Loading...
Larger font
Smaller font
Copy
Print
Contents

Essuubi Eritaggwaawo

 - Contents
  • Results
  • Related
  • Featured
No results found for: "".
  • Weighted Relevancy
  • Content Sequence
  • Relevancy
  • Earliest First
  • Latest First
    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents

    12 — Enkyukakyuka Za Bufalansa

    Okwekandagga kw’abalangira mu lukiiko e Spires awamu n’okwatula kwe baakola e Aurgsburg ebyaleetera omulimu gw’Okuzza ekkanisa Obuggya obuwanguzi e Bugirimaani, kwaddirirwa emyaka egijjudde entalo n’ekiseera eky’ekizikiza. Kumpi Obupulotestanti busaanewo olw’abawagizi abaalwaniriranga omulimu okwesalasalamu awamu n’okukolokotebwanga abalabe baabwe abamaanyi. Era nkumi na nkumi ne banyweza okukkiriza kwabwe n’omusaayi gwabwe. Entalo ezoomunda zaabalukawo; Obupulotestanti ne bulibwamu olukwe n’omu ku bagoberezi abamaanyi; abakungu abaali abakyufu ku balangira bwe baakwatibwa kabaka ne bagenda nga babeetolooza mu bibuga ebyenjawulo ng’abawambe. Naye mu kiseera Iwe yalabika ng’atuuse ku buwanguzi, kabaka yawangulibwa. Yalaba nga anywezezza omunyago gwe mu mikono gye, kyava awalirizibwa okuddirizaamu ku biragiro byeyateeka eri enjigiriza ze yalwanyisanga zisaanewo. Yali yagombeza obwakabaka, amawanika ge n’obulamu bwe mu bizibu by’okusaanyawo obulimba. Kaakano ng’alaba amaggye ge gasaanawo olw’entalo, amawanika ge gakalidde, ng’amasaza gatandise okumujeemera, ng’ate eno eddiini gy’ayagala okusaanyawo bw’egenda nga yeyongerayo. Kabaka Charles V yali alwana na Muyinza wa byonna. Katonda yayogera nti, “Wabeewo obutangaavu,” naye nga kabaka ayagala kizikiza kye kiba kifuga. Yalemererwa; era mu myaka gye ng’akyali muto n’ata obwakabaka olw’entalo ezitakoma, ne yekweka mu bigo.EE 133.3

    Ennaku ez’ekizikiza zaabutikira omulimu gw’Okuzza ekkanisa Obuggya mu Buswedi, okufaananako ne mu Bugirimaani. Newakubadde ng’amasaza agamu gaali gakkiriza enzikiriza eno kaakano empya, amalala go nga gagugubidde mu buzibe bw’amaaso n’enzikiriza ya Luumi. Entalo ezoomunda zaabalukawo bwe baayagala okuyigganya abasanyukiranga amazima. Zwingili awamu n’abalalaEE 133.4

    abaali bamweggasseeko okutekawo enkyukakyuka, ne battirwa mu lutalo e Cappel. Owecolampadiyasi naye eyawangulibwa n&pos;ebizibu bino, naye n’afa mu kiseera si kinene. Luumi n’ejaguza, anti ng’enetera okweddiza byonna bye yali efiiriddwa. Naye ng’oyo Omukadde eyakamala ennaku ennyingi teyerabidde mulimu gwe wadde abantu be. Omukono gwe nga gugoloddwa okubanunula. Mu bitundu ebirala ng’asitudde abakozi okutwala omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya mu maaso.EE 134.1

    Erinnya Luther nga terinawulirwako mu Bufalansa nga Omuzza w’ekkanisa Obuggya, emmambya yali emaze okusala. Era omu ku baali bamaze okufuna omusana ye musajja ayitibwa Lefevre, eyali omukulu mu myaka, omuyivu ddala era omusomesa omukulu ku ssettendekero ly’e Paris, kyokka nga wa mazima era omugoberezi kayingo owa papa. Bwe yali anoonyereza mu biwandiiko ebyedda, amaaso ge ne gamutuusa ku Bayibuli, era naye n’atandika okugiyigiriza abayizi be.EE 134.2

    Lefevre yayagala nnyo abatukuvu, era yali asazeewo okuwandiika ekitabo ky’ebyafaayo by’abatukuvu n’abantu abattibwa ng&pos;abajulizi nga bwe boogerwako mu ngero z’ekkanisa y’e Luumi. Omulinu guno tegwali mwangu; naye yali agutandiseeko era ng’alina watuuse, era bwe yalowooza nga Bayibuli eyinza okumuyamba, naatandika okugiyiga emutuuse ku kigendererwa kye. Kituufu yalaba amannya g’abatukuvu mangi, wabula nga baaliwo mu biseera bya njawulo obutafaanana ne Luumi nga bw’egamba. Yafuna ekimyanso kya Katonda ekyamulisibwa mu birowoozo bye. Era mu ngeri eyewuunyisa awamu n’okwekyawa, naava ku mulimu gweyasalawo okukola n’adda mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Yatandika okugabana amazima ag’omuwendo ge yazuula awamu n’abayizi be.EE 134.3

    Mu mwaka 1512, nga Luther ne Zwingili tebannatandika mulimu gwa kuzza buggya kkanisa, Lefevre yawandiika nti: “Katonda yaatuwa obutuukirivu obwo okuyita mu kukkiriza, olw’ekisa kye naatusaanyiza okufuna obulamu obutaggwaawo.” - Wylie, b. 13, ch. 1.EE 134.4

    Ate bwe yali alowooza ku kyama ky’obulokozi, yagamba nti: “Hmm! Lowooza ku bukulu obutayogerekeka obwa mpa nkuwe, - Oyo atayonoonangako n’asingibwa omusango, ate eyayonoona n’ateebwa; Owomukisa ne yeetikka ekikolimo, ate eyakolimirwa n’aweebwa omukisa; Alina Obulamu n’afa, atalina bulamu n’aba omulamu; Ekitiibwa ne kisaanikirwa, naye oyo atalina ky’amanyi okujjako okukwatibwa ensonyi n’ayambazibwa ekitiibwa.” - D’Aubigne, London ed., b 12, ch. 2.EE 134.5

    Ate bwe yali ayigiriza ku Katonda yekka agwanira okuweebwa ekitiibwa, era yagamba nti n’obuvunaanyizibwa bw’omuntu kwe kuba omuwulize eri ye. “Bw’obeera ekitundu ku kkanisa ya Kristo,” agamba, “obeera kitundu ku mubiri gwa Kristo; era bw’obeera ekitundu ku mubiri gwe, obeera ogabanye ku bwaKatonda.... Kyokka naye singa abantu bategeera omukisa guno, nga bandyeyisizza mu mpisa ey’obutukuvu era ennongoofu; naye beemalamu ekitiibwa bwogerageranya ekitiibwa ekyabaweebwa, - ekitiibwa ekitayinza kulabibwa na maaso ga mubiri, - bw’okigerageranya n’ekitiibwa kyonna ensi eno ky’egaba.” - Ibid., b. 12, ch. 2.EE 134.6

    Waalingawo abayizi abawulirizanga ebigambo bya Lefevre n’essanyu lingi, era abo ne basuubira nti singa omusomesa waabwe asirisibwa okwogera, bo bagende mu maaso n’okutegeeza amazima. Mu abo mwe mwali William Farel. Yazaalibwa abazadde abatya Katonda, bwatyo n’ayayigirizibwa okwetwalira enjigirizaEE 134.7

    y’ekkanisa awatali kubusabuusa, era ng’ayinza n’okweyogerako ng’omutume Pawulo nti: “Bwe nneegenderezanga mu kitundu ekisinga obuzibu eky’eddiini yaffe, ne mbeera Mufalisaayo.” Ebikolwa By’Abatume 26:5. Nga mugoberezi kayingo owa Luumi, era omumalirivu okusaanyawo oyo yenna ayagņanga okuwakanya ekkanisa y’e Luumi. “Nga nnyinza okuluma emba okukira omusege omukambwe,” bw’agamba oluvannyumako, bwe yali ajjukira ekiseera kino eky’obulamu bwe, “okuwulira omuntu yenna ayogera obubi ku papa.” Wylie, b. 13, ch. 2. Nga takoowa kutendereza batukuvu okwetoloola amakanisa ga Bufalansa yenna ng’ali wamu ne Lefevre, mu kusinza n’okubatonera ebirabo eyo ku biggwa byabwe. Naye mu bino byonna teyafunira mmeeme ye mirembe. Nga ne bwe yebonereza atya, ekibi kisigala kimulumiriza era ng’okwebonereza tekumalaawo kibi. Bwatyo n’awuliriza ebigambo by’Omuzza w’ekkanisa obuggya ng’eddoboozi eriva mu ggulu: “Obulokozi butuweebwa lwa kisa.” “Ataalina musango, yasingisibwa omusango, ate omuzzi w’emisango n’ateebwa.” “Omusalaba gwa Kristo gwokka, mwe muli ekkubo okuyingira enzigi z’eggulu, era ne guggala enzigi z’emagombe.” - Ibid., b. 13, ch. 2.EE 135.1

    Farel yasanyukira amazima. Naakyusibwa okufaanana nga ne Pawulo bwe yasumululwa okuva mu busibe bw&pos;obulombolombo okudda mu ddembe eriweebwa abaana ba Katonda. “Nga mukifo ky’okuba n’omutima ogw’obussi ogufaanana n&pos;omusege ogusikula,” naakomawo, bw’agamba, “n’afaanana omwana gw’endiga omuteefu, omutima gwe naagujja ku papa, bwatyo naaguwa Yesu Kristo.” D’Aubigne, b. 12, ch. 3.EE 135.2

    Eno nga Lefvre bw’agenda mu maaso n’okutegeeza omusana eri abayizi be, Farel ye yagenda kutegeeza bantu mazima mu lujjudde mu maanyi aga Kristo okufaanana ne bwe yali ewa papa. Eno omukungu omu mu kkanisa y’e Luumi, omulabirizi w’e Miyukusi, gye yabegattirako. N’abasomesa abalala mu buyivu obwenjawulo ne baagendanga nga babeegattako mu kutegeeza amawulire amalungi, era abantu bangi abeebiti eby’enjawulo, omuli abantu baabulijjo n’okutuuka mu mbiri za bakabaka ne bakkiriza amazima. Mwannyina wa kabaka Francis I, eyali afuga obwakabaka mu kiseera ekyo, naye nakkiriza enjigiriza eno empya. Ne kabaka awamu ne nnamasole olumu ne balabika ng’abasanyukidde amazima, bwebatyo abazza b’ekkanisa obuggya ne beesunga okulaba nga Bufalansa yenna akyusibwa enjiri.EE 135.3

    Naye essuubi lyabwe teryali lya kutuukirira. Anti ng’okugezesebwa n’okuyigganyizibwa bibalindiridde. Naye Katonda mu kisa kye n&pos;atakibabikkulira. Baweebwa ekiseera eky’emirembe bayinze okuddamu amaanyi basobole okusisinkana ebizibu; era omulimu ne gukulakulana nnyo nnyini. Omulabirizi w’e Miyukusi n’akola nnyo mu bulabirizi bwe nga bw’ayigiriza abasumba be awamu n’abantu. Abasasedooti abatalina kye bamanyi awamu n’abatalina mpisa ne bagobebwa, era we babadde n’afuba okuzzaayo abo abayivu era abalina omwoyo. Omulabirizi n’ayagaliza nnyo abantu be buli omu okwefunira ekigambo kya Katonda, era ne kituukirizibwa. Lefvre n’asalawo okuwuunula Endagaano Empya eya Bayibuli; era mu kiseera kyennyini Bayibuli ya Luther gye yakyusa mu Lugirimaani ng’efulumizibwa mu kyapa e Wittenberg, n’Endagaano Empya mu Lufalansa yali esasaanyizibwa e Miyukusi. Omulabirizi teyesigaliza kyonna kisoboka okugibunyisa wonna mu bisomesa bye, bwebatyo e Miyukusi, abanaku ne beefunira Ebyawandiikibwa Ebitukuvu.EE 135.4

    Ng’abatambuze abazikirira olw’okulumwa ennyonta ey’amazzi bwe basanyukira ensulo ey’amazzi amalamu, n’emyoyo gino bwe gy’asanyukira obubaka okuva mu ggulu. Abalimi, n’abakozi mu ngeri ez’enjawulo ne beesanyusanga nga boogeraganya n’amazima ga Bayibuli wakati mu mirimu gyabwe. Buli kawungeezi, ne bakuņņaaniranga mu maka ga bannaabwe okwesomera ku kigambo kya Katonda, okusaba n’okutendereza, mukifo ky’okudda mu binywero by’omwenge. Enkyukakyuka nnene ne zeeyoleka mu bantu. Amaanyi ag’ekisa kya Katonda ne galabikira ku bantu bano nga basituliddwa era nga bakyusiddwa, newakubadde nga be bantu ab’omutindo ogwa wansi, abatali bayivu kyokka nga bakozi. Ne bayimirirawo ng’abajulizi b’enjiri ky’ekola mu bulamu bw&pos;oyo agyanirizza mu mazima, nga bajjudde okwagala, abawombeefu era abatukuvu.EE 136.1

    Omusana ogwamulisibwa e Miyukusi ne gutuuka wala nnyo. Abaakyukanga ne beeyonerangako buli lunaku. Ekiruyi kya Luumi nga kikyaziyiziddwa kabaka eyali takkiririza mu busosoze bwa balabirizi ba Luumi; naye oluwanyuma bamuwangula. Era mu kiseera ekyo ne bakomyawo akalabba. Omulabirizi w’e Miyukusi ne bamuwaliriza okulondawo wakati w’okwokebwa omuliro n’okukomya by’ayigiriza, bwatyo naalondawo ekkubo eryangu; naye newakubadde ng’omukulembeze yagwa, abagoberezi baasigala babywevu. Bangi ne bajulira amazima wakati mu nnimi z’omuliro. Olw’obuvumu n’obwesigwa bye baayolesa mu muliro, Abakristaayo bano bategeeza abalala nkumi na nkumi abakyalina emirembe ku bujulirwa bwabwe.EE 136.2

    Kyokka abaagumira okubonaabona n’okusekererwa olwa Kristo tebaali ba ku banaku oba abawansi bokka. Ne mu mbiri z’abakungu waaliyo abalangira abaasanyukira amazima okukira obugagga, ebitiibwa wadde obulamu. Nga mu kitiibwa ky’obwakabaka mwekweseemu abalina omwoyo omunywevu okusinga n’abo abali mu byambalo by’obulabirizi. Mu abo mwe mwali omulangira Louis de Berquin. Yali mulwanyi muzira naye eyawummulira mu lubiri, kaakano ng’asazeewo okudda mu kuyiga ebintu ebyenjawulo, era nga talina kyakunenyezebwa. Omuwandiisi omu agamba nti: “Yali mugoberezi wamaanyi owa papa era atabula mu misa yonna, ... okwo nga kwatadde okukyawa mu ngeri eyenjawulo enjigiriza ya Luther.” Naye yakulemberwa ekisa kya Katonda, bwe yakizuula nga mu Bayibuli “temuli njigiriza ya Luumi, okuggyako ebyo Luther by’ayigiriza.” - Wylie, b. 13, ch. 9. Okuva awo ne yewaayo yenna eri enjiri. Tusoma nti: “Yali omu ku bayivu mu bakungu ba Bufalansa,” omugezi era omwogezi omulungi, omuvumu atatiisibwatiisibwa era omuzira assiibwamu ekitiibwa mu lubiri - kubanga yali muganzi eri kabaka - ekyo ne kimulowoozesa okuba nti ye alivaako ensi ye okudda obuggya. Beza agamba nti: “Berquin yandibadde Luther owookubiri singa yafuna okuwagirwa okuva ewa kabaka Francis I.” “Ate oyo mubi nnyo okusinga Luther,” omuwagizi wa papa bwe yamwogerako. - Ibid., b. 13, ch. 9. Abagoberezi ba Luumi e Bufalansa nga bamutya nnyo. Emirundi mingi nga bamusuula mu kkomera olw’enjigiriza ez’obulimba naye kabaka naamusumulula. Ne wabaawo okulwanagana bwekutyo okumala emyaka. Kabaka Francis naayuzibwanga wakati wa Luumi n’Abazza b’ekkanisa obuggya okutuusa Iwe yalemesebwa abalabirizi ba Luumi abakira ensolo obukambwe. Abalabirizi ba papa ne basibisa Berquin mukommera emirundi esatu miramba, naye naasumululwanga ku buyinza bwa kabaka, eyamwagala ennyo olw’amagezi ge n’okuba owempisa, era nagana okumuwaayo eri enkwe za Luumi.EE 136.3

    Berquin naalabulibwanga emirungi egy’enjawulo ku kabi akaali kamwolekedde mu Bufalansa, era naasabibwa okulabira ku abo abaamusooka bwe beewaņņangusa basobole okuwonya obulamu bwabwe. Erasmus eyamulabula yali musajja mutyi kyokka nga muyivu eyalemererwa ye mwene okwetwalira ekitiibwa ekisinga mu bulamu, okugondera amazima: yawandiikira Berquin nti: “Saba oweerezebwe nga omubaka wa Bufalansa mu nsi endala; oba tambulako ogende e Bugirimaani. Beda omutegeera bulungi - ng’alinga ensolo enkambwe lukumi, awanda obusaggwa ku buli luuyi. Abalabe bo ye ligiyoni. Byokola singa bibadde bisinga ku ebyo Yesu Kristo byeyakola, tebandiwummudde okutuusa nga bamaze okukuzikiriza. So tewesiga nnyo bukuumi kabaka bw’akuwa. Kyokka togezaako kwekiriranya na ndowooza yo ku Katonda ng’osinziira ku byeŋŋambye.”- Ibid., b. 13, ch. 9.EE 137.1

    Kyokka Berquin yeyongeramu bweyongezi maanyi akabi bwe keeyongera okweyoleka. Era bwe yamala okuteeka mu nkola amagezi agamuweebwa Erasmus, n’amalirira nate okubaņņanga. Wano teyakoma ku kulwanirira mazima kyokka, naye era yabasomozanga. Emisango egy’okuyigiriza enjigiriza ez’obulimba Abaluumi gye baali bamusibako, okwo naye kweyenywereza. Era mu abo abaali abakaawu okukira omususa mu kumuwakanya mwe mwali n’abasasedooti abayivu awamu ne ba dokita okuva mu kitongole ky’ebyeddiini mu ssettendekero enkulu mu kkanisa, mu kibuga Paris era ne mu ggwanga. Berquin naalondoba mu biwandiiko by&pos;abayivu bano ensonga kkumi nabbiri, ezaali “zikubagana empawa ne Bayibuli era nga zaabulimba” ze yavumirira mu lujjudde; kwe kujuliza kabaka ataawulule empaka.EE 137.2

    Naye kabaka olw’obutayagala kweyingiza mu mpaka zaabwe, kyokka nga musanyufu olw’okubanga amalala g’abalabirizi ba Luumi gagenda kukakkanyizibwa, kwe kusaba Abaluumi beerwaneko nga bajuliza mu Bayibuli. Naye bo nga bamanyidde ddala nti ekyokulwanyisa kino tekirina we kibatwala; wabula okusiba abantu mu makomera, okubabonyabonya, n’okubookya omuliro nga bye byokulwanyisa bye bategeera obulungi. Entebe ne zitegekebwa, naye bo ne beesanga nga bagenda kugwa mu bunya mwe baasuubira Berquin okugwa. Buli omu naatunula ku mune nga basobeddwa anti nga banoonye obuddukiro.EE 137.3

    “Mu kiseera ekyo kyennyini, nc kitegeerebwa nti ekifaananyi kya Maliyamu ekyali kisimbiddwa ku lumu ku nguudo z’ekibuga, kyali kyonooneddwa.” Ne wabaawo akajagalalo mu kubuga. Abantu bangi ne beeyiwa mu kifo ekyo okulaga okunyolwa kwabwe n’obusungu. Ne kabaka naatabulwa. Abalabirizi ba Luumi ne bagukozesa ng’omukisa era ne basalawo babeeko kye bakola mu bwangu. “Mazima bino bye bibala ebiva mu njigiriza za Berquin,” bwe babatyo bwe baayogerera waggulu. “Kaakano abagoberezi ba Luther bagenda kwekobaana boonoone byonna - eddiini, amateeka, ne nnamulondo yennyini.” - Ibid., b. 13, ch. 9.EE 137.4

    Berquin yakwatibwa nate. Kabaka naasegulira ekibuga Paris, n’abalabirizi ba Luumi ne beekola kye baagala. Bawozesa Berquin era ne baamusalira n’ogw’okuttibwa, era ne kikolebwa mu bwangu anti ekibonerezo kyamuwerwawo ku olwo Iwennyini si kulwa nga kabaka Francis amuwonya nate. Awo mu ssaawa ez’omu ttuntu Berquin n’atwalibwa mu ttambiro. Enkuyanja y’abantu n’ekuŋŋaana okwerabira ku bikulu, era bangi ne beewunya nga tebakkiriza nti agenda okuttibwa wa mu lulyo lulangira mu Bufalansa era omusajja omuzira. Ekibiina ky’abantuEE 137.5

    ne kyewunya wakati mu busungu n’okwekyawa; naye nga tebayinza kukiraga ku maaso gaabwe. Byo ebirowoozo by’omujulizi nga biri wala nnyo okuva ku mbeera eyaliwo mu kiseera ekyo; ebirowoozo bye nga birowooreza mu kubeera mu maaso ga Mukama we.EE 138.1

    Teyayinza kussa mwoyo ku kigaali kye yalinnya okugenda okumutta, wadde okulaba emitaafu egyali gyetimbye mu maaso g’abamuyigganya, oba okulowooza ku nfa gy’agenda okufaamu; wabula ku Oyo amuli ku lusegere - omulamu eyali afudde, era omulamu emirembe gyonna, alina ebisumuluzo by’okufa n’emagombe. Obwenyi bwa Berquin ne bwakayakana n’ekitangaala ko n’emirembe okuva mu ggulu. Yali ayambadde bulungi, mu “kaanzu eyakolebwa mu pamba omugonvu.” - D’Aubigne, History of the Reformation in Europe in the Time of Calvin, b. 2, ch. 16. 2. 01 wo ng’anatera okuyimirirawo ng’omujulizi olw’okukkiriza mu maaso ga Kabaka wa bakabaka ng’ensi yerolera, nabwekityo nga tayinza kunyiikaala.EE 138.2

    Oluseregende Iw’abantu nga lugenda luyita mu nguudo z’ekibuga, beewuunya okumulaba nga yenna ajjudde emirembe n’essanyu ery’obuwanguzi. Baagamba nti: “Alinga atudde mu yeekaalu era afumiitiriza ku by’omu ggulu byokka.” - Wylie, b. 13,ch. 9.EE 138.3

    Ng’asibiddwa ku muti kw’agenda okwokerwa omuliro, Berquin yafuuba ayogereko eri abantu abaali bakuŋŋaanye; naye abalabirizi ba Luumi olw’okutya ebiyinza okuvaamu, ne bawogganira waggulu, ko n’abaserikale okukubaganya ebitala byabwe, eddoboozi lye ne lisaanikirwa. Bwebatyo abakulu era n’abobuyinza mu kkanisa abaali abayivu mu kibuga Paris mu mwaka 1529 “bwe baateekawo ekyokulabirako ekitaalaga mpisa eri abantu abaaliwo mu mwaka 1793 obutakkiriza agenda kuttibwa kwogera bigambo bye ebisembayo.” - Ibid., b. 13, ch. 9.EE 138.4

    Berquin yataagulwataagulwa era omubiri gwe ne gusaanyizibwawo omuliro. Amawulire g’okufa kwe ne ganakuwaza nnyo mikwano gye abaayagala okuzza obuggya ekkanisa okwetoloola Bufalansa yenna. Naye ekyokulabirako kye tekyerabirwa. “Naffe tuli beetefuteefu okufa n’akamwenyumwenyu, nga twolekezza amaaso gaffe eri obulamu obujja.” Omulala bwe yawulirwa ayogera. - D’Aubigne, History of the Reformation in Eroupe in the Time of Calvin, b. 2, ch. 16.EE 138.5

    Mu kiseera abakkiriza Iwe baayigganyizibwa e Miyukusi, bammibwa n’olukusa okubuulira, era ne bagenda nga basaasaanira mu bitundu ebirala. Farel ye yadda mu kitundu ky’ewaabwe gy’azaalibwa mu kabuga akali mu buvanjuba bwa Bufalansa, gy’aba asaasaanyiza omusana. Kyokka amawulire g’ebyo ebyali bigenda mu maaso e Miyukusi, awamu n’amazima ge yayigirizanga awatali kutya, baali bamaze okugafuna. Era mangu nnyo abobuyinza ne basituka nate okumusirisa, era bwatyo ne bamugoba ne mu kibuga. Naye newakubadde nga yali takyayigiririza mu lujjudde, yatambulanga mubyalo ne mu nsozi, ng’ayigiriza abantu mu maka gaabwe ne mu bifo ebYesudde nga batudde ku muddo, eyo wakati mu bibira era ne mu bunnya obuli wakati mu njazi, gye yatambuliranga mu buto bwe. Kituufu, Katonda yali amuteekateeka olw’okugesebwa okusingako. “Okugezesebwa, okuyigganyizibwa n’enkwe za Setaani, bye nnalabulibwako, bikyali,” bw’agamba; “era bikambwe na nnyo okusinga ne bwe nyinza; naye Katonda ye Kitange; abadde ampa amaanyi ne nnyinza era wakugampa nga nneetaaga.” - D’Aubigne, History ofthe Reformation of the Sixteenth Century, b. 12, ch. 9.EE 138.6

    Era nga bwe kyali ne mu biro by’abatume, okuyigganya kwajja “lwa kubunya bubunya njiri.” Baf. 1: 12. Bwe baagobwa e Paris ne Miyukusi, “awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.” Bik. 8: 4. Omusana bwegutyo ne gutuuka ne mu masaza ga Bufalansa agesudde.EE 139.1

    Katonda yali akyabateekateeka basobole okwongerayo omulimu gwe mu maaso. Mu gamu ku masomero ga Bufalansa waalabikayo omuvubuka ajjudde amagezi n’okutegeera eyalabikamu ekirabo eky’enjawulo, nga taliiko kya kunenyezebwa wabula okwagala ennyo Katonda. Essomero lyamwagala olw&pos;okuyitimuka mu magezi n’okweyisa obulungi, era naasuubirwa nti John Calvin yandiba owenjawulo mu kulwanirira ekkanisa ya Luumi. Naye omusana gwa Katonda gwayita mu bisenge by’amagezi g’okusoma n’obusamize bwa Luumi ebyali bimuzumbiddwako. Kwe kuwulira enjigiriza empya wakati mu kutya, era naatasobola na kwewunya Iwaki abayigiriza enjigiriza eno baasiima ne bookebwa n’omuliro. Kyokka mu butali bugenderevu, yasisinkana amaaso n’amaaso n’abayigiriza aboobulimba n&pos;awalirizibwa okulwanyisa enjigiriza y’Obupulotestanti ng’akozesa enjigiriza ya Luumi.EE 139.2

    Ku olwo kizibwe wa Calvin eyali yakakyuka okwegatta ku bazza b’ekkanisa obuggya yali mu kibuga Paris. Abooluganda bano bombi ne basisinkananga okunyumya ku nsonga ezaali zitabula Obukristaayo. “Waliwo eddiini za mirundi ebiri mu nsi,” 01ivetani Omupulotestanti bwe yayogera. “Eddiini emu yo yagunjibwa bantu, nga mu yo, omuntu yeyelokola yekka okuyita mu mikolo gy’eddiini n’okukola ebikolwa ebirungi; kyokka yo endala ye yo esibuka mu Bayibuli, era eyigiriza abantu okunoonya obulokozi okuyita mu kisa kya Katonda kyokka.”EE 139.3

    “Siyinza kukkiriza njigiriza zo zino.” Calvin bwe yakaayana, k‘era olowooza ebbanga lino lyonna mbadde mu nsobi?” - Wylie, b. 13, ch. 7.EE 139.4

    Naye ng’ebirowoozo bye bimaze okuzuukusibwa, kyatakyayinza kusangulawo. Yafumiitiriza ku bigambo bya kizibwe we bweyali ng’azzeeyo eka mu kisenge kye gyasula. Yawulira ekibi nga kimulumiriza; ne yeeraba ng’ayimiridde mu maaso g’omulamuzi omutukuvu era omwenkanya, wabula nga talina amuwolereza. Okuwolereza kw’abatukuvu, ebikolwa ebirungi, n&pos;emikolo gy’ekkanisa, nga byonna tebiyinza kutanga olw’ekibi ekyayingira mu muntu. Era nga kyalaba, kye kizikiza ekikutte awatali ssuubi emirembe gyonna. Abayivu mu kkanisa y’e Luumi ne bafuba okukkakkanya obweralikirivu bwe naye nga buterere. Ne yebonereza nga kwotadde n’okwatula ebibi, naye nga tebikola; nga tebiyinza kutabaganya mwoyo gwe ne Katonda.EE 139.5

    Bwe yali ng’akyali mu mbeera eno ey’olutalo omutaava bibala, naakwatibwa omukisa olunaku lumu, n’agendako mu kifo abantu gye bawummulira, naalaba nga bwebookya oyo eyava ku kkanisa y’e Luumi. Ne yeewuunya nnyo okumulaba nga yenna ajjudde emirembe ku maaso ge. Omujulizi yalaga obuvumu n’okukkiriza wakati mu kubonyabonyezebwa ennyo olw’ekibonerezo ky’okuttibwa ekyali kimusaliddwa ekkanisa y’e Luumi, Calvin nnalumwa mu mwoyo gwe bwe yegerageranya n’embeera gy’alimu okuba nga ye muwulize nnyo eri ekkanisa kyokka ng’ate ye talina mirembe. N’ajjukira nga abaawaba bano okukkiriza kwabwe bakusimbye ku Bayibuli. Naamalirira okugiyiga, era azuule oba nga kiyinzika, ekyama ky’essanyu lyabwe.EE 139.6

    Yazuula Kristo mu Bayibuli. “Oo Kitange,” bwe yawowogana, “Ssaddaaka ye yekkakkanya ekiruyi kye; Omusaayi gwe gwegunaaza obubi bwange; Omusaalaba gwe gwegwetikka ekikolimo kyange; Okufa kwe kwekwantangirira. Twegunjiza engeri z’okulokolebwa naye omutali makulu, kyokka laba bw’otadde ettabaaza ey’ekigambo kyo mu maaso gange, era omulisizza mu mutima gwange nsobole okukyawa byonna naye neetwalire Yesu.” - Martyn, voI. 3, ch. 13.EE 140.1

    Calvin yali asomerera busasedooti. Era bweyali aweza emyaka egy’obukulu kkumi neebiri, naalondebwa okuba omusomesa w’eddiini mu emu ku kkanisa entono, nga n’omutwe gwe omulabirizi yalagira gumwebweko enviiri ng’amateeka g’ekkanisa bwe galagira. Yali tannayawulibwa, wadde okutuukiriza obulombolombo bw’omusasedooti, naye naalondebwa okutuula ku lukiiko lw’abalabirizi olw’ekifo kye era ng&pos;afuna n’obusiimo obugenderako.EE 140.2

    Kaakano ng’ategedde munda mu ye nti takyabadde musasedooti, kwe kukyusa asomerere obwa pulida, kyokka oluvannyuma nabwo naabuvaako bwatyo naawaayo obulamu bwe eri enjiri. Naye nga tawulira mirembe kubeera musomesa. Mu butonde bwe yali wansonyi, era ng’awulira omugugu gw’obuvunaanyizibwa oguba gumutikkiddwa, kwe kusalawo agire ng’akyasoma. Wabula mikwano gye abaamwetayirira, baamala ne bamuwangula. “Kyewainyisa,” bwe yagamba, “okulaba nga omuntu atalina bw’ali naye asitulibwa okutuuka ku kitiibwa kino.” - Wylie, b. 13, ch. 9.EE 140.3

    Yatandika omulimu mu kasirise era nga n’ebigambo bye biriinga omusulo bwe gufukirira ensi okugizza obuggya. Mu kiseera kino yali avudde e Paris ng’abeera mu kabuga akali mu ssaza eritwalibwa omumbejja Margareti, oyo olw’okwagala ennyo enjiri, ng’awa n’obukuumi abayigirizwa. Calvin yali akyali mbulakalevu, omuteefu era nga tannayingirwamu malala. Omulimu yagutandikira mu bantu b’ewaabwe. Naasomeranga abantu abamwetoloode Bayibuli n’okubabikkulira amazima g’obulokozi. Nabuli eyawuliranga obubaka naategezaako abalala ku mawulire amalungi, era mangu nnyo omusomesa ono, naategeerwa okusukka ekibuga okutuuka mu bubuga obwetolooddewo era ne mubyalo. Ng’ayingira mu mbiri z’abakungu era ne mu nju z’abakopi, bwatyo naagendanga ng’asima emisingi gy’ekkanisa eyali ey’okuyimirirawo okujulira amazima awatali kutya.EE 140.4

    Mu myezi mitono ddala yali azeeyo mu kibuga Paris. Anti nga n’abayivu batandise okwebuuza gye yabulira. Abantu olw’okwagala okuyiga ennimi ezedda, beesanga batuuse ne mu Bayibuli, era bangi abaali tebannakwatibwako mazima agali mu yo ku mitima gyabwe, ne baagala nnyo okugikubaganyako ebirowoozo ekintu ekyakaluubiriza ennyo abayivu ba Luumi. Kyokka newakubadde nga Calvin yali asobola nnyo okwetaba mu mpaka zino ez’ebyeddiini, yazeewala olw’okubanga yalina ekigendererwa ekyawaggulu okusinga bano abaasalawo okulekaana n’abasomi. Ebirowoozo by’abantu nga bisituse era nga kino kye kiseera okubabikkulira amazima. Eno ng’ebisenge bya ssettendekero bwe bijjuziddwa n’abantu abali mu mpaka z’ebyeddiini, Calvin yali atambula nnyumba ku nnyumba, nga bw’abikkulira abantu Bayibuli, n’okubategeeza ku Kristo eyakomererwa.EE 140.5

    Katonda mu kisa kye, yakkiriza ekibuga Paris okuddamu okukyalirwa kyetwalire ku mawulire amalungi. Okuyita kwa Lefvre ne Farel tebaakukkiriza naye ng’obubaka bwakuwulirwa eri abantu abenjawulo mu kibuga kino ekikulu. Ebyobufuzi ngaEE 140.6

    bikyakwatiridde kabaka okusalirawo ddala oba adda ku luuyi lwa Luumi alwanyise omulimu gw’Okuzza Obuggya ekkanisa. Ate eno omumbejja Margareti ye nga yenywerezza ku ssuubi nti luliba olwo Obupulotestanti ne buwangula mu Bufalansa. Omumbeju&pos;a yasalawo nti enjigiriza eno empya ebuulirwe mu kibuga Paris. Era mu kiseera nga kabaka taliiwo, yayita omusumba w’Obupulotestanti agende abuulire mu makanisa agali mu kibuga Paris. Yaggula enzigi z’olubiri newakubadde nga kino kyali kyawerebwa aboobuyinza ewa papa. Baatekawo ekizimbe mu bwangu okukola ng’ekkanisa, era ne balangirira nti buli lunaku wajja kubangawo okusinza mu kiseera ekigere, bwe batyo ne bayita abantu ab&pos;engeri ez’enjawulo ne mu bitiibwa eby’enjawulo okubeerangawo. Enkuyanja y’abantu ne yeyiwanga mu kusinza. Ne bajyuza so si kkanisa yokka naye era n’ebisenge ebyakookerwa ku yo. Nkumi na nkumi ne bakuņņaananga - omuli abakungu, abafuzi, bapuliida, abasuubuzi n’abakozi ab’engeri ez’enjawulo. Kyokka kabaka mu kifo ky’okuwera enkuņņaana, ate yalagira bulagizi n’ekkanisa endala bbiri mu kibuga Paris nazo ziggulibwewo. Ekibuga ne kinyenyezebwa ekigambo kya Katonda nga tekibangawo. Omwoyo w’obulamu okuva mu ggulu ng’alabika afukiddwa ku bantu. Obutamiivu, obugwenyufu, ennyombo n’ebbula bikolwa, ne bisikirwa, okwegendereza, obulungi, empisa, n’abantu okuba abakozi.EE 141.1

    Kyokka nga obwapapa tebutudde. Ne kabaka ne yeerema okuyingirira ababuulizi nti abayimiriza, bwebatyo ne bakyukira abantu. Ne bafuba nnyo okubatiisatiisa olw’okubanga tebalina kye bamanyi era nga bwe babagamba bakyawe abakyufu awatali nsonga. Ekibuga Paris ne kyewaayo mu buzibe bw’amaaso eri abayigiriza bano aboobulimba okufaanana ne Yerusaalemi owedda, bw’ataamanya kiseera eky’okukyalirwa kwe wadde okumanya ensibuko y’emirembe gye. Enjiri yabuulirwa okumala emyaka ebiri mu kibuga; naye newakubadde nga waaliwo bangi abaagikkiriza, abasinga obungi baagigaana. Francis ng’ataddewo kiguumaaza ekyakalembereza, lwa kwagala kutuukiriza bigendeerwa bye, era n’obwapapa ne bweddiza obuyinza okweffuŋŋamya ku bantu. Amakanisa ne gaddamu okuggalwa, era n’okwokera abantu ku miti ne kuzzibwaawo buggya.EE 141.2

    Olwo Calvin ng’akyali mu kibuga Paris, ayiga kigambo kya Katonda n’okusaba, olw’okweteekerateekera obuweereza obw’omu kiseera ekijja, era nga bw’ayongera n’okubunyisa omusana. Kyokka yafuna okutya mu mutima. Anti ng’aboobuyinza bamaliridde okumwokya omuliro. Yasuubira nti ye olw’okuba mu kigo, oba oli awo, talina kabi kayinza kumutuukako, kyokka mikwano gye ne bajja mbiro mu kisulo kye okumutegeeza nga abaserikale bwe bamunoonya okumukwata. Era mu kiseera ekyo kyennyini, ne bawulira abakonkona ku luggi olwebweru. Tebaayinza kulonzalonza. Abamu ku mikwano gye badda ku luggi ne balemesa abaserikale okuyingira ate eno abalala nga bwe bamussiza mu ddirisa emanju w’ennyumba ye, era bwatyo n’abomba ne yeekweka ku njegoyego z’ekibuga. Yasooka kwekweka mu nnyumba ya mukwano gwe eyali omulimi, era ne yeebuliza mu ngoye ze, n’ayambalira enkumbi ye n’atambula okweyongerayo. Yatambula akiikirira ng’adda ebukiika ddyo okutuusa Iwe yatuuka mu matwale g’omumbejja Margaret. (Soma D’Aubigne, History of the Reformation in Eroupe in the Time of Calvin, b. 2, ch. 30.)EE 141.3

    Eno yamalayo emyezi si mingi nnyo, nga akuumiddwa mikwano gye, kyokka era ng’ali mu kuyiga kigambo kya Katonda era nga mu kusooka. Wabula ng’awuliraEE 141.4

    okulumirizibwa mu mutima gwe olw’okutegeeza amawulire amalungi Bufalansa yenna, era teyakkiriza kusigala ng’atudde butuuzi. Amangu ddala ng’omuyaga gumaze okukakkana, yanoonya ekifo ekirala gy’ayinza okuweerereza eyo mu kitundu ekiyitibwa Poiters, awaali ssettendekero era n’ebirowoozo by’abasinga obungi gye byali bisonze. Abantu ab’engeri ezenjawulo ne bawulirizanga enjiri ne ssanyu lingi. Teyayiinza kubuulirira mu Iwatu, wabula mu maka g’omukulu w’ekibuga, oba eyo gy’asula, era n’emirundi egimu mu bifo abantu gye bakuņņaanira mu kibuga. Bwatyo Calvin n’ategeeza ekigambo eky’obulamu obutaggwaawo eri abo bonna abakkiriza okukiwuliriza. Oluvannyuma ng’omuwendo gw’abawuliriza gweyongeddeko, baakirowooza nga kirungi okufuna ekifo ebweru w’ekibuga gye baba bakuņņaaniranga. Baafuna empuku eyali wakati mu Iwazi ng’ebikkiddwako emiti emiziyivu n’enjazi okufaanana n&pos;ennyumba ewedde, ne bakuņņaniranga omwo. Abantu mu bubinja obutonotono ne batambulanga nga bayita mu makubo ag&pos;enjawulo okwolekera ekifo ekyo. Bayibuli n’esomebwanga mu ddoboozi ery’omwanguka awamu n’okuginnyonnyola nga bali mu kafo kano akeekusifu. Era mu kifo kino, Abapulotestanti be Bufalansa we baakwatira embaga ya Mukama waflfe omulundi gwabwe ogusooka, era ne baweerezanga n’ababuulizi abeesigwa bangi okuva mu kakanisa kano akatono okugendanga okubuulira.EE 142.1

    Nate era Calvin yakomawo e Paris. Anti nga tannaggwamu ssuubi nti Bufalansa ng’eggwanga lyakukkiriza nalyo Okudda Obuggya. Kyokka bambi bwe yakomawo teyafuna mukisa gwa gukola gwonna. Nga bw’adda mu kuyigiriza enjiri, aba yeetwala yekka mu kwokebwa muliro, era bw;atyo naamalirira okuddukira e Bugirimaani. We yaviira e Bufalansa, omuyaga gw’okuyigganya Abapulotestanti ogutaali mungi, gwabaluka nate nga singa yasigalayo, naye yandibadde azikiridde.EE 142.2

    Anti Abazza b’ekkanisa Obuggya Abafalansa, baamalirira okukuba ekkonde ewannyuma obusamize bwa Luumi n’ensi yonna eyuguume, nga baagala baafanane banaabwe ab’e Bugirimaani ne Buswedi. Era mu kiro kimu kyokka, baatimba obupande obuvumirira misa okwetoloola Bufalansa yonna. Kyokka mukifo ky&pos;okuba nga omulimu gutwalibwa mu maaso, ekikolwa kyabwe eky’okutalowooza, kyabaleetera kuzikirira, si ku abo bokka abaabawa amagezi n’abaasasaanya obupande, naye era n’eri abaayagalizanga obulungi omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya mu Bufalansa yenna. Luumi yatuuka ku kye yali yayagala edda - okwewolereza ng’eyagala okuzikiriza abagivaako nti be balabe b’eddembe n&pos;emirembe ebiri mu ggwanga awamu ne nnamulondo.EE 142.3

    Oba bwali butanwa oba mu bugenderevu okuyita mu mulabe, tewali yayinza kumanya - anti baatimba akapande ku luggi lwa kabaka gy’asula. Kabaka n’ajjula entiisa. Bawaandiika ku kapande kano nga bavumirira obusamize obubadde businzibwa okumala emyaka n’ebisiibo awatali kusaasira. Kabaka n’asunguwala nnyo nnyini olw’engeri gye baavumirira okwefurŋŋamya n’ejoogo ebitalabwangako nga bwe byegirisiza mu lubiri. Naayimirira nga yewuunya okumala akaseera n’ebigambo ne bimubula. Kyava abwatuka ng’eggulu nti: “Bonna bakwatibwe awatali kutaliza kavuna babeeramu endowooza ya Luther. Nja kubasaanyizaawo ddala bonna.” - Ibid., b. 4, ch. 10. Kabaka ng’olwo asudde akalulu ke. Yamalirira okudda ku ludda Iwa Luumi.EE 142.4

    Ne bakola entekateeka okukwata n’okusiba buli yenna akkiririza mu LutherEE 142.5

    mu kibuga Paris. Baakwata omu ku bagoberezi b’enjigiriza eno empya, bambi eyali amanyidde okukunga abakkiriza bagende mu kifo kyabwe ekyekyama okukuŋŋaana, nga bamutiisatiisa n’okuttibwa ng’ayokebwa n’omuliro, wabula ng’atute omubaka wa papa mu buli maka g’Omupulotestanti yenna ali mu kibuga. Yagwerera yenna olw’entiisa bwe yafumiitiriza ku kye bamugambye, era olw’okutya omuliro, nnakkiriza okulyamu olukwe baganda be. Ne bayita mu nguudo z’ekibuga ng’akulembeddwa omubaka, awamu n’oluseregende Iw’abasasedooti, abaweereza ku kituuti, abaserikale ne Morin mbega omukulu. Ng’olwo mbu beerimbise mu kulwanirira “Esakalamentu Entukuvu,” okugijjako ekivume ekyagikolwako abeekalakaasi. Naye nga mu bo mwekweseemu malayika w’okufa. Nga batuuse mu maka g’omu ku bagoberezi ba Luther, omukwate naakola akabonero naye tewaali kigambo kyayogerwa. Bonna beeyiwa ku nnyumba, ne baggula enzigi zonna, abeenju eyo ne bakwatibwa bonna, ne basibwa enjegere, ne beeyongerayo okukwata nate abalala. “Tebaayinza kutaliza nnyumba yonna, oba ya mukungu wadde omukopi, si nsonga bali mu ssettendekero enkulu mu Paris.... Morin yanyeenya ekibuga kyonna nga musisi.... Mazima baatugira abantu mu ntiisa.” - Ibid., b. 4, ch. 10.EE 143.1

    Abakwate ne battibwa mu ngeri ey’obukambwe ennyo, anti baalagira omuliro guleme kuba mungi balyoke bafe nga babonyebonye ekimala. Kyokka baafa ng’abawanguzi. Okukkiriza kwabwe nga tekunyenyezeddwa, era wakati mu mirembe. Ababaayigganyanga ne bawulira nga bo be bawanguddwa olw’obutayinza kukyusa bugumu bwabwe. “Obulabba kwe baayokerwanga ne busasaanyizibwa wonna mu kibuga Paris, ne babookya omuliro mu nnaku ezoomudiriņņanwa, ng’ckigendererwa kwekuteeka entiisa ku bantu abayigiriza ebyobulimba nga battibwa bookebwa omuliro. Naye newakubadde nga kyali bwekityo, ababuulizi b’enjiri bebafunamu. Anti ekibuga kyonna kyayinza okutegeera amaanyi g’enjiri kyegakola mu muntu naddala mu njigiriza eno empya. Tebalina kwe bayinza kusinziira nti oba oli awo kwe bandirabidde. Naye essanyu n’emirembe ebyalabikiranga ku maaso gaabwe nga batwalibwa... okutuuka mu kifo we bagenda okuttirwa, obuvumu n&pos;obuzira bye baayolesa wakati mu nkoomi z’omuliro, engeri gye baasonyiwangamu abo ababalumyanga, byakyusa abantu si batono, awabadde essungu ne wadda okusaasira, okwagala ne kudda mu kifo kyobukyayi, abantu ne babalajaanira obutakoowa ku lw’enjiri.” - Wylie, b. 13, ch. 20.EE 143.2

    Abasasedooti ne bamalirira okumalira essungu Iwabwe ku bantu, nga bawayiriza Abapulotestanti. Abapulotestanti baajwetekebwako emisango gy’okwagala okutugumbula Abakatoliki, okusuula gavumenti n&pos;okwagala okutta kabaka. Naye nga tebayinza wadde okuleeta obujulizi bwonna obubaluma. Wabula obunnabbi bw’omubi bwalina okutuukirizibwa; naye nga butuukirizibwa mu ngeri ezitali zimu, era ne abantu bebatasuubira. Obukambwe obwatuusibwa ku Bapulotestanti abatalina musango nga bubakolebwako Abakatoliki bwasukka anti nabo baabusasulira, era oluvannyuma Iw’ebyasa by’emyaka, okuzikirira okwamangu kwabatuukako nga kuleetebwa abakaafiri n&pos;abagoberezi ba papa okutuukiriza bye baayogera nti bagenda kutugumbulwa, ko ne kabaka awamu ne gavumenti. Era okuzikirira kuno okwatuuka ku ggwanga lya Bufalansa oluvannyuma nga wayiseewo emyaka bisatu tekwajja Iw’akuba nti Obupulotestanti bwatondebwawo, naye Iwakubanga bwanyigirizibwa.EE 143.3

    Omuntu okwekengera muntu munne, obuteesigaņņana n’entiisa ne bibuna ku buliEE 143.4

    mutendera gwa bantu. Naye newakubadde kyali bwekityo, ensi yayinza okulaba engeri enjigiriza ya Luther bwe yasobola okunywera mu birowoozo by’abantu abayivu, abamanyifu era ab’omutindo ogwa waggulu. Ebifo eby’obuvunanyizibwa era eby’abantu abamaanyi ne bisigala ttayo, anti, abakozi b’emirimu, abakuba ebitabo, abayivu, abakenkufu mu zi ssettendekero, abawandiisi b’ebitabo, awamu n&pos;abakuumi mu mbiri, badduka. Era abantu bikumi na bikumi ne badduka okuva mu Paris, ne bewaņņangusa okuva mu nsi yabwe, bwekityo ne kiwa n’endowooza nti oba oli awo babadde basanyukira enjigiriza eno empya. Abakkiririza mu papa ne beewuunya nnyo nnyini okulaba abantu ababadde tebasuubirwa kuba nti baagwa nga babadde babeera wamu nabo. Bwebatyo ne bamalira essungu ku bantu abakakkamu abali mu matwale gaabwe. Amakomera gaakubako, kumpi n’obwengula bukwata ekire ky&pos;omukka okuva mu nkoomi ezaakolezebwanga okwokya omuliro abakkiriza enjiri.EE 144.1

    Kabaka Francis 1 yeenyumiririzibwamu nnyo okuba omukulembeze mu kuteekawo enkyukakyuka ezomuggundu mu magezi n’okusoma ezaatandikirizibwa mu ntandikwa y’ekyasa ky’ekkumi n’omukaaga. Yayagala nnyo okufuna abantu abayivu okuva mu buli nsi bajje mu bwakabaka bwe. Wabula mu ntandikwa, yayagala nnyo okuyiga, era mu kukyawa obutamanya awamu n’obusamize bwa Luumi, yawa nnyo ebbeetu okudda kw’ekkanisa obuggya. Kyokka omuyima w’abayivu ono, olw’okumalirira ennyo okusangulawo ye kyayita okuwaba, yateeka etteeka eriziyiza okukuba ebitabo wonna mu Bufalansa! Francis 1 ne yeyoleka yekka ng’omu ku ky’okulabirako ky’abantu abangi abalowooza nti obuyivu si bwe butangira entalo z’amadiini n’okuyigganya.EE 144.2

    Bufalansa n&pos;etekwatibwa nsonyi, bwe yamalirira okuzikiriza Abapulotestanti mu lujjudde. Abasasedooti baasaba nti Katonda ow’omu ggulu ky’ayagala kwe kuwalana eggwanga ku bawoola misa nga batanga musaayi, era nga kabaka, ayimirirawo ku lw’abantu be, alangirire omulimu gw’okutta gutandike.EE 144.3

    Omwezi ogw’olubereberye nga 21, 1535, lwe lunaku olwalondebwa okukolerako omukolo guno ogw’entiisa. Eggwanga lyonna nga lyamaze dda okuyingizibwamu endowooza y’obukyayi. Ekibuga Paris ne kikubako nasiisi w’omuntu okuva mu nsi eziriranyewo. Era ku lunaku olwo lwe nnyini, abantu baali bakutambulia mu nnyiriri mu kweteekerateekera omukolo. “Ennyumba ezaali ku makubo awaali awookuyita, zaatimbibwako engoye ez’okukungubaga, era ne bazimba n’ebituuti mu bifo ebyenjawulo.” Mu buli nnyumba nga mukumiddwamu omumuli olw’okussa ekitiibwa mu “sakalamentu entukuvu.” Abantu ne bakuņņaanira ewa kabaka ng’obudde tebunnalaba. “Basooka ne baleeta bendera n’emisalaba ebikiikirira ebigo eby’enjawulo; ne kuddako abatuuze, nga batambula kinnababirye, era nga bwe bakutte mu ngalo zaabwe emisubbaawa.” Ebibiina ebitambulizibwako endowooza y’Ekleziya ebimanyiddwa nga (friars) ne bigoberera nga buli kimu kyambadde mu ngeri y’akyo. Bazzaako ebisigalira by’abatukuvu abaali abamaanyi. Abalabirizi n’abeebitiibwa mu Keleziya ne bavaako emabega nga bambadde amaganduula gaabwe aga kakobe n’okwewunda amajolobera, nga bonna banekanekanye.EE 144.4

    “Omulabiriizi w’e Paris era eyakyaza abagenyi ye yatwalirwa mu kigaali ekitimbe obulungi ddala,... nga kiwaniriddwa ku nsonda ennya abalangira,.... Nnanyinimu ng’ayiseewo, kabaka n’agoberera... kyokka kabaka Francis l teyayambala ngule yeEE 144.5

    ku lunaku olwo, wadde ebyambalo bye eby’obwakabaka. “Omutwe gwe tegwaliko kibikako, era nga n’amaaso ge agakotese ku ttaka, era ng’akute mu mukono gwe akasubbaawa akakolezeddwa,” mazima kabaka yali “mu mbeera yakwennyamira.” - Ibid., b. 13, ch. 21. Buli lwe yatuukanga awali ekituuti, n&pos;avunnama okusinza wakati mu buswavu, kyokka si Iwakubanga akwatiddwako olw’ebikolobero byeyeyononesaamu, wadde olw’omusaayi gw’abatalina musango ogujjudde mu ngalo ze, wabula olw’ekibi ky&pos;abantu be abayaŋŋanga okuvumirira misa ne basalirwa ogw’okufa. Y’ajja agobererwa nnabakyala n’abakungu mu ggwanga, naye nga nabo batambula kinnababirye, nga buli omu akutte akasubbaawa mu mukono gwe.EE 145.1

    Kabaka yayogerako eri abakungu mu bwakabaka bwe ng’ogumu ku mukolo mu kuweereza kw’olunaku nga bali mu kisenge gaggadde eyo mu lubiri Iw’omulabirizi. Era ebigambo bye yabyogera ng’amaaso ge gajjuddc ennaku n’okukungubaga bwe yagamba nti, “olunaku olw’entiisa, olujjudde obumenyi bw’amateeka, okuwoola, olunaku olw’okukungubaga n’ensonyi,” lujjidde eggwanga lyaflfe. Kwe kuyita buli yenna akyamukirrizaamu okuyambako mu kusaanyawo kawumpuli w’enjigiriza ekyamu ezaagala okuzikiriza Bufalansa. “Bassebo, ekyamazima bw’emba nga nze kabaka wammwe,” agamba, “n’ensiŋŋaana ng’olumu ku lubiriizi Iwange luliiriddwa oba nga lulimu engeri yonna ey’ekigenge kino, nduwaayo ne mulujjamu.... Era singa nsiŋŋaana ng’omu ku baana bange aboobulenzi agwagwawaziddwa mu ngeri eyo, siyinza kumutaliza.... Muwaayo nze mwene, n&pos;aweebwayo ng’ekiweebwayo eri Katonda.” Yali akyayogera amaziga ne gaamusazaamu, n’ekibiina kyonna ne kikaaba, nga bwe boogerera waggulu nti: “Tujja kusigala nga tuli mu ddiini y’Abakatoliki era tugifiirire!” - D’Aubigne, History of the Reformation in Europe in the Time of Calvin, b. 4, ch. 12.EE 145.2

    Ekyobeera kyabikka eggwanga eryagaana okukkiriza omusana ogw’amazima. Ekisa kya Katonda “ekireetera abantu bonna obulokozi” kyali kirabise; era Bufalansa, ng’emaze okulega ku buyinza n’ekitiibwa kyabwo, nga n’abantu nkumi na nkumi bamaze okuwalulwa obulungi bwa Katonda, ebibuga n’ebyalo byonna nga bimaze okumulisibwa ekitiibwa kyabwo, ne beesalirawo, bo bwe baalondawo ekizikiza okusinga omusana. Ne bagaana okwetwalira ekirabo ky’eggulu ekyabaweebwa. Baayita ekibi ekirungi, era ekirungi ekibi, okutuusa lwe baagwa mu kyambika ky’obulimba bwabwe. Kaakano, newakubadde nga baali baalowooza nti baweereza Katonda mu kuyigganya abantu be, obunyiikivu bwabwe tebwabajjaako musango. Omusana ogw’andibalokodde okuva mu bulimba, okuva mu kusaabaanya emmeeme zaabwe n’ekibi eky’okuyiwa omusaayi, baagugaana.EE 145.3

    Balayira ekirayiro eky’okusaanyawo obulimba mu Ekleziya lutikko, gye baatuuliza Katonda omukazi ow’Okulowooza kumpi nga wayise ebyasa by’emyaka bisatu mu ggwanga eryerabira Katonda omulamu. Ebiwulu nate ne biddamu, era n’abo abaakiikirira abantu mu Bufalansa ne beteekateeka okukola omulimu gwe baalayira okukola. “Obulabba kwe baali abookwokera Abapulotestanti nga balamu bwali buzimbiddwa nga tebwesudde nnyo mabanga, era nga enteekateeka yali nti mu kiseera kabaka w’anayitirawo we babeera bakoleereza omuliro, abayitawo bayimiriremu bayinze okwerabira nga bali bwe battibwa.” - Wylie, b. 13, ch. 21. Okubonyabonyezebwa abajulirwa ba Kristo kwe baagumiikiriza kwali kwa ntiisa nnyo nnyini ebitalojjeka; kyokka okukkiriza kwabwe tekwayuzibwayuzibwa. BweEE 145.4

    baagambibwa beenenye, omu yabaddamu nti: “Nze nzikiririza mu ebyo abatume ne bannabbi bye baayogera okusooka, era ebyo abatukuvu bonna bye bakkiriza. Okukkiriza kwange kulina obwesige mu Katonda ayinza okuwakanya amaanyi g’emagombe.” — D’Aubigne, History of the Reformation in Europe in the Time of Calvin, b. 4, ch. 12.EE 146.1

    Abali mu biwulu ne bagendanga nga bayimirira buli we baabonyabonyerezanga abantu. Ebbiina ly’abantu nga lituuse mu kifo we baatandikira ku lubiri Iwa kabaka, ne basasaana, kabaka awamu n’abalabirizi ne badda eka nga bamativu olw’omulimu ogukoleddwa okuyita mu lunaku nga bwe beekulisa nti kaakano omulimu ogutandikiddwa gwa kweyongera okutuusa Iwe tulisaanyawo obulimba.EE 146.2

    Enjiri ey’emirembe Bufalansa gye yagaana, bw’eba nga mazima yali yakusangulirwawo ddala, ebyandivuddemu byandibadde bibi ddala. Nga 21 omwezi ogwolubereberye, 1793, nga wayise emyaka bibiri mu ataano mu munaana okuva ku lunaku Bufalansa lwe yamalirira eyigganye Abazza b’ekkanisa Obuggya, ebiwulu ebirala eby’enjawulo ddala mu bigendererwa, byayita mu nguudo z’ekibuga Paris. “Ne kuluno kabaka ye yali ensonga; era waaliwo akajaglalo n’okuwowogganira waggulu; era waaliwo n&pos;abalala bangi abaawulirwa nga bakaaba; waaliwo obulabba obulala obwakolebwa; era olunaku Iw’afundikirwa na biwoobe na kwazirana; Louis XVI ng’ali wakati mu bamukutte abalwanyisa olw’okwagala okumutta, era ne bamuwalawala okumutuusa ku kalabba, ne bamukwata Iwa maanyi okutuusa embazzi Iwe yamukutulako omutwe gwe ne guyiringitira ku kalabba.” - Wylie, b. 13, ch. 21. Ekyo tekyatuuka ku kabaka yekka; awo okumpi ne webattira kabaka abantu abawera enkumi bbiri mu lunaana, battirwa ku kalabba mu kiseera Iwe waaliwo Enfuga Ey’ekisibira Mu Bbwa.EE 146.3

    Ekkanisa bwe yazzibwa obuggya, ensi yaweebwa omukisa gw’okwesomera Bayibuli, n’ebiragiro ebiri mu mateeka ga Katonda ne byanjululizibwa eri abantu bayinze okubyekuuma. Okwagala Okutaggwaawo nga kubikkulidde abantu amateeka n’ebiragiro by’eggulu. Katonda yali agambye nti: “Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n’okutegeera kwammwe mu maaso g’amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab’amagezi era abategeera.” Ekyamateeka Olw’okubiri 4: 6. Bufalansa bwe yagaana okwetwalira ekirabo ky’eggulu, yeesigira yekka ensigo ezaabalamu enfuga awatali bukulembeze na kuzikirira, era n’ebyavaamu ze Nkyukakyuka n’Obufuzi Obw’ekisibira Mu Bbwa.EE 146.4

    Emabega ddala ng’okuyigganyizibwa okwasibuka ku bupande obwatimbibwa tekunnabaawo, Farel omusajja eyali omuvumu era owamaanyi yali yawalirizibwa okudduka okuva mu nsi ye ey’obuzaale. Yekwekako mu Buswedi, era n’afuba nnyo okuzaamu omulimu ogwatandikibwa Zwingili amaanyi. Era eyo gye yabeera obulamu bwe obwasembayo, kyokka nga bw’anyigiriza eggwanga lya Bufalansa likkirize ekkanisa okudda obuggya. Mu myaka gye egyasooka mu buwaŋŋanguse, yakola nnyo naddala mu kusasaanya enjiri mu nsi ye. Yabuuliranga abantu abasibuka mu nsi ye awo okumpi n’ensalo okumala ebiseera ebiwera, nga bwali obulindaala okwetegereza abakoseddwa olutalo abayambe mu kubagumya n’okubabuulirira. Era yayambibwako abantu abalala bwe baali mu buwaŋŋanguse ne bawunula ebiwandiiko by’Abazza b’ekkanisa Obuggya Abagirimaani okubizza mu Lufalansa,EE 146.5

    era ne babikuba mu kyapa nga bingi awamu ne Bayibuli ey’Olufalansa. Ababuulizi b’enjiri ab’ebitabo ne babitunda kinene nnyo mu Bufalansa. By’abaweebwanga ku muwendo ogwa wansi, era nabo bwebatyo amagoba ago ne gabayamba okwongerayo omulimu.EE 147.1

    Farel yatandika omulimu gwe mu Buswedi nga yekwese mu busomesa. Yeegatta ku ssomero eryali mu kigo gyeyekweka, bwatyo n’atandika okuyigiriza abaana. Awamu n’amasomo amalala ge yalina okuyigiriza, yagattako n’okubayigiriza amazima ga Bayibuli, ng’asuubira nti okuyita mu baana anaayinza okutuuka ne ku bazadde. Mwalimu abakkirizanga kyokka abasasedooti ne bamukomako, era ne bawaririza abantu abamanyiira obusamize bamuwakaanye. “Eyo tteyinza kuba nga yenjigiriza ya Kristo,” omusasedooti omu bwe yakaayana, “ng’alaba nti enjigiriza ye tereeta mirembe wabula ntalo.” Wylie, b. 14, ch. 3. Era ng’okufaanana n’abayigirizwa abasooka, bwe yayigganyizibwanga mu kibuga kino, naddukiranga mu kirala. Yatambulanga kyalo ku kyalo, okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala, ng’atambuza bigere, enjala n’emuluma, obunnyogovu, n’okukoowa, kyokka nga wonna yeekengera olw’obulamu bwe. Yabuuliranga mu butale, mu makanisa, oluusi n’abuuliranga mu Keleziya lutikko. Oluusi yasanganga amakanisa agamu nga temuli bantu bawuliriza; ate olulala n’aŋŋoolebwanga wakati mu kubuulira; n’olundi n’asikambulwanga lwa maanyi. Yasibwako emirundi egisukka mu gumu n’akubwa emiggo okujula okumutta. Kyokka ne yeyongerayo. Naye newakubadde nga yagobwanga, teyaggwangamu maanyi, wabula yaddangayo nate okubawakanyanga; era mpola mpola, yayinza okulaba obubuga n’ebibuga ebinene ebyabanga ekitebe ky’obwapapa, nga biggulidde enjiri enzigi okuyingira. Akabuga mwe yasookera okubuulira kakkiriza enjiri. N’ebibuga nga Morat ne Newucateli, nabyo ne byeyambulula obulombolombo bw’Abaluumi era ne bamenya n’ebifaananyi byonna eby’obusamize ebyali mu makanisa gaabwe.EE 147.2

    Farel yali yeegomba dda okutandikawo omutindo gw’Obupulotestanti mu kibuga Geneva. Nga singa ekibuga kino akiwangula, kyandibadde ntabiro mu kuzza ekkanisa obuggya mu Bufalansa, Buswedi, ne mu Yitale. Era mu kufuba okutuukiriza ekigendererwa kino, obubuga n’ebyalo ebiriranyewo yabiwangula. Bwatyo n’ayingira ekibuga Geneva ng’alina omuyambi omu. Wabula yasobola okubuulirayo obubaka bwa mirundi ebiri gyokka. Anti abasasedooti bwe baafuba ennyo okumukwata nga bayita mu b’obuyinza naye ne balemererwa, kwe kumuyita mu lukiiko lw’ekeleziya, mwe bajja naye nga bambalidde ebissi mu maganduula gaabwe, okwagala okumalawo obulamu bwe. Ate wabweru w’ekisenge mwe baasisinkanira, nga waliyo bakanywa musaayi, nga balina ebiso n’amafumu, basobole okumutta singa anaayinza okusimattuka mu lukiiko. Kyokka yawonya obulamu bwe olw’okubeerawo kw’abafuzi awamu n’amaggye agaalina ebyokulwanyisa. Era mu matulutulu enkera w’alwo, n’addusibwa mbiro awamu n’omuyambi we, ne bamusomosa nga bayita ku nnyanja okutuuka awali obukuumi. Bwatyo n’akomekkereza omulundi gwe ogwasooka okubuulira enjiri ekibuga Geneva.EE 147.3

    Ku mulundi ogwookubiri, waalondebwa omuvubuka omuto - omukakkamu era anyoomebwa newakubadde mu mikwano gy’Okuzza ekkanisa Obuggya. Naye nga mazima oyo yandikozeeki Farel gye yalemesebwa? Y’ate omuntu ono alabika ng’atalina buvumu kimala wadde obumanyi, anaayinza okuyimirirawo mu kifoEE 147.4

    abazira era abamaanyi gye baawalirizibwa okudduka? “Si lwa maanyi so si lwa buyinza, naye lwa mwoyo gwange, bw’ayogera Mukama.” Zekkaliya 4: 6. “Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ensonyi eby’amaanyi.” “Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.” 1 Abakkolinso 1: 27,25.EE 148.1

    Fromenti yatandika omulimu gwe ng’omusomesa. Era amazima ge yabuuliranga abaana ku ssomero, ne bagaddirangamu abazadde eyo eka. Bwebatyo n’abazadde ne batandika okuwulira ku Bayibuli ng’ennyonnyoddwa, okutuusa n’ebibiina by’essomero lwe by’ajjuzibwa n’abawuliriza abalala. Ebitundutundu by’Endagaano Empya awamu n’obupapula obuliko obubaka ne bigabibwanga buwa, okutuuka ku batayinzanga kujja mu lujjudde bawulire ku njigiriza eno empya. Era oluvannyuma lw’ekiseera, omukozi ono naye yawalirizibwanga okudduka; wabula ng’amazima g’ayigiriza gakutte ku birowoozo by’abantu. Omulimu gwali gutandikiddwa, ne gweyongerangamu amaanyi n’okugaziwa. Ababuulizi ne bakomawo, okusinza okw’Obupulotestanti ne kusimba amakanda mu Geneva okuyita mu kuweereza kwabwe.EE 148.2

    Ekibuga kyali kyamala dda okweyoleka mu lwatu nga bwe kyakkiriza Okuzza Obuggya ekkanisa, mu kiseera Calvin oluvannyuma Iw’okubulubuutira ebbanga eddene n’okwebuzaabuza, lwe yakiyingiramu. Yali akomawo mu kitundu ky’ewaabwe gy’azaalwa omulundi gwe ogusembayo ng’adda e Basel, bwe yalaba ng’okugenda obusimba ekkubo lijjuziddwamu abaserikale ba kabaka Charles V, n’asalawo okwetoloola ng’ayita e Geneva.EE 148.3

    Ne Farel yalaba omukono gwa Katonda ku mulundi guno. Newakubadde nga Geneva kyali kikkirizza enjigiriza eno empya, kyokka omulimu gwali gukyali munene. Abantu tebakyukira mu kibinja okudda eri Katonda, wabula muntu sekinoomu; okudda obuggya kutandikira mu mutima ne mu kutegeera kw’omuntu okuyita mu maanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, so si Iwa kutuuza nkiiko. Newakubadde nga abantu b’e Geneva baali bejjeeko ekikoligo kya Luumi, tekyali kyangu bo okwejjirako ddala obusamize bwonna obwali bukutte akati mu bufuzi bwe. Ng’okuteekawo emisingi egy’etengeredde mu njiri ey’amazima n’okuteekateeka abantu okutuuka ku ddaala Katonda ly’abaagaza okutuukako, tegwali mulimu mwangu.EE 148.4

    Farel yafuna obuvumu bwe yalowooza nti azudde Calvin omubuulizi akyali omuto okuba omuntu bwe bayinza okwegatta mu kukola omulimu. Yamukuutira mu linnya lya Katonda asigale mu kibuga kino ng’aweereza. Kyokka Calvin yaddukayo ng’atidde. Olw’okubanga yali mutyi era ayagala emirembe, yatya nnyo okwaŋŋanga abantu be Geneva abaali abavumu, era abeetengeredde mu kutegeera kwabwe ate oluusi nga balwanyi. Era olw’okubanga yali mukosefli mu bulamu bwe, ate ng’alina n’empisa ey’okwagala okusoma ennyo, olw’ebyo naasalawo awummule. Yanoonya ekifo ekisirifu gy’ayinza okuwummulira ng’asoma ebitabo, ng’alowooza nti engeri gy’ayinza okusinga okuweerezaamu kwe kuwandiika n’okufulumya ebiwandiiko awamu n’okuluŋŋamya mu kuzimba amakanisa. Kyokka ebigambo bya Farel bye yamubuulirira yabiwulira ng’okuyita okuva mu ggulu, n’atayinza kubinyooma. Agamba nti, by’amulabikira “ng’omukono gwa Katonda ogugoloddwa okuva mu ggulu, nga gumunywerezza mu kifo gy’atayinza kugumiikiriza kubeera.” - D’Aubigne, History of the Reformation in Europe in the Time of Calvin, b. 9, ch. 17.EE 148.5

    Omulimu gw’afuna okusomoozebwa kungi mu kiseera kino. Geneva kyafuna okutiisibwatiisibwa kungi olw’ebikolimo bya Papa bye yakikasuukiriranga nga kw’otadde n’amawanga ag’amaanyi. Kibuga ki kino ekitono kityo ekiyinza okulemesa obuyinza obw’amaanyi obujeemuludde bakabaka n’abagabe? Kiyinza kitya okwekiika mu maggye agazze gawangula ensi zikirimegga?EE 149.1

    Obupulotestanti bw’afuukira abalabe b’abwo ekizibu okwetoloola wonna mu nsi z’Obukristaayo. Bw’asooka ne buwangula, awo Luumi n’anoonya obulumbaganyi obuggya, ng’asuubira nti anaayinza okubusanyawo. Era mu kiseera kino ne wagunjibwawo eggye lya Bajesuwitisi, abakambwe ddala, abatalina mpisa era abalina obuyinza okukira abazira bonna Luumi be yali ebadde nabo. Bayawulwa okuva ku bisiba by’ensi eno awamu n’ebisanyusa abantu, abafu eri okwegomba kwonna, tebelowooleza wadde okwesalirawo, tebalina tteeka ddala lyonna lye bagondera, wabula eryo cribafuga, so nga tebalina mulimu mulala gwonna okujjako ogw’okugaziya obuyinza bwe. Abakristaayo baali bagumiziddwa n’enjiri ya Kristo nga baakwaŋŋanga ebizibu n’okubonabona, era baleme okuggwaamu amaanyi olw’okusula mu mpewo, okulumwa enjala, okubonabona wadde obwavu, nga baakusitula ebendera ey’amazima wakati mu bulumi, okusibwa mu makomera ag&pos;omuttaka n’okwokebwa omuliro nga basibiddwa ku miti. Abajesuwitisi baali bakulwanyisa omulabe waabwe oluvannyuma Iw’okutendekebwa okugumira ebizibu n&pos;okuwakanya amazima nga bakozesa ekyokulwanyisa ekisinga: kwe kulimba. Nga tebalina musango munene gwe batayinza kukola, oba obulimba obubasukkiridde wadde okulemwa okwefuula kye batali. Baalayira okugumira obwavu obw’olutentezi oba okunyoomebwa, so ng’ekigendererwa kyabwc kwe kufuna obugagga n’obuyinza, babukozese okusanyawo Obupulotestanti n’okukomyawo obuyinza bw’obwapapa.EE 149.2

    Nga mu ndabika yaabwe, bambala ekyambalo eky’obutukuvu, abakyalira abalwadde n’abasibe mu makomera, abasabira abalwadde n’abaavu, nga balina ekifaananyi eky’okwegaana ensi era abasitulidde waggulu erinnya lya Yesu, eyagendanga ng’akola obulungi. Naye nga mukyambalo kino ekyokungulu ekitalina kamogo, bambaliddemu ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka n’obussi. Nga n&pos;etteeka ekkulu lye bagoberera ligamba nti si nsonga kasita batuuka ku kye beetaaga. Era olw’etteeka lino, okulimba, obubbi, obutemu n’okukuba ebirayiro naye ne balimba, nga tebikoma mu kubasonyiwa kyokka naye era nga beebazibwa n’okwebazibwa, kavuna babeera nga baweereza kkanisa. Baayita mu ngeri nnyingi Abajesuwitisi ne bayingira ne mu bifo ebikulu mu ggwanga, okutuuka ku ddaala ly’obuwi bw’amagezi bakabaka, n’okuteeka amateeka ensi kwe zifugirwa. Beefuula abaddu mu kukemekkereza bakama baabwe. Baagunjawo amasomero okusomesa abaana b’abakungu n’abalangira awamu n’ag’abantu ba bulijjo; bwekityo abaana b’Abapulotestanti bayinze okuyigirizibwa obusamize bwa Luumi. Olwo obusamize n’okusinza kwonna okwa Luumi ne byeraga mu kitiibwa kyabyo okubuzaabuza n’okuwamba ebirowoozo byabwe, bwebatyo, abaana ne balya olukwe mu bakitaabwe olw’eddembe lye baalwanirira n’okuyiira omusaayi. Abajesuwitisi ne basasaana mangu okubuna Bulaaya yenna, era na buli gye baageendanga obwapapa ne budda buggya.EE 149.3

    Mu kubongera amaanyi, papa yazzaawo ekiragiro ky’okusoya abantu ebibuuzo ekimanyiddwa nga Inquisition. Naye newakubadde ng’abantu baali baakyawa dda enkola eyo, wadde ne mu nsi z’Obukatoliki, obwapapa bwamala ne buteekawo olukiiko Iw’abalamuzi okucoccanga abantu mu bukambe obutayinza kukolebwa misana, eyo mu kizikiza mu makomera ag’omuttaka. Abantu nkumi na nkumi abatunuuliddwa ng’essuubi ly’ensi, abantu abeesimbu era abassibwamu ekitiibwa, abagezi era abayivu, bannaddiini n’abasumba abamaanyi, abatuuze abakozi b’emirimu era abaagala ensi zaabwe, bakagezimunyu, abakugu n’abamanyi ne battibwa oba ne bawalirizibwa okuddukira mu nsi endala.EE 150.1

    Eyo y’engeri Luumi gye yagunjawo okuzikiza omusana gw’Okuzza ekkaanisa Obuggya, nga Bayibuli egibwa ku bantu, bakomyewo obutamanya n’obusamize obw’Ekiseera Kyekizikiza. Naye Obupulotestanti tebwayinza kuwangulwa olw’omukisa Katonda gwe yateeka ku bantu abeesigwa beyasitula ne baddira Luther mu bigere. Tebwakwatirwa bukwatirwa kisa oba okulwanirirwa abalangira nti oba oli awo y’ensonga Iwaki bwali bwa maanyi. Ensi ennafu era ezinyoomebwa mwe beerwaniririranga. Kyali kibuga kino Geneva ekyatiisibwatiisibwanga n’okuzikirizibwa; ensi nga Budaaki eyo ku mbalama zaayo ez’omusenyu mu bukiika kkono ku nnyanja, ne balwanagananga n’obufuzi bw’ekisibira mu bbwa obwa Sipeyini, ko n’obwakabaka obwamaanyi ennyo ate nga bugagga; ensi nga Sweden enzibu ddala era omutali kasuubirwa, mwe baafunira obuwanguzi bw’Okuzza ekkanisa Obuggya.EE 150.2

    Calvin yaweerereza mu kibuga kino Geneva kumpi okumala emyaka makumi asatu, mu kusooka ng’atandikawo ekkanisa ekkiririza mu njigiriza ya Bayibuli, era n’okugaziya omulimu gw’Okuzza Obuggya ekkanisa mu Bulaaya yenna. Mazima obuweereza bwe ng’omukulembeze w’abantu, tebwaliko kyakunenyezebwa wadde nga n&pos;enjigiriza ze temwabulamu nsobi. Naye yakola nnyo mu kumanyisa amazima agaali getaagisa ennyo mu kiseera kye, mu kuwanirira enkola eyatambulizibwangako Obupulotestanti obwali buwakanyizibwa omuyaga g’obwapapa ogwali gukomawo mu maanyi, n’okukubiriza abantu okweyisa mu ngeri ennyangu era ey’obulamu obutukuvu, mu kifo ky’amalala n’obuvundu bw’empisa ebyali biwagirwa enjigiriza ya Luumi.EE 150.3

    Ne baweerezanga abayigiriza okuva e Geneva okubunya enjigiriza eno empya awamu n’ebiwandiiko. Era n’abayigganyizibwa ne bajjanga mu kibuga kino okuva wonna nga banoonya okuyigirizibwa, okuluŋŋamiibwa n’okugumizibwa. Ekibuga Calvin mwali, ne kifuuka obuddukiro eri Abazza b’ekkanisa abayigganyizibwanga okuva mu Bulaaya ey’ebugwanjuba. Abasajja n’abakazi ne baddukanga ekibabu ky’okuyigganyizibwa kaakano ekiri mu byasa by’emyaka, nga baddukira e Geneva. Baatukanga bayala, bajjudde ebiwundu, abatakyalina maka wadde abeŋŋanda, kyokka ne baanirizibwanga mu ssanyu nga kw’otadde n’okulabirirwa; ekibuga ne kiba kya mukisa olw’okuganyulwanga mu bukugu bano awamu n’obuyivu bwabwe, anti nga bafunye ekisulo. Era bangi abaddukiranga yo, ne baddangayo mu nsi z’ewaabwe ng’ekigendererwa kwe kuziyiza obufuzi bw’ekisibira mu bbwa obwa Luumi. John Knox, Omuzza w’ekkanisa Omusikoti, nga kw’otadde n’abenzikiriza y’Abapuritani okuva e Bungereza si batono, Abapulotestanti be Budaaki ne Sipeyini, ko n’Abapulotestanti b’e Bufalansa abayitibwa ba Huguenots ne batwala omusana ogw’amazima okuva e Geneva okumulisa mu kizikiza ky’obutamanya ekiri mu nsiEE 150.4

    Larger font
    Smaller font
    Copy
    Print
    Contents