Union. Ekimu ku biwandiiko bino kikkiriza nga “Endagaano Empya nsirifu ku kiragiro kyonna ekiragira okukuuma Sande olunaku olusooka mu ssabbiiti.” - George Elliott, The Abiding Sabbath, p. 184.EE 288.2

    Ekirala kigamba nti: “Okutuusa ku lunaku Kristo Iwe yafiirako, waali tewabangawo kukyusibwa kwonna okw’olunaku;” era “okusinziira ku buwandiike obuliwo tulagibwa nga, abatume tebaakikola... okuteekawo ekiragiro ekiragira abantu okuva ku Ssabbiiti ey’olunaku olwoomusanvu, bade mu kukuuma olunaku olusooka mu ssabbiiti.” - A. E. Waffle, The Lord’s Day, pp. 186-188.EE 288.3

    Abakaluliki bakkiriza nga okukyusibwa kwa Ssabbiiti kwakolebwa kkeleziya, era ne bategeeza nti Abapulotestanti bwe bakuuma Sande baba bassa kitiibwa mu buyinza bwabwe. Mu Katekisimu y’Abakatuliki eyitibwa Catholic Catechism of Christian Religion, bwe yali ayanukula ekibuuzo, lunaki ki oluteekwa okukuumibwa mu kugondera etteeka eryookuna, tusangawo ebigambo bino: “Mu nnaku ezedda, Satade Iwe lwali olunaku olwatukuzibwanga; naye Ekeleziya bwe yaweebwa ekiragiro okuva eri Yezu Kristu, era n&pos;eruŋŋamizibwa Omwoyo wa Katonda, yawanyisa Sande ne ludda mukifo kya Satade; n’olwekyo tutukuza olusooka, so si olwoomusanvu. Olw&pos;ekyo Sande kitegeeza, nti, lwe lunaku Iwa Mukama.”EE 288.4

    Olw’okubanga ako ke kabonero ka Ekeleziya, abawandiisi b’ayo banokolayo na kino nti, “olw’ekikolwa ekyo kyennyini eky’okukyusa Ssabbiiti okudda ku Sande Abapulotestanti kye bakkiriza;... bwe bakuuma Sande baba bakkiriza obuyinza bw’Ekeleziya okulagira emikolo gy’eddiini, n’okubasonyiwa ebibi.” - Henry Tuberville, An Abridgment of the Christian Doctrine, p. 58. Olwo kitegeeza ki okukyusa Ssabbiiti, wabula ng’akabonero, oba enkovu ey’obuyinza bw’ekkanisa y’e Luumi - “Akabonero k’ensolo”?EE 288.5

    Ekkanisa y’e Luumi tekomanga kweyogerako nga efuga eddiini endala zonna; era ensi awamu n’ekkanisa z’Obupulotestanti bwe zikkiriza okukuuma ssabbiiti gye yatondawo, ng’ate bajeemedde Ssabbiiti ey’omu Bayibuli, olwo baba bakkiriza ebigambo ebyo nga bwe byogerwa. Bayinza okukaayanira obuyinza bwe baasikira okuva ku bakitaabwe kubanga nabo bwe bakkirizanga; naye ng’ekyamazima baba beerabidde omusingi omukulu ogwabaawula okuva ku Luumi - nga “Bayibuli era Bayibuli yokka, y’eddiini y’Abapulotestanti.” Okuwaliriza okukuuma olunaku Iwa Sande bwe kuneeyongeramu amaanyi n’okwagalibwa, ekkanisa y’e Luumi yakusanyuka, ng’ekimanyi nti luliba olwo Obupulotestanti bwonna ne butambulira wansi w’ebendera ya Luumi.EE 288.6

    Ab’ekkanisa y’e Luumi bagamba, “Abapulotestanti okukuuma Sande baba bassaamu kitiibwa buyinza bwa kkanisa ya Luumi, mu kifo kyabwe bo bennyini.” - Mgr. Segur, Plain Talk About the Protestantism of Today, p. 213. Okuwaliriza okukuuma olunaku Iwa Sande mu kkanisa z’Abapulotestanti kuba kubawaliriza kusinza bwapapa - ensolo. Abo abamanyi etteeka eryookuna kye lyogera, naye na basalawo okukuuma Ssabbiiti ey’obulimba mu kifo ky’ey’amazima, babeera bassa kitiibwa mu buyinza obwagiteekawo. So ng’ate n’ekikolwa eky&pos;okuwaliriza abantu okusinza nga bawalirizibwa buyinza bwa bafuzi, olwo amakanisa gaba gakoledde ensolo ekifaananyi; bwekityo, okuwaliriza abantu okukuuma Sande mu Amerika kuba kuwaliriza bantu kusinza nsolo n’ekifaananyi kyayo.EE 289.1

    Wabula Abakristaayo ab’emirembe egyayita baakuumanga Sande nga balowooza nti kye bakola baba bali mu kukuuma Ssabbiiti ey’omu Bayibuli; era Bakristaayo ba mazima mu buli kkanisa gye bali ng’oggyeko abo abali mu kkanisa y’e Luumi, abakkiririza ddala nti Sande ye Ssabbiiti ya Katonda gye yateekawo. Katonda asiima ekigendererwa kyabwe eky’amazima n’obwesigwa bwabwe gyali. Naye okukuuma Sande bwe kuliteekebwa mu tteeka, era n’ensi n’etegeezebwa ku Ssabbiiti ey’amazima, olwo oyo yenna alimenya ekiragiro kya Katonda, ng’agondera ekiragiro ekitalina buyinza bwa waggulu okusinga ku obwo obwa Luumi, aliba assizza ekitiibwa mu papa okusinga Katonda. Aba assizza ekitiibwa mu Luumi era ne mu buyinza obuteekesa mu nkola ebiragiro bya Luumi. Aba asinzizza ensolo n’ekifaananyi kyayo. Abantu bwe balijeemera etteeka Katonda lye yateekawo okuba akabonero ak’obuyinza bwe, naye ne bassa ekitiibwa mu ako akaateekebwawo Luumi akalaga obufuzi bwe, baliba balaze obuwulize bwabwe eri Luumi - “akabonero ak’ensolo.” Okutuusa nga ekiragiro kifulumiziddwa, ne kitegeezebwa eri abantu, era nga kibagwanira okusalawo oba okuwulira ebiragiro bya Katonda oba okuwulira ebiragiro by’abantu, olwo lwe baliteekebwako “akabonero k’ensolo.”EE 289.2

    Obubaka obutiisa ennyo nnyini obwali buweereddwa eri omuntu bwebwo obuli mu bubaka bwa malayika owookusatu. Ekyo kiriba kibi kinene ddala ekiriretesa Katonda okufuka ekiruyi kye awatali kusaasira. N’olwekyo abantu tebasaanidde kusagala mu nzikiza ku nsonga eno enkulu ennyo bweti; okulabula kuteekwa okutegeezebwa eri ensi nga Katonda tannaba kugisalira musango, bonna bamanye Iwaki ekyo kiribatuukako, era bafune n’ebbanga okudduka bawone. Obunnabbi bugamba nti malayika owoolubereberye waakulangirira obubaka bwe “eri abatuula ku nsi, na buli ggwanga, n’ekika, n’olulimi, n’abantu.” Okulabula kwa malayika owookusatu, okukola ekitundu ku bubaka bwa bamalayika abasatu, kwa kusasaana kinene mu ngeri yeemu. Kwogerwako mu bubaka buno nga kwakulangirirwa n’eddoboozi ddene malayika abuukira waggulu mu bbanga; era abantu bonna baakukuwulira okwetoloola ensi yonna.EE 289.3

    Bwe balirangirira olutalo ensi z’Obukristaayo zonna za kwetemamu ebibiina bibiri - eky’abo abakuuma ebiragiro bya Katonda era abalina okutegeeza kwa Yesu, era n’abo abasinza ensolo awamu n’ekifaananyi kyayo era abalina akabonero k’ayo. Newakubadde nga walibaawo okwegatta kw’ekkanisa awamu n’ensi bawalirize “bonna, abato n’abakulu, n’abagagga n’abaavu, n’abeddembe n’abaddu” (Kubikkulirwa 13: 16), okuweebwa “akabonero k’ensolo,” kyokka bo abantu ba Katonda tebalikaweebwa. Nnabbi okuva ku kizinga Patumo alaba nga “abaavaEE 289.4

    eri ensolo n’ekifaananyi kyayo n’omuwendo gw’erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja ey’endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda” ne bayimba oluyimba Iwa Musa n’oluyimba Iw’Omwana gw’endiga. Kubikkulirwa 15: 2,3.EE 290.1

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents